0

Citizen’s Handbook Luganda Version

  • Updated April 22, 2026

Box 7679 KAMPALA-UGANDA TEL: +256-414-344154 Website: www.jsc.go.ug Abavuunuzi: Sentongo John ne Bogere Francis Ekitabo ky’omunnansi iii Obwenkanya mu Bonna Ebirimu Ebirimu iii Ebikulembera xi Okwebaza xii Ennyanjula xiii Esuula I. 13 Ennamula eteekubirira ludda 14 Eddembe ly’okuwulirirwa. 15 Eddembe ly’okutegeezebwa envunaana 15 Esuula 2 16 Akakiiko akalonda abalamuzi (JSC). 16 Enfaanana y’akakiiko akalonda abalamuzi. 19 Okulonda abakungu b’eby’obulamuzi 20 Entegeragana y’omulimo, ekisanja n’obuvunanyizibwa bw’abakungu abalondeddwa. 20 Emmenya y’amateeka mu nneyisa 21 Okuloopa okwemulugunya n’endowooza eva eri abantu. 22 Okwemulugunya w’okutwala 22 Okwemulugunya kuno kusobola kukolebwa kwani?. 29 Kkooti Esembayo okujulirwamu 29 Kkooti Esooka Okujulirwamu. 33 Omulamuzi ow’eddaala erisooka 34 Omulamuzi ow’eddaala eryokubiri. 34 Kkooti y’amaka n’abaana 34 Obuvunanyizibwa bwa ssiga enlamuzi mu kutawulula enkayana z’ettaka . 35 Emitendera egigobererwa mu kuwaaba omusango mu Kkooti y’ettaka eya Distitulikiti. 43 Akakiiko k’enkaayana z’amasannyalaze 44 Esuula 5 46 Puliisi ya Uganda. n’okubowa ebintu 52 Emmeeza ya Puliisi ey’eddembe ly’Obuntu n’okwemulugunya 53 Engeri ekitongole kya (Emmeeza ya) Puliisi eky’eddembe ly’obuntu n’okwemulugunya gye kirina okukwatamu okwemulugunya. 55 Esuula 6 56 Ekitongole kya Gavumenti Ekyekeneenya mu ngeri Ey’ekikugu 56 Endagiriro. 60 Esuula 7 61 Ekitongole Kya Gavumenti Ekiwaabi ky’Emisango . 61 Emirimu gy’Ekitongole kya Gavumenti Ekiwaaba Emisango. 62 Omulimu gw’abawaabi mu kutuukiriza/kukwasiza amateeka 62 Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda vi Obwenkanya mu Bonna Okusalawo okuwaaba omusango oba obutawaaba 64 Enkolagana wakati w’essiga ly’abalamuzi ne Ssabawaabi wa Gavumenti 64 Enkolagana eri/Oluganda oluli wakati wa Ssabawaabi wa Gavumenti ne Puliisi. 65 Obuyambi bwa Ssabawaabi wa Gavumenti mu kukwatibwa mu bukyamu 65 Obuvunaanyizibwa by’eyeemulugunya oba akwatibwako ng’okunoonyereza n’okuwoza bigenda mu maaso 66 Ekikolebwa nga waliwo obutali bumativu obuvudde mu kuvunaana obumenyi bw’amateeka 67 Enkolagana wakati wa Ssabawaabi wa Gavumenti ne Kaliisoliiso wa Gavumenti mu kuwaaba emisango egy’ebibonerezo.. 67 Engeri Okwemugulunya gye kukolebwamu mu kitongole kya Ssabawaabi wa Gavumenti kyennyini 67 Engeri y’okwemulugunyamu eri Ekitongole kino. 68 Obusanduuko bw’okwemulugnya 68 Okukozesa ekibinja ku mutimbagano gwa kompyuta. 68 Okwetuukira 69 Esuula 8 70 Engeri y’Okuwozesa Omusango n’Okuwa Ebibonerezo/Ekibonerezo. 70 Emitendera egigobererwa mu kuwozesa omusango 71 Ebigobererwa/ebiddirira mu kuggalawo okuwoza omusango. 73 Enkola esookerwako mu misango egirina okuwozesebwa kkooti enkulu. 75 Okweyimirirwa 75 Engeri y’okusabamu okweyimirirwa mu kkooti y’omulamuzi. 76 Ekirina okukolebwa singa omulamuzi agaana omuntu okwayimirirwa. 78 Okweyimirirwa mu kkooi enkulu 79 Ebiva/ebigoberera okweyimirirwa 80 Okuddizibwa ssente z’okweyimirirwa. 80 Okuwa ekibonerezo 81 Ebigendererwa mu kuwa ekibonerezo 81 Ebika by’ebibonerezo. 86 Ebigobererwa mu Kiragiro kya Bulungibwansi 86 Ekifo eky’okukolamu kye ki? 87 Ekitabo ky’omunnansi vii Obwenkanya mu Bonna Weetegereze 87 Esuula 9 88 Ekitongole kya Uganda Eky’Amakomera 88 Endagiriro. 91 Okujjanjabwa /Obujjanjabi 91 Abasibe abasaliddwa omusango (ogw’okufa) 91 Engeri y’okukwatamu okwemulugunya kw’abasibe 92 Eddembe okwogera ne bannamateeka mu kyama. 93 Amasamba n’amakolerao eby’amakomera 93 Esuula 10 94 Okuwulira Emisango Emitono egy’Engassi 94 Enyanjula. 103 Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda viii Obwenkanya mu Bonna Ensala. 106 Ssabalungamya W’ebintu (Maali) Byabafu 106 Endagiriro. 110 Obuyinza bwa Ssabalungamya nga tanabuseeseetulako 110 Amakulu g’ebigambo namwandu ne ssemwandu 110 Engeri z’obufumbo mu Uganda 111 Amakulu gw’omwana y’ani? 111 Ekitongole Ky’emisango Egy’engassi 111 Ennyanjula. 111 Ekitongole Ekibaga Amateeka 112 Ennyanjula. 115 Esuula 13 116 Ekitongole ky’Egwandisizo mu Uganda 116 Enyanjula. 116 Eggwandisizo Ly’amakampuni (Kampuni Kyeki?) 116 Ebika byamakampuni. 120 Eggwandiisizo ly’obuzaale n’okufa 120 Okufuna ebbaluwa y’obuzaale 121 Omugaso gw’ebbaluwa eno. 122 Omulimu gw’ekitongole kino mu kuwandiisa bannakyewa 123 Esuula 14 124 Akakiiko Akazza Obuggya Amateeka mu Uganda 124 Endagiriro. 124 Ebikola olukiiko luno 124 Emirimu gy’akakiiko 124 Ebitongole ebigwa mu kakiiko kano. 132 Esuula 16 133 Endagiriro y’Obutuuze n’Ennambika y’Okutambula mu Mawanga 133 Endagiriro. 133 Obuvunanyizibwa bw’ekitongole kino 133 Akakiiko k’eby’obutuuze n’entambula mu mawanga 133 Okujjulira ewa minista mu butakkanya n’olukiiko 134 Obutuuze . 136 Esuula 17 138 Ebanguliro lya Bannamateeka (LDC) 138 Endagiriro. 142 Enfo y’Okujulirwamu n’Okugonjoola Enkayana (CADER) 142 Endagiriro. 142 Ennyamba ya CADER mukugonjoola ensonga. 143 Entabaganya eyokwempaliriza mu njawukana mu by’obusuubuzi 144 Ekitabo ky’omunnansi xi Obwenkanya mu Bonna Akakiiko Akalwanirira Eddembe ly’Obuntu (UHRC) 145 Endagiriro. 148 Enkola ya Kaliisoliiso wa gavumenti. 148 Okuweereza n’Okuyamba mu by’Amateeka (Legal Aid Projects) 149 Ennyanjula. 149 Ekiwa obuyambi mu by’Amateeka mu kibiina kya bannamateeka (LAP-ULS) 149 Endagiriro. 149 Ekiwa obuyambi mu by’Amateeka mu Banguliro lya Bannamateeka (LAC) 150 Endagiriro. 150 Ekiwa obuyambi mu by’Amateeka ku lwa FIDA 151 Endagiriro. 151 Ebigendererwa 152 Ery’eteeka ly’Abanoonyi b’o Bubudamu mu Ttendekero ly’eby’Amateeka (RLP). 153 Ekitongole ekikuuma eby’Abantu (PDO) 153 Endagiriro. 154 Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda xii Obwenkanya mu Bonna Ebikulembera Ekimu ku byalumanga ennyo abantu ba bulijjo nga akakiiko akalonda abalamuzi tekannatondebwawo, bwe butamanyisibwa ku bikwata ku mateeka ag’eggwanga n’engerigyegassibwamunkola. Olw’okuzibaolukonkoluno,ssemateekaw’egwanga awaakakiikokanoakawaobuyinzaokusaawoentegekaey’okuyigirizan’okumanyisa abalamuzi awamu n’abantu aba bulijjo ebikwata ku mateeka n’enkola egobererwa mu kutuukiriza obwenkanya. Akakiiko kano kaakola entegeka ennungamu era ennambulukufu egobererwa mu kuyigiriza abantu ebikwata ku mateeka. Ekitabo kino kitegekeddwa olw’okuyamba akakiiko mu ntekateeka zaako ez’okuyigiriza abantu ebyamateeka. Ekitabo kilambulula bulungi ebisanyizo byabo abalina okubeera mu bitongole ebyenjawulo ebikwasisa amateeka, emirimu n’enkola egobererwa mu kusaawo obwenkanya. Era kinnyonnyola obuyinza n’emirimu (obuvunaanyizibwa) eby’abantu aba bulijjo we bulina okukoma mu kubaawo obwenkanya. Abakozi b’omussigaly’abalamuziekitabokinokijjakubagasannyo.Newankubadde abawandiisi beyambisizza nnyo olulimi lw’ekinamateeka, naye ebigambo oba emboozi ebyeyambisiddwa babinyonnyodde bulungi mu lulimi olwangu. Nsuubirira ddala ekitabo kino kijja kuyamba nnyo mu kutuukiriza omulimu ogwatumibwa akakiiko akalonda abalamuzi. Mu ngeri yeemu nsuubira nti ekitabo kino kijja kwanguyizaako essiga ly’abalamuzi okutuuka ku kigendererwa kyalyo eky’okukolera buli omu obwenkanya mu nzirukanya y’emirirmo gyalyo. Manyindo Ssentebe w’akakiiko akalonda abalamuzi Ekitabo ky’omunnansi xiii Obwenkanya mu Bonna Okwebaza Akakiiko akalonda abalamuzi (Judicial Service Commission) katuusa okusiima kwako eri abakulira essiga ly’abalamuzi olwa kaweefube walyo saako obuwagizi mu byensimbi okulaba nga bataddewo entegeka ey’okuyigiriza bannansi (abatuuze) ebikwata ku mateeka g’eggwanga. Kanokoddeyo ettabi lyako ery’ebyengiriza olw’okutegeka n’okufulumya akatabo kano “citizens’ Handbook on Law and Administration of Justice in Uganda). Akakiiko kongera mu ngeri ey’enjawulo okwebaza abakungu bonna ab’akakiiko, awamu n’abakozi baako bonna olw’omulimu omulungi gwe bakoledde awamu mu kufulumya akatabo kano. Akakiiko kano keebaza abo bonna bekikwatako naddala abo abawadde mu buwandiike ebirowoozo byabwe n’abo abeetabye mu kukubaganya ebirowoozo mu musomo gw’abalumirwa essiga ly’abalamuzi ku bbago ly’ekitabo kino. N’ekisembayo, akakiiko kasiima omulimu omulungi ogwakolebwa aba kampuni eya M/S Property Rights Concern mu kutegeka ekitabo kino. Kivumbi Ssabawandiisi w’Akakiiko Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda xiv Obwenkanya mu Bonna Obwenka Ennyanjula Ekitabo kino – Amateeka n’enkwasisa yaago mu Uganda – kinnyonnyola amateeka nga bwe gali, emirimu oba emigaso gyago, wamu n’engeri ebitongole ebikwasisa amateeka gye bituusa obuweereza bwabyo ku bantu. Ekitabo kino kiraga emirimu egirina okukolebwa ebitongole bya gavumenti ebyenyigira mu eby’amateeka mu ssiga ly’abalamuzi, ssaako n’ebitongole ebirala nga bino: Kooti y’amagye (court martial), akakiiko ka Uganda akakola ku ddembe ly’obuntu (Uganda Human Rights Commission) ne kaliisoliiso wa gavumenti (Insepectorate of government), Ekitabo era kinyonnyola omulimu ogukolebwa ebibiina by’obwannakyewa (non- governmental organizations) abayamba ku by’amateeka g’eggwanga mu kutuukiriza obwenkanya, okugeza: Ekitongole ekiwolereza abantu ku bwerere (Legal Aid Service Providers) ne bawannyondo ba kooti (court bailiffs). Ekitabo kino era kinnyonnyola eddembe n’obuvunaanyizibwa abantu ba bulijjo bwe balina mu kulwanirira enfuga ey’obwenkanya mu ggwanga lyaffe. Kitangaaza era omusomi w’ekitabo kino ku makubo g’ayinza okukwata (okuyitamu) okwekubira enduulu (okwerwanako) singa awulira nga anyigiriziddwa oba nga si mumativu ku ngeri amateeka gye gataputiddwa mu kooti kuludda lwe. Olw’okwanguyiza n’okusobozesa abantu okusoma ekitabo kino, empandiika n’olulimiebyeyambisiddwabyanguokusoman’okutegeera. Ekitabokyawuddwamu emitwe emikulu nga girambikiddwa mu miramwa emyawufu okusinziira ku nsonga eyogerwako. Ensonga ezikwata ku missango gy’ebibonerezo gyawulidwa ku misango gy’engassi. Ekitabo kino kigendereddwamu okuyamba abatuuze bonna mu ggwanga awatali kusooka kumanya kiki kye bamanyi ku byamateeka. Ekitabo kino si teeka oba entaputa yaago. Wabula kiwandiikiddwa olw’okuyamba n’okulambika enkozesa y’amateeka g’eggwanga. Naye ate, kirimu ebintu ebikulu ennyo ebikwata ku mateeka g’eggwanga n’eby’abalamuzi abatuuze bonna bye balina okumanya. 1 Obwenkanya mu Bonna Esuula I Ennyanjula ku Nkola y’Amateeka ga Uganda Ebikulembera: Enkola y’amateeka ga Uganda yeesigamizibwa ku nkola y’amateeka ga Bungereza eyaleetebwa mu Uganda abafuzi b’amatwale abangereza. Nga abafuzi bamatwale abangereza tebaanasimba makanda mu Uganda, buli ggwanga ly’omu Uganda lyalina amateeka gaalyo agekinnansi kwe lyatambuliranga. Amateeka gano ag’ekinnansi tegaali mawandiike. Wabula amateeka g’ekinnansi ag’amawanga agamu gaafanagananga ng’ate amalala gawukana mu bigendererwa byago ate ne mungeri gye gasibwanga mu nkola. Mu mawanga agalina obukulembeze bwensikirano mu Uganda, okugeza, Obwa Kabaka bwa Buganda; Obwa Kyabazinga wa Busoga, Obukama bwe Bunyoro ne Toro, mwalingamu kooti z’amateeka g’ekinnansi ezaakulirwanga abaami b’omu bitundu ebyo okulaba nga obwenkanya bugobererwa okusinziira nga amateeka g’omu bufuzi obwensikirano bwe gaalagiranga. Wadde kooti z’amateeka g’ekinnansi zaalingawo, naye era nga waliwo kooti z’ama ka n’ez Abakulu bebika ezaagonjoolanga emisango n’enkaayana ezeekusa ku buwangwa bw’amaka ago oba olw’ebika ebyo, ate ebitundu omutalinga bufuzi obwensikirano, abantu abakulu mu myaka mu byalo be baakolanga nga abalamuzi mu misango n’enkaayana by’omu bitundu byabwe. Enfuga y’obufuzi bw’amatwale yajjirako n’enkola y’amateeka eyesigamiziddwa ku mateeka agakozesebwa nga mu Bungereza, kyokka enkola y’amateeka g’ebungereza bwe yayingizibwa mu Uganda, teyagyawo mateeka gonna ag’obuwangwa. Enkola zombi amateeka, ag’ekinnansi n’aga Bungereza gasigala gatambulira wamu mu kugonjoola emisango egyekuusa ku bumenyi bw’amateeka ne ku buwangwa nga buli gumu gutambulira mu ttuluba lyago mu kulamula emisango egyagwangawo. Nakakaano amateeka g’ekinansi gakyagobererwa mu bantu b’omu bitundu ebyenjawulo. Abafuzi b’amatwaale, abangereza, bassaawo wano kooti ey’enjawulo nga yo egoberera amateeka amawandiike aga Bungereza ssaako emiramwa n’obulombolombo ebyekuusa kunkola y’amateeka mu Bungereza. Emiramwa egyo n’obulombolombo 1 1 2 Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Obwenkanya mu Bonna byasibuka ku mpisa z’abangereza ezakkiriziganyizibwako abangereza nga etteka okuva mu buwangwa bwabwe. Kooti za Bungereza era nazo zigoberera obwenkanya obwesigamiziddwa ku buwangwa mu kugonjoola enkaayaana. Ensibuko z’Amateeka mu Uganda Amateeka bye biragiro ebigobererwa mu kufuga abantu. Amateeka galina emigaso egiwera mu kibiina ky’abantu. Okugeza: Etteka lyeyambisibwa n’okukuuma emirembe n’obutebenkevu nga okuziyiza ebikolwa ebimu okukolebwa, nga obubbi, okusobya ku bakazi olw’empaka, okulya mu nsi yo olukwe, Amateeka ga mugaso munene nnyo mu kusobozesa gavumenti okutuukiriza enkola oba ebigendererwa byayo, okugeza: etteeka erifuga n’okukuuma obutonde bw’ensi. Ensibuko z’amateeka ez’enjawulo mu Uganda zezino: (i) Ssemateeka wa Uganda (1995): lye tteeka erisukkulumye (erisinga obukulu) ku mateeka gonna mu Uganda. Amateeka gonna mu Uganda galambikirwa ku ssemateeka wa Uganda. Bwe waberawo etteeka lyonna mu Uganda eritakwatagana n’abiri mu Ssemateeka, olwo ebiri mu Ssemateeka bye bigobererwa. Kino kiba kitegeeza nti bwe wabaawo obutakkiriziganya bwonna wakati wa ssemateeka wa Uganda n’etteeka eddala lyonna mu Uganda, obuwaayiro obuli mu Ssemateeka bwe bulina okugobererwa nga bwe butuufu. Lye tteeka lyonna eriba likoleddwa ekitongole ekirina obuyinza okukola etteeka. Mu Uganda, olukiiko lw’eggwanga olukulu, Palamenti ly’essiga erilina obuyinza okukola amateeka agakwata ku ggwanga lyonna. Etteeka eggwandiike liyinza okutuumwa amannya amawufu okusinziira ku ngeri gye liba likoleddwamu, liyinza okuyitibwa “statute” oba “Act of parliament” oba “decree”. Wetwogerera mu Uganda amateeka gonna agaayisibwa olukiiko lw’eggwanga olukulu gamanyiddwa nga “Acts of Parliament”. Amateeka agaayisibwa mu bufuzi bwa Idi Amin gamanyiddwa 3 Esuula 1 Obwenkanya mu Bonna nga “Decrees” anti mu budde obwo palamenti teyaliwo, nga omukulenbeze w’eggwanga (pulezidenti) yalina obuyinza okukola amateeka. Mu 2000 gavumenti yaddamu okwekebejja amateeka gonna agaaliwo mu kiseera ekyo era n’egalongoosaamu ne gatwalibwa nga agayisiddwa olukiiko olukulu ow’eggwanga (palamenti). Palamenti eyinza okwawulizako ku buyinza bwalyo obw’okukola amateeka ku bitongole ebirala, okugeza ng’olukiiko lwa District, olukiiko lufuga ekibuga ekikulu, olukiiko olufuga ekibuga oba olukiiko lwa ggombolola. Era eyinza nate okwawuliza ku mukozi wa gavumenti obuyinza bwalyo obw’okukola amateeka, okugeza, minisita wa gavumenti. Ebitongole bino n’abantu abamu nga baweeredwa obuyinza bw’okukola amateeka, amateeka agaba gakoleddwa ebitongole oba abantu abo gamanyibwa nga “bye-laws” “ordinances” “rules” oba “Regulations” nga gakwata ku kitundu ky’eggwanga ekyo. Kooti za Uganda zeeyambisa ensala y’emisango eggyasalibwa nga etteeka. Kino kitegeeza nti kooti bw’eba esala omusango omupya ogufaanana n’ogwo ogwasalibwa edda kooti; kooti zino zigoberera emitendera gy’amateeka egyayitibwamu okusala omusango ogwasooka. Ensala y’emisango egyasooka kye kiyitibwa etteeka eryesigamye kunsala ey’emisango emikadde. Ensala z’emisango ezirina okugobererwa (okwesigamizibwako ensala y’emisango) zeezo zokka eziva mu kooti za Uganda zino essatu: Kooti ey’oku ntikko, kooti ejulirwamu ne kooti enkulu. Kooti yonna erina okugoberera ensala (ebisaliddwawo) eza kooti eya waggulu n’ebyo by- enyini yo by’esazewo, wadde nga kooti yonna erina okugoberera ebiba bisaliddwawo kooti eya waggulu, naye bw’eba n’ensonga entuufu eyinza obutawalirizibwa kugoberera ebyo ebiba bisaliddwaawo kooti eyo ye- nyini. 4 Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Obwenkanya mu Bonna (i) Etteeka erya bulijjo n’enzikiriza y’obwenkanya. Etteeka erya bulijjo likozesebwa mu Uganda nga lisimbudwa mu nkola y’amateeka ga Bugereza (Common Law). Etteeka lino erya bulijjo lyesigamizibwa ku byasalibwawo (ensala) abalamuzi b’e Bungereza nga beesigama ku mpisa n’obulombolombo bw’abangereza. Enzikiriza y’obwenkanya yo ekwata ku miramwa egyesigamwako ng’Abalamuzi abangereza balwanirira obwenkanya n’ekkomo ly’etteeka erya bulijjo. Enzikiriza y’obwenkanya etegeeza kusala mu mazima. Etteeka erya bulijjo n’enzikiriza y’obwenkanya byeyambisibwa mu Uganda bwe kiba ng’etteeka eggwandiike terigombolola nsonga eriko ekizibu mu mateeka. Ate lyeyambisibwa ne ligobererwa awo wokka we litakontaganira na mateeka ga Uganda amawandiike. (ii) Etteekaly’ekinnansi.Ganogemateekaagagobererwangageesigamizibwa ku mpisa oba ku neeyisa ya bannansi b’ebitundu ebyawufu ebiri mu Uganda. Etteeka ly’ekinnansi teribalirwa mu matteeka amawandiike aga Uganda. Era empisa oba enneeyisa ya bannansi okutwalibwa nga etteeka mu kooti za Uganda, etekeddwa okubaamu ebisaanyizo ebimu ebisinziirwako. Okugeza, liteekwa okuba nga terikontana na ssemateeka wa Uganda oba etteeka eddala lyonna eggwandiike. Ssemateeka yasangulawo amateeka g’ekinnansi agakwata ku misango gy’ekibonerezo. Enjawulo y’Amateeka Amtteeka gagabanyizibwamu emitendera egiwera era emitendera gy’etteeka egisinga obukulu egissidwako essira mu katabo kano gye gino: ettteeka erikwata ku misango gy’engassi ate n’etteeka erikwata ku misango gy’ekibonerezo. Naye aluusi obumenyi bw’etteeka buyinza okukwataganya emitendera gyombi, egy’engassi n’egyekibonerezo. Etteeka ly’emisango gy’ekibonerezo lye ttabi ly’etteeka eriraga ekikolwa nga bwe kifuuka omusango gw’ekibonerezo era ne liwa n’ekibonerezo abantu abazzizza 5 Esuula 1 Obwenkanya mu Bonna omusango ogwo kye baweebwa. Etteeka lino ligenderera okutaasa abantu bonna n’okubawonya ebikolobero ebiyiinza okubatuusibwako abantu abamu. Emisango egisinga obungi girambuluddwa mu tteeka erimanyiddwa nga ? etteeka erirambika ebibonerezo ku bazzi b’emisango (Penal Code Act) nga gino: Okukuba n’okulumya omuntu, obubbi n’obunyazi, okusobya ku mwana omuto, okugingaginga ebiwandiiko, okukwata omukazi olw’empaka n’okumusobyako, okutta omuntu, n’okulya mu nsi yo olukwe n’emilala nga girambuluddwa mu tteeka ly’emisango gy’ekibonerezo. Waliwon’amateekaamalalamangiagayisibwaolukiikolw’eggwangan’amalala ? agawandiikiddwa mu bitabo by’amateeka ga Uganda agagwa mu mutendera guno ogw’emisango gy’ebibonerezo. Okugeza, etteeka ly’okuziyiza obulyi bw’enguzi lirambika emisango egyekuusa ku nguzi, nga operereza, nga owa enguzi oba nga ofuna enguzi eyo. Etteeka erikwata ku nkozesa y’engundo lirambika obumenyi bw’amateeka ? obwekuusakunkozesan’enneyambisay’enguudozalukale,okugeza,okuvuga n’ekimama, okuvuga ekidduka ng’otamidde, okuvuga ekidduka eky’omuliro nga tolina layisinsi ekukkiriza kukivuga, n’ebirala. Waliwo era n’amateeka amalala agakolebwa ebitongole nga Gavumenti ? z’ebitundu nga galambika ebikolwa ebifuuka emisango mu kituundu ekyo. Ekyokulabirako, olukiiko olufuga ekibuga ekikulu Kampala lwakola etteeka eriziyiza ebisolo okutaayaayira mu kibuga. Naye waliwo n’omusango oguyitibwa “Okunyomoola kooti” Etteeka ? erikwatakumusangogunoterilambikamubujjuvuebikolwaebyoebigaanibwa mu tteeka lino. Ekiyitibwa omusango mu tteeka lino kwe kukola ekintu ekisasamaza oba ekitaataaganya kooti ng’etudde ne kitawa kooti eyo kitiibwa Kyokka okusalawo ku buzito bw’ekikolwa mu kooti kirekerwa omulmuzi abeera mu ntebe ye amanya oba ekyo kityoboola kooti, okugeza, okwogerera ku ssimu oba okuwoggana nga omulamuzi awuliriza omusango (Nga kooti etudde) Wabula, n’abalamuzi tebasaanye kweyambisa bubi tteeka lino. Okugeza, omulamuzi tasaanide kubonereza muntu mu tteeka lino olw’okukololera ennyo mu kooti oba olw’okujja mu kooti nga ayambadde sapatu. 6 Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Obwenkanya mu Bonna Omuntu yenna nga akangavuddwa omulamuzi eyeyambisa abubi obuyinza bwo mu tteeka lino ery’okutyobola kooti, wa ddembe okutwala okwemulugunya kwe ku nsonga eyo eri omulamuzi akulira ekitundu oba omuwandiisi w’abalamuzi oba omulambuzi wa kooti, oba akulira abalamuzi oba mu kakiiko ak’abakozi b’ekitongole ekiramuzi. Amateeka g’Engassi Etteeka ly’engassi lye tteeka erissaawo era ne likuuma eddembe n’obuyinza abantu kinnoomu bye balina mu bw’omuntu bwabwe. Eby’okulabirako eby’etteeka ly’engassi bizingilamu amateeka amalala gano: etteeka ku kukola endagaano n’okuzissa mu nkola, etteeka ku bufumbo n’etteeka ku busika, agamu ku mateeka g’engassi, nga etteeka ly’okukola endagaano, geeyambisibwa ne ku makampuni ne ku gavumenti olwokubanga mu mateeka nago gatwalibwa nga amateeka amawandiike. Enjawulo wakati w’etteeka ly’ekibonerezo n’etteeka ly’engassi Waliwo enjawulo eziwerako wakati w’etteeka ly’ekibonerezo n’etteka ly’engassi. Mu njawulo ezo mulimu zino wamanga: Engeri emisango gye giwozesebwamu, olulimi n’ejogera ekozesebwa, n’ensala ? Eky’okulabirako, emisango gy’ekibonerezo egisinga gavumenti ye ebeera omuwaabi waagyo mu linnya ly’oyo avunaana. Oyo akoleddwako ekisobyo oba alumiziddwa mu musango gw’ekibonerezo ? mu tteeka ayogerwako nga eyemulugunya, sso ate mu musango gw’engassi awaaba ayogerwako nga omuwaabi. Ekimu ku bigendererwa by’Etteeka ly’ekibonerezo kwe kubonereza omuzzi ? w’omusango, sso ate mu tteeka ly’engassi ekigendererwa kwe kukakasa obuyinza bw’omuwaabi obuba bulinyiliddwa oyo azzizza omusango. Mu mpozesa y’emisango gye’kibonerezo, gavumenti ye yeetikka omugugu ? ogw’okukakasa awatali kubuusabuusa kwonna nti omuwawabirwa ddala ye yaziza omusango ogumuvunaanibwa. 7 Esuula 1 Obwenkanya mu Bonna Mu mpozesa y’emisango gy’engassi omugugu gwo’okukakasa n’okulumiriza ? Kyokka ye omuwaabi kimwetaagisa okukakasa nti omuwawabirwa yakola ebikolwa ebimuvunaanibwa. Kino kitegeeza nti omuwaabi alina okulaga ? kooti nti omuwawaabirwa alabikira ddala nga ye yakola ebikolwa ebyo ebimulumirizibwa. Enkola y’Amateeka n’Obwenkanya Obwenkanya kitegeeza okugoberera n’okunywerera kunkola eyassibwamu amatteeka awamu n’ebibonerezo ebigenderako nga kino kikolebwa ebitongole ebikwasisa amateeka wamu ne kooti. Okussa mu nkola obwenkanya kitegeeza ennambika n’entambuza awamu n’enfuga y’amateeka mu kaweefube w’okukwasisa amateeka ow’okussaawo obwenkanya awali kakuubagano oba enkaayana mu bantu, mu by’obusuubuzi oba wakati wa gavumenti n’abantu/ amakampuni. Waliwo amakubo agawera ag’ayitibwamu mu kooti z’amateeka, mu kutabaganya abakaayana nga oyogera n’enjuyi zombi ku nsonga y’okukkaanya, okussaawo mu butongole ekinaamalawo enkaayana, okussaawo omutabaganya wakati wabalina enkaayana, ate ne mu kukubaganya ebirowoozo nga munoonya ekinaatereza embeera embi ebaddewo (enkaayana). Empaaba n’empozesa y’emisango Lino lye kkubo eliyitibwamu okugonjoola enkaayana nga weeyambisa ? Olwo kooti n’esalawo okussaawo obwenkanya nga emaze okufuna okwemulugunya kwonna okuva mu bantu abanyigirizibwa oba abaggyibwako obuyinza bwabwe n’eddembe lyabwe. Kooti zifuna fayilo z’emisango gy’ebibonerezo egiwaabiddwa gavumenti nga ? Olwo kooti n’ewuliriza ensonga za buli ludda oluli mu nkaayana, n’esalawo ekyokukola nga yeesigama ku mateeka agalambika omutuufu n’omukyamu. Kooti olwo n’ereeta eddagala n’eriwa akoseddwa oba anyigiriziddwa mu ? musango ogwo ate n’ewa ebibonerezo oyo aba azzizza omusango (alumizza mune). Omusango guyinza okuba ogw’ebibonerezo oba ogw’engassi. 8 Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Obwenkanya mu Bonna Ekkubo eddala ery’okugonjoola emisango Nga ogyeko eky’okutwala enkaayana mumbuga za kooti z’amateeka, waliwo amakubo amalala agayinza okuyitibwamu okutereeza enkaayana mu balumagana. Amakuboganogamanyidwanga”Ekkuboeddalaerigonjoolaekizibu”(Alternative dispute resolution-ADC). Ekkubo lino lizingizamu okukubaganya ebirowoozo wakati w’abali mu nkaayana, okussaawo omutabaganya wakati w’abakayana, okussaawo akakiiko kazuule eddagala elimalawo enkaayana oba okuddinganya abali mu nkaayana. Si buli nkaayana ejjawo mu Bantu nti eteekwa okutwalibwa mu mbuga za kooti. Enkaayana nyingi ziyinza okumalibwawo nga tezitwaliddwa ku kooti z’amateeka. Mu buwangwa n’empisa z’Abafirika, abantu abakulu (Abakadde) mu kitundu beesigamwako nnyo mu kugonjoola enkaayana mu batuuze banabwe. Wabula abufuzi bw’amatwale bwe bwayingirira Afirika, omulimu omulungi ogwakolebwanga abantu abakulu mu kitundu ogw’okugonyoola enkaayana gwatwalibwa enkola ya kooti z’amateeka eyassibwawo abafuzi b’amatwale. Ekimu ku bizibu ebireetebwa enkola ey’okweyambisa kooti z’amateeka okugonjoola enkaayana z’abantu, kwe kwonooneka kw’enkolagana ennungi ebaddewo wakati w’abawozangana ne bataddamu kukolagana bulungi nga bwe kyali nga enkaayana tennabalukawo. Anti weesanga nga abawozannagana bayinza okuba ab’omuliraano, ab’omukwano, ab’oluganda, abalina enkolagana mu byobusuubuzi. Mu ngeli eyo abantu abo ababadde n’enkolagana ennungi nga tewanasitukawo nkaayana, olwo bafuuka abalabe ku buli ludda olw.ensala ya kooti ereetawo asinze n’asingiddwa omusango ogubeera guleteddwa mu kooti. Ekkubo ery’okutegeeragana Ekkubo lino likwatibwa ab’enjunyi ebbiri ezirina enkaayana bwe batula awamu ne bateeseganya okuzuula ekinazzaawo emirembe mu nkolagana yaabwe ate ne bakikkanyako okukinywererako. Ekkubo ery’okutabaganya abakaayana Ekkubo lino likwatibwa abalimu nkaayana bwe bakkiriziganya ne bafuna omuntu atalina ludda (Ku njuyi zombi) amanyiddwa nga omutabaganya 9 Esuula 1 Obwenkanya mu Bonna n’agonjoola enkaayana nga ayita mu kunyonyolagana. Omutabaganya oyo y’alambika enteeseganya z’abali mu nkaayana, kyokka takakaatika nsala ye ku abo b’atabaganya. Abo benyini abali mu nkaayana be balina okukkiriziganya ku kituukiddwako mu nteeseganya zaabwe n’omutabaganya ate be balina n’okugoberera ebisaliddwawo. Mu nkola y’okutabaganya abakaayana emirundi egisinga obungi eyita mu mitendera gino wammanga: Okwanjula ensonga esibukako enkaayana. Okulambika ebireese enkaayana (obutakkiriziganya wakati ? Okukubaganya ebirowoozo ku byanjuddwa basobola okuzuulayo amakubo ? Okusengejja amakubo agaleeteddwa nga kugerageranyizibwa ku mugaso ? oguyinza okuva mu buli kkubo singa lye liba litwaliddwa. N’okuttuka ku ky’enkomerero ekiganyula enjuyi zombi ezikaayana era awo ? Ekkubo erisaliddwawo olw’okugonjoola enkaayana. Mu kkubo lino enjuyi ezikaayana zaanjula enjawukana zaazo eri omuntu oba akakiiko akataliiko ludda akaba kakkiriziganyiziddwako enjuyi zombie. Oyo aba alondeddwa okutawulula enkaayana ayitibwa mutawuluzi. Abo abakaayana bawaayo eri omutawuluzi byonna ebikwata ku nsonga ebakaayanya ssaako n’obujjulizi obwogera ku buli ludda, naye tebenyigira mu kusalawo okw’enkomerero, wabula ekyo bakirekera omutawuluzi. Obutafaanana na nkola eri ey’omutabaganya nga buli ludda lutwala kyenkanyi ku kiba kituukiddwako, nkola y’omutawuluzi ye ebeeramu asinze n’asingiddwa. Ekirungi abali mu nkaayana betaba era ne bakkiriziganya ku kulonda anaakola omu limu gw’okutawulula enkaayana. Era ensala y’omutawuluzi etwalibwa nga ebbaluwa eweebwa awangudde yo erina okutukirizibwa okufaanana n’ensala ya kooti z’amateeka. Mu Uganda mulimu ebitongole ebyessa ku mulimu gw’okugonjoola enkaayana z’abantu n’ez’ebitongole nga bikozesa ekkubo eddala ery’okugonjoola enkaayana 10 Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Obwenkanya mu Bonna (ADR), era ekimu ku bitongole ebikola omulimu guno kiyitibwa “Centre for Arbitration and Dispute resolution” (CADER)” (Okumanya ebisingawo ku kitongole kino CADER, yongera okusoma Esuula ogukwata ku bitongole ebikwasisa amateeka n’okussa obwenkanya mu nkola) Omugaso oguli mu kweyambisa enkola y’ekkubo eddala ery’okugonjoola emisango, (ADR) Enkola eno ey’okweyambisa ekkubo lino erya ADR erimu emigaso egiwera: Empozesa y’emisango gy’okutawulula enkaayana eyinza okussibwawo mu ? bwangu wonna abawozanganya we bagyagalira. Emitendera gy’empoza giba mimpi okusinga bwe gibeera mu kooti ne ? kiyamba okufissaawo ku budde eri abantu abakola ennyo. Empozesa y’emisango mu ntegeka ya ADR ebeera ya kyama olw’okwewala ? Obutafaananakon’empozesay’emisangoemiralamumateeka,abawozanganya ? mu ntegeka ya ADR basigala be balina okuwa ekyenkomerero nga bakkaanya ku kitukiddwako. Era n’obuyinza bwabwe mu mateeka babusigaza bwe baba bakkiriziganya ku ? kituukidwako ku nsonga z’ebyobusuubuzi aba ezaabwe ez’obuuntu. Mu mpozesa y’emisango gino eggya ADR abawozanganya be beerondera omuntu gwe baagala akubirize empoza zabwe. Entegeeragana (ekisaliddwawo) bw’emala okukkiriziganyizibwako, eteekwa okussibwa mu nkola nga ensala ya kooti y’amateeka bw’ekolebwako okusinziira ku tteeka eryayisibwa olukiiko lw’eggwanga. Ebitongole ebivunaanyizibwa mu ku kusaawo obwenkanya mu bantu Waliwo ebitongole bya gavumenti ebiwerako ebivunaayizibwa okulaba nga obwenkanya butusibwa mu Bantu. Mu kiseera kino waliwo ebitongole kkumi na bisatu (13) ebikolera mu manvuli y’ekitongole ekinene ekimanyiddwa nga OBWENKANYA N’OKUKWASISA AMATEEKA (Justice, law and order secto-JLOS) ekirubirira okutumbula enkwanaganya, okumanyigana awamu n’ekolagana wakati w`ebitongole ebyo byenyini. Ebitongole bya JLOS eby’ekinyusi Bino by’ebitongole eby’ekinyusi JLOS kwe yesibidde: Akakiiko akalonda abalamuzi, minisitule y’abyobwenkanya n’ensonga za Ssemateeka, ekitongole kya Puliisi, essiga ly’abalamuzi, ekitongole ekiwaabi ky’emisango, ekitongole ky’amakomera, minisitule y’ensonga ez’omunda mu ggwanga, akakiiko ka Uganda akakola ku kukyusa amateeka, kooti z’ebitundu mu minisitule ya gavumenti z’ebitundu, minisitule y’ekikula ky’abantu, abakozi n’okukulaakulana kw’embeera z’abantu (Omuli ekitongole ekirabirira abaana abazzi b’emisango nga kakolagana n’Ekitongole ky’abavubuka), Akakiiko akatakabanira eddembe ly’obuntu. Ebitongole ebirina obwamemba mu JLOS Bye bino: Law Development Centre, Tax Appeals Tribunal, Uganda Law Society ne Centre for Arbitration and Dispute Resolutions. JLOS kirina eggwandisizo eritabaganya/erikwataganyiza awamu emirimu gy’ebitongole ebiri mu manvuli ya JLOS egy’okussaawo obwenkanya wamu n’okukuuma obutebenkevu mu ggwanga. JLOS kisangibwa mu minisitule y’ebwenkanya n’ensonga za ssemateeka. Okwongereza ku bitongole ebyo, waliwo n’ebibiina ebirala ebyenyigira mu by’amateeka n’okussaawo obwenkanya. Mu bibiina ebyo mwe muzingirwa bino: Kooti eziwozesa (eziramula) emisango gy’enkaayana ez’enjawulo. Okugeza, kooti z’amagye, kooti y’ebyabakozi, kooti y’ebyettaka, kooti ya Uganda ey’ebyentambula n’eby’empuliziganya, ate ne kooti etawulula enkaayana y’ebyamasannyalaze. Waliwo era n’ebibina by’abakugu/by’abayivu, okugeza Uganda Law Society, nabyo birina obuyinza obw’okuwozesa bannakibiina baabyo ku nsonga ezikwata ku nneeyisa yaabwe eyekuusa ku bwenkanya mu mateeka g’ebibiina byabwe. Omulimu gw’okutuukiriza obwenkaaya era gwenyigirwamu abakozi abetaba mu ntereeza n’enzirukanya y’emirimu gya kooti, okugeza, bannamateeka (bapuliida), abateesa n’abawi b’amagezi mu byamateeka. 12 Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Obwenkanya mu Bonna Ebimu ku bibiina ebyo bye bino: Ekibiina ekigatta banamateeka abakazi ekisinga okumanyibwa nga FIDA, Legal Aid Clinic of the Uganda Law Society, Law Development Centre, legal Aid Clinic, Public Defender Organization, ne Legal Aid Clinic of the Foundation for Human Rights Initiatives. Lwa kubasembyayo, naye abantu ba bulijjo bakola omulimu munene nnyo mu kussaawoobwenkanya. Abantubabulijjobebeeyambisaobuweerezaobukolebwa ebibiina ebyo byonna ebyogeddwako waggulu nga bitakabanira obwenkanya. Ekyokulabirako, abantu ba bulijjo be baloopa emisango egizziddwa oba be bawa obujjulizi mu kooti ne mu nkaayana endala. Buli muntu alina obuvunaanyizibwa obw’okukwasisa amateeka n’okussawo ob- wenkanya akola omulimu gwa ttendo. Era omuntu omu bwalemwa okutuuki- riza obuvunaanyizibwa bwe oba omulimu gwo oba bwatagutuukiriza bulungi, kiba kitegeeza nti ne “nnamuziga w’ekigaali ekireeta obwenkanya” teziyinza ku- tambula bulungi. Emisingi emikulu egy’amateeka n’obwenkanya Mu kussaawo obwenkanya, wateekwa okubaawo okussa ekitiibwa mu ? Ebitongole ebivunaanyizibwa ku kukwasisa amateeka n’okussaawo ? obwenkanya emirimu gye bikola gikwata butereevu ku buyinza bwa bannansi. Ssemateeka wa Uganda alambika bulungi eddembe n’obuyinza bannansi bye ? Esuula ogwokuna ogwa Ssemateeka wa Uganda gwoleka bulungi obuyinza ? buno wamanga: (i) Obuyinza okuba n’obulamu (ii) Okuba n’obuyinza obwenkanankana mu maaso g’etteeka. (iii) Okuba n’eddembe ery’obutasosolwa (iv) Okuba n’obuyinza ku ddembe ly’obuntu 13 Esuula 1 Obwenkanya mu Bonna (v) Okuba n’eddembe ly’obwebange okuwozesebwa mu bwenkanya (vi) Okuba n’eddembe ly’obwebange okwegata ku bantu banno. (vii) Okuba n’eddembe ly’obwebange ku bintu by’obwaananyini. Waliwo n’eddembe ly’obwebange obulala obulambikidwa mu Ssemateeka obukwata ku kussaawo obwenkanya era bwe buno: Okutumbula entabagana n’enzisa mu nkola obwenkanya awatali ? Eddembe ly’obwebange okuwozesebwa mu lujjudde ate mu bwangu mu ? Omuwawaabirwa okuba n’eddembe ly’obwebange okuweebwa obudde ? obumala n’ebyokweyambisa okutegeka empoza ye. Okuban’obuyinzaokufunamunamateekaasasuddwagavumentiokuwolereza ? omuwawaabirwa avunaanibwa omusango gwa nnaggomola. Okuba n’eddembe ly’obwebange okufuna omuvunnuzi mu kooti ng’awoza. Okuba n’eddembe ly’obwebange avunaanibwa okufuna munamateeka gwe ? yeebuuzaako nga ali mu busibe, ssaako okujjanjabibwa ng’alwadde awamu n’okulabagana n’abantu be nga ali mu kkomera. Emilamwa gy’amateeka gano agamu gyesigamizibwa ku bwenkanya ? Emitemwa gy’obwenkanya obw’ensibo Ebitongole ebivunanyizibwa ku mateeka ne ku kussaawo obwenkanya bwe biba bituukiriza omulimu gwabyo birina okugoberera emiramwa gy’obwenkaanya obw’ensibo. Emiramwa gino gye girambika obwenkanya mu kugonjoola enkaayana awamu n’obuyinza n’obuvunaanyizibwa. Egimu kumiramwa gino gyatekebwa mu ssemateeka w’eggwanga. Okugeza akawayilo akamu kakubiririza eddembe ly’obuntu mu nsonga ? oba mukuvunnanibwa okugobererwa mu bwesimbu ensala y’emisango eri mulujudde mu maaso ga kkooti eteekubirira ate nga ludda oba mu kakiiko akalamuzi 14 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Akawayilo kano aka Ssemateeka kakwaata ku kkooti ezituula mubutongole ? n’obukiiko obulamuzi obulala Obukiiko obulamuzi by’ebitongole oba abantu abaweebwa obuyinza bwa ? kkooti obukwata ku ddembe ly’abantu, gamba nga Olukiiko lw’amateeka (Law Council), Akakiiko ka puliisi (Police Disciplinary Court), Akakiiko kabakozi (Public Service Commission) Akakiiko k’ebyobulamuzi (Judicial Service Commission) ne akakiiko ka basawo abatendeke nabasawo bamannyo (Medical & Dental Practitioners) Ssemateeka akuutiriza amazima n’obwenkanya mu bukiiko buno ? Obwenkanya obwe’ensibo bulina okugobererwa mu kusala ensonga, okugeza ? wakati womukozesa n’omukozi Obwenkanya obwe’ensibo bulina okugobererwa yadde ng’endagiro ya ? palamenti (Act of Palament) ekikonyeko oba nedda. Ensala yonna ekolebwa ng’egootanya n’obwenkanya obwe’ensibo buyinza ? okuwakanyizibwa mu kkooti enkulu n’okusazibwamu Obutagoberera nkola y’obwenkanya obwe’ensibo kuyinza okugulibwako ? omusango mu kkooti n’okulagirwa okuliibwa Emisingi emirala ennamula y’ensibo kweyimiridde gye gino wammanga: Ennamula eteekubirira ludda Waliwo enjogera egamba nti omuntu talina kwesalira musango ? Omukungu weby’obulamuzi oba akakiiko kona akalamuzi tekatekeddwa ? kusala nsonga wekaba nga kalowoozebwa okwekubira ludda olumu Kino era kikwata ne ku mukungu w’obulamuzi yenna alowoozebwa ? okwekubira ludda olumu Okugeza, omukungu w’obulamuzi tatekeddwa ku sala nsonga ku kitongole ? N’era omukungu w’obulamuzi w’obulamuzi tatekeddwa ku tuula ku ? kakiiko akalamuzi ng’okwemulugunya kukwata ku muntu gwebavuganya mu bizinesi. Obwenkanya obwe’ensibo bulagira omuntu yenna alabika okwekubirira ? oludda okulekulira ekifo kye Omulamwa guli nti ennamula terina kulabibwa nti okoleddwa bukozi naye ? 15 Esuula 1 Obwenkanya mu Bonna Eddembe ly’okuwulirirwa Ekirala ekikulu mu nnamula y’ensibo ly’eddembe ly’okuwulizibwa ? Kyateeka nti enjuyi zonna mu kwemulugunya zirina okuwulizibwa ? Omuntu talina kusingibwa musango oba okujjerebwa ng’ensonga ? tenawulizibwa Wabula omuntu yenna bwatalabika mu kuwuliriza ensonga , ng’abadde ? ategezeddwa, akakkiko akalamuzi kalina obuyinza okugenda mu maaso n’omusango Obwenkanya obwe’ensibo tebukoma kwoyo avunaana oba avunaaniddwa ? bokka Kugobererwa mu nsonga zonna ezokwemulugunya mu buyinza ? n’obuvunaanyizibwa bw’omuntu Eddembe ly’okutegeezebwa envunaana Empuliza y’omusango ennugamo okubaawo ab’amateeka n’ebitongole ? by’amateeka birina okulaba nga omuwawabirwa ategezebwa mu budde ekimuvunaanwa. Omuwawabirwa alina okuweebwa omukisa okutegeka okweyimirirwa kwe. Omuwawaabirwa alina okuweebwa obudde obumala okutegeka empoza ye. 16 Obwenkanya mu Bonna Esuula 2 Akakiiko akalonda abalamuzi (jsc) Endagiriro Judicial Service Commission Ground Floor Farmers House Plot 6/7 Parliament Avenue P.O. Box 7679 Kampala Tel: 0414-344154/109/311600 Website: www.jsc.go.ug Ennyanjula Akakiiko akalonda abalamuzi katongozebwa mu ssemateeka wa Uganda mu 1995 era nga kemalira. Akakiiko kano kavunanyizibwa bino wammanga: Okulonda n’okukangavula ab’akungu abali mu by’obulamuzi ? Okusaka n’okusengejja amawulire agafa ku by’obulamuzi mu ggwanga ? Okutereeza n’okusaasaanya entegeera y’obulamuzi mu bakungu abali mu ? by’amateeka Okuyigiriza n’okumanyisa ebifa ku nzirukanya ye by’obulamuzi mu bantu ? ababulijjo Okuwabula gavumenti mu by’obulamuzi ? Enfaanana y’akakiiko akalonda abalamuzi Akakiiko kano kaliko abantu mwenda (9) abalondebwa pulezidenti wa Uganda ne batongozebwa olukiiko lw’eggwanga ekkulu (palamenti) ng’esinzira ku neyisa ennungamu n’amazima ge balina. Enfaanana y’akakiiko kano eri bweti wamanga: Ssentebe n’omumyuka we nga batuukiriza ebisanyizo by’okulondebwa ku ? 2 2 17 Esuula 2 Obwenkanya mu Bonna Bammemba babiri nga bateekeddwa okubeera bannamateeka abalina ? obumanyirivu obutakka wansi w’emyaka kumi n’etaano (15) Omulamuzi omu ow’ekkooti eyokuntikko ng’alondebwa pulesidenti ? ng’amazekwebuuzakubalamuziab’ekkootieyokuntikko,kkootiejulirwamu, n’ekkooti enkulu Bannansi babiri nga ssi banamateeka nga balondebwa pulezidenti ? Munnansi omu ng’alondebwa abakakiiko akalonda abakozi ba gavumenti. Ssabawolereza wa gavumenti naye memba omutongole. Bammemba bonna ab’akakiiko akalobda abalamuzi baweebwa ekisanja kya myaaka ena era nga basobola okuddamu okulondebwa. Enzirukanya y’akakiiko kano Akakiiko kakulirwa ssentebe era ng’avunanyizibwa okukaddukanya ? Ssentebe y’akulembera enkiiko nga zitudde ? Omumyuka wa ssentebe yakulembera enkiiko nga ssentebe tabaddewo. Bombi bwe babanga tebaliiwo olwo nno omulamuzi wa kkooti e’yokuntikko yakakulembera. Ssentebe y’ekalabalaba w’enzirukanya y’emirimo gy’omuwandiisi ? Akakiiko era kalina ekitongole ekikakalaya emirimo gyakyo nga kikulemberwa omuwandiisi Omuwandiisi ono ali ku ddala ly’omukungu mu bitongole bya gavumenti ? owenkakalira avunanyizibwa okubega ebyo ebina gobererwa ab’akakiio. Avunanyizibwa okugddukanya emirimo gy’akakiiko egyabulijjo ? n’okutebenkanya abakozi abalala mu kakiiko kano Omuwandiisi wako era ye muwanika w’akakiiko kano. Akakiiko akalonda abalamuzi kamenyeddwamu ebitongole bisatu. Ekikola ku by’enjigiliza n’enkolagana n’abantu ababulijjo nga kikulemberwa ? omuwandiisi omutongole Ekikola ku kononyereza n’ebyenzirukanya nga nakyo kikulemberwa ? omuwandiisi omutongole 18 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi N’ekikola ku by’enfuna nentetenkanya ekikulemberwa omulamuzi omuto. Enkola y’akakiiko akalonda abalamuzi Enkola y’akakiiko kano yatongozebwa mu ssemateeka wa Uganda wabula ng’egenze ekyusibwakyusibwa okusinzira ku ndagiro za palamenti nga bwezibadde zijja. Enkola zino zezino wamanga: Okuwabula pulezidenti ng’alonda omulamuzi omukulu ow’eggwanga, ? omumyuka we, kalabalaba w’abalamuzi, abalamuzi b’ekkooti eyokuntikko, abalamuzi b’ekkooti ezijulirwamu, abalamuzi b’ekkooti enkulu, omuwandiisi omukulu ow’ekkooti n’abawandiisi abalala. Okulonda abatongole be by’amateeka okwongereza kwabo abamenyeddwa ? Okuwabula omulamuzi omukulu kunnonda za ba ssentebe n’abobukiiko ? obukola ku nnamula z’ebyettaka mu distulikiti. Okusinzira ku ndagiro y’amasanyalaze, ngakakubaganya ebilowoozo ne ? minisita w’amasanyalaze, olukiiko lulonda bassentebbe n’ababamyuka wamu n’omuwandiisi w’akakiiko akagonjola enkayana mu by’amasanyalaze. Okusinzira ku ndagiro y’ebyempuliziganya ga Uganda, olukiiko luyamba ? pulesidenti ng’alonda ssentebe ne bamemba abalala babiri ku kakiiko akalamula ku byempuliziganya mu Uganda. Kakaanya ku ngoberera entongole enegobererwa abatongole be by’amateeka, ? Kategeka emisomo nekabunya amawulire amatongole eri abakungu be ? by’amateeka, n’obukiiko obulamula eby’ettaka. Kasaka amawulire agava mu bantu ababulijjo kundowooza yaabwe ku ? ntambula y’eby’amateeka, ab’obukiiko obulamula ebyettaka, n’enkwasiza y’amateeka bulamba lamba nekagasengejja, ne kaletawo entabaganya. Kawabula gavumenti kunzirukanya n’enkwasiza y’amateek ? Endairo eziva mu palamenti ku lukiiko luno zikwata kunonda z’abantu ku ? Obukiiko buno bulimu obugonjoola eb’ettaka ku disutilikiti, n’entebaganya mu byamasanyalaze Okutetenkanya emirimo emirala gyonna egikawereddwa mu mateeka. 19 Esuula 2 Obwenkanya mu Bonna Okukubiliza essomo ly’omwoyo gwe ggwanga munzirukanya embera z’abantu Olukiiko oluvunanyizibwa kunzirukanya y’amateeka, lwa webwa obuyinza mu ssemateeka wa Uganda, okukubiliza enjigiriza y’amateeka n’enzirukanya yaago mu bantu. Ekitongole ky’ebyenjigiriza n’enkolagana mu bantu kye kyetikka omugugu guno. Amakulu g’essomo lino munzirukanya embera z’abantu Essomo munzirukanya y’embera z’abantu litegekebwa abakugu mu by’amateeka era nga litegekebwa nga lisinziira ku bibinja by’abantu ababa balondeddwa okubatangaaza ku ddembe lyabwe ery’obwebange n’eneyisa ng’omutuuze mumbera ya democracia. Essomo ly’omwoyo gwe ggwanga liyamba okutekateeka abantu mu kuteesa ? obulungi nemu nkulakulana mubitundu byabwe ne mu ggwanga okutwalibwa awamu. Lissobezesa abantu okwetaba mu by’emisomo by’amateeka ? Liyamba okunyika empisa z’eggwanga awamu n’eza democracia mu bantu ? Liyamba okuzimba obuvunanyizibwa mu batuuze nga libamanyisa eddembe ? lyabwe ery’obwebange n’obuvunnayizibwa bwabwe nga bannansi. Lissobeseza abantu okuteeka munkola n’okugoberera, n’okumanya eddembe ? lyabwe mu kkooti z’amateeka ne mu bitongole ebirala nga libayigiriza enkola y’ekkooti n’ebitongole bino Obuvunanyizibwa bw’okubulirira gavumenti mu enzirukanya y’amateeka Olukiiko luno, nga lwesigamye ku ssemateeka, lulina obuvunanyizibwa owokuwabula gavumenti mungeri y’okuddukanyamu amateeka Ekitongole ekikola ku kunonyereza n’eby’okulambula kivunanyizibwa ? Amakubo agayitibwamu okutuukiriza kino mwe muli okulambula kkooti n’ebitongole ebilamula ebirala mu Uganda Kivunanyizibwa okukunganya endowooza z’abantu ekisoboseza olukiiko ? okuwabula gavumenti obulungi 20 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Okulonda abakungu b’eby’obulamuzi Abakungu be by’amateeka be balamuzi, omuwandiisi omukulu, abawandiisi abalala abavunanyizibwa ku kulamula n’okusala emisango. Olukiiko luno lwe lwokka lweluklizibwa okulonda abakungu beby’amateeka. Mu kulonda abakungu be by’amateeka ku madala agenjawulo (kwe kugamba ? nga kubulamuzi bw’ekkooti eyokuntikko, kkooti eyokujulirwamu, oba kkooti enkulu) akakiiko kano ke kawa pulesidenti olukalala lwamanya. Olwo pulesidendi nalonda abo abasanidde ngasinzira ku lukalala lwamanya ? Olukalala lwa mmanya olwo neluwerezebwa mu palamenti okuluyisa ? Pulesidenti nalyoka atongoza abo ababa bayisiddwa ? Kunsonga y’abalamuzi n’abawandiisi akakiiko kasooka kwekkenenya ? n’okubabulirizaako mpozzi n’okubasengejja. Okuwa enfo ez’okukelebwamu kukolebwa abali mu by’obulamuzi ? Entegeragana y’omulimo, ekisanja n’obuvunanyizibwa bw’abakungu abalondeddwa Akakiiko akalonda abalamuzi neera kekasalawo ku neyisa n’okubeerawo kw’abakungu bano. Akakiiko kavunnanyizibwa okulabanga enneyisa y’abalamuzi ba kkooti ? enkulu, n’ento nnungamu era nga tebusibwabusibwa. Kino kikolebwa okuzimba obwesigwa mu baba balamuddwa. Abalamuzi batereera bulungi ku mulimo gwabwe nga tebalina nkenyera. Tebasobola kumal ga mamulwako okujako mungeri egoberera amakubo agatekeddwawo ssemateeka w’eggwanga. Enteekateeka eno egoberera akakiiko akokulamula akalondebwa pulesidenti ? Buvunanyizibwa bw’akiiko kano okutegeeza pulesidenti oba amakubo ? agokozeseddwa okugoba abalamuzi matuufu. Kabineti nayo esobola okusaawo akakiio kayo okubulirira ku mulamuzi ? Ebigobesa omulamuzi yenna bye bino wammanga: ? 21 Esuula 2 Obwenkanya mu Bonna Ng’omulamuzi ateberezebwa obutasola kuddukanya emirimo gye nga i. ba sinziira kumbeera y’obulamu bwe obw’omubili n’obw’Esuula Enneyisa embi oba edobonkanya ekitiibwa kye ii. Kunsonga y’amateeka g’obulamuzi obuto n’abawandiisi, okukangavula ? kwabwe kukolebwa omuwandiisi omukulu Omuwandiisi omukulu ayinza okuyimiriza omukungu yenna ensonga ? nagyongerayo mu kakiiko Akakiiko kasobola okubuliriza ku nsonga yonna kulwakyo bwe kaba kalaba ? nti ow’obulamuzi yenna awabye kumulamwa Akakiiko kagoberera ennamula y’obutonde (natural law) munkola yaako ? Omukungu attegezebwa ensong ezimuvunanyizibwa asobole okwewozaako ? Omukungu w’eby’obulamuzi akkirizibwa okweyambisa munnamateeka ? Okuwozesa mu kakiiko kukolebwa mu nkukutu wabula ebiba bivuddemu ? Emmenya y’amateeka mu nneyisa Akakiiko akalonda abalamuzi kamenya wammanga ebyo kwe kasinziira okusalawo ani abamenye amateeka ne nneyisa. Enneyisa etasanidde: Gamba ng’okweyononera erinnya n’obwesigwa mu by’amateeka 2. Obulyake n’okuweebula ofiisi gy’olimu: Gamba ng’obussossoze, obutali bwenkanya, enguzi ng’osuubira okufuna mu oba okufunira omulala. Obutalibumalirivu ku mulimo: Gamba ng’obutakwata budde oba obutagendera ddala ku mulimo mu bugenderevu. Okuddobonkanya ennamula: Gamba ng’obutawa bujulizi n’ebirala mubugenderevu 22 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Okuloopa okwemulugunya n’endowooza eva eri abantu Akakiiko kano kaweebwa obuyinza okulopebwa enkaayana z’abantu n’endowooza okuvu eri omuntu yenna oba abantu bonna ku nneyisa embi ey’omukungu w’eby’obulamuzi. Okwemulugunya kuno, ssi kyateeka nti kulina okubanga ku kwaatu kumuntu ? kinoomu, wabula kisoboka okukwata ku kitongole kyonna awamu Okwemulugunyaoba enteseganya ziyinza okuweebwa nga zilumiriza ? ekitongole ky’ebyamateeka kyona awamu, oba kungeri ennamula y’emisango bwekolebwamu Omuwawabirwa ssi kyateeka nti atekeddwa okuba nga ya kosseddwa ? Okwemulugunya kw’akoseddwa kuyinza okutwalibwa omuntu yenna atali ? ye,gambangaabenganda,abemikwano,munnamateekawe.Ebitongoleebirala ebya gavumenti oba omuntu yenna omulala alumirwa eby’obulamuzi Okwemulugunya kuno kulina okuba nga katusibwa mu kakiiko obutassusa ? eyaka esatu (3) bukya kuziddwa Okwemulugunya w’okutwala Enemulugunya ziyinza okutwalibwa ku kitebe ekikulu eky’akakiiko oba ? Okwemulugunya kuyinza okusibwa mubuwandiike wekiba ng’omuwabi ? amanyi okuwandiika Abatamanyi kuwandiika okwemulugunya kwabwe kaatulwa mu maaso ? g’omukungu w’akakiiko Olwo omukungu atekeddwa okubussa mu buwandiike era omuwaabi ? nakisaako olugalo lwe Okwemulugunya kuno wekuba nga kuvudde bweru wa Kampala olwo ? akakiiko kasaba ebitongole ebirala ebya gavumenti okukayambako. Ebitongole ebisobola okutuukibwako bye bino wamanga: 1. Abakungu abenzirukanya gy’emirimu gya gavumenti (CAO) 2. Ab’ekitongole ekikola ku ddemba ly’obuntu ery’obwebange mu Uganda (UHRC) 3. Offiisi za kalabalaba wa gavumenti ez’ebutundu 4. N’enfo endala zonna akakiiko kano zekaba kalonze 23 Esuula 2 Obwenkanya mu Bonna Oyo aba yemulugunya asobola okussa okwemulugunya kwe mu baasa nagissa ? mu kabokisi mu nfo ezimenyeddwa waggulu bwe ziba nga weziri Ebaasa erimu okwemulugunya kuno elina okubeerako errinya lyoyo ? ab’agireese, endagiriro gy’abeera neya posita, n’ennamba ye ssimu kwe basobola okumutuukirira Okwemulugunya kuno kusobola kukolebwa kwani? Omuntu yenna asobola okwemulugunyiza akakiiko kano kubakungu bano ? Omulamuzi w’ekkooti eyokuntiiko, omulamuzi w’ekkooti ejulirwamu n’omulamuzi w’ekkooti enkulu 2. Omuwandiisi omukulu owa gavumenti oba ow’ekkooti 3. Omulamuzi omukulu ow’ekkooti ento, n’abalamuzi abali kuddaala erisooka n’eryokubiri 4. Ssentebe oba memba yenna w’ebitongole ebilamula ebyettaka mu ndagiro ly’ettaka ekkulu 5. Ssentebe oba memba w’ekitongole ekilamula eb’empuliziganya 6. Ssentebe oba memba w’ekitongole ekilamula enkayana mu by’amasanyalaze 7. Omuntu yenna omulala akola mu kkooti oba ekitongole ekilamula, nga bwe kiri mu mateeka Ebyo ng’obitadde ku bbali, mu nsonga y’omukungu owawansi ng’omutaputa ? wa kkooti, abatumibwa, abakuba taipu, abawanika n’abalala abali mu kitongole ekilamuzi, abantu ababulijjo tebatekeddwa kubawawabira eri akakiiko kano wabula bagenda butereevu ew’omulamuzi w’ekkooti ento, omulamuzi w’ekkooti enkulu, omuwandiisi wa gavumenti, bakalabalaba b’amakkooti, omuwandiisi wa gavumenti omukulu, omulamuzi yenna oba kalabalaba w’abalamuzi. Oyo yenna avunanibwa, bwekizuulibwa nga tewalikikoleddwa, oyo aba ? yemulugunya asobola okuwaba mu kakiiko akalonda abalamuzi. 24 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Enfanana y’okwemulugunya Okwemulugunya mu kakiiko kano esobola okukolebwa mu lwaatu oba mu buwandiike. Wabula we kuba nga kukoleddwa mu lwaatu omukungu w’akakiiko oba omukiise waako atekeddwa okubussa mu buwandiike. Okwemulugunya kusobola okubeera ku emu oba endala mu mmenya y’amateeka. Okwemulugunya kwonna mu buwandiike, kalina okwasanguza ebintu bino wamanga: Ammanya amajuvu, emmyaka, endagiriro eya posita n’eyobutuuze, omulimu ? (wab’agulina) gw’oyo aba yemulugunya Ebikwata ku kitongole oba omuntu yenna aba yemulugunya ? Oy’aba yemulugunya alina okumenyebwa amanya n’ewankubadde nga ? Wabula akakiiko ka ddembe okusilikirira amanya gano bwe kalaba nga kisanidde Omuwabi alina okuwa obujjulizi oby’emennya yamateeka mu kutegeera kwe ? oba gyebuvudde ng’asobola okuleeta abajjulizi, ebiwandiiko oba ennaku we byabeerawo Okwemulugunya kulina okuwandiikibwa mu lulimi olutegerekeka, nga ? telulimu bivumo eri omuntu oba ekitongole ekyemulugunyisaako. Tekulina kubeera nga kusiikula ffitina oba nga kusinziira ku buntu obutalimu nsa Engobererra y’okuwayo okwemulugunya Omuntu oba ekitongole kiyinza okuwaayo okwemulugunya mu lwaatu eri ? omuwandiisi w’akakiiko kano oba eri oyo yenna anaaba akkiriziddwa oku kakiikirira, anaabussa mu buwandiike. Ekiwandiiko ky’eyemulugunya kimusomebwa era nalyoka akisaako ? omukono oba ekigalo okukakasa ng’ebiwandikiddwa bituufu. Okwemulugunya kukolebwa mu lulimi olungereza oba mululimi ? lw’ekinnansi olutekeddwa okuvunnulwa mu lulimi olungereza; Ebiwandiiko by’okwemulugunya, ekivunule mu lungereza ne ky’olulimi lw’ekinnansi, byombi bitwalibwa mu kakiiko Eyemulugunya asobola okuwayo ammanya n’endagiriro z’abajjulizi be ? Akakiiko nga tekanakkiriza mubutongole okwemulugunya okwo kaddembe ? okusaba omuwabi yenna okukawa obujjulizi bwona bwalina, n’ebiwandiiko ebigenderako nga bwe kalaba kisanidde. 25 Esuula 2 Obwenkanya mu Bonna Emitendera egiyitibwamu munkwata y’okwemulugunya Olufuna okwemulugunya kwonna, kakiiko kasalawo oba kulimu obukulu ? Akakiiko kekasalawo ob’okwemulugunya kulimu ensa olwo nekateekateeka ? olunaku lw’okuluwulira Omuwandiisi w’akakiiko awereza ekiwandiiko ky’empuliza ? y’okwemulugunya kuno eri abo bekikwatako. Abawawabirwa bawerezebwa ekiwandiiko kunsonga eno n’olunaku ? Kino kiyitibwa `kuwereza’ Ngatekisobose kubatuukirira mubuntu, ebaluwa entongole zisindikibwa mu ? posta oba mumpapula zamawulire Okuwulira kuna tekulina kussukka nnaku 21 okuv’okuwereza ebbaluwa ? Okuwereza kuno mu bbaluwa kuyinza okusaba abawawabirwa nabo ? abemulugunya okuwaayo byonna ebikwata ku kwemulugunya kuno mubuwandiike, ennaku 10 ng’olunaku olwo kuwulira tekunatuuka. Omuntu yenna ku njuyi zombi walemererwa okulabika mu kakiiko ? ng’olunaku lw’okuwulira ensonga lutuuse, akakiiko kaddembe okusalawo kunsonga eno nga lumaze okukakasa nti ebbaluwa ezibayita zawerezebwa mu budde. Akakiiko bwe kabakasazewo kunsonga eno kulwako oluyi olutaliwo lusobola ? okusaba olunaku olulala okuwulirwa Akakiiko bwekazuula nti ebbaluwa tezawerezebwa mu budde oba abawaabi ? n’abawawabirwa balina ensonga ematiza obutalaka mu lukiiko ku lunaku lwebayitibwa, akakiiko kasobola okuwulira okwemulugunya kuno nate. Ennamula y’akakiiko ewrezebwa mu buwandiike ? Omuwandiisi awereza kkopi y’ennamula ku njuyi zombi mu nsonga eno. Akakiiko kasobola, nga kamaze okubasoloozaako ensimbi, okuwereza kkopi eri omuntu yenna oba ekitongole kyonna ekirina enkwasi mu nsonga eno Akakiiko kasobola okukuba obulango kunnamula yaako mu mpapula ? z’amawulire oba okukilangirira kumpewo gyekinaba kisazewo okukozesa 26 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Okwemulugunya we kugobebwa Ng’okwemulugunyakuweweddwayo,omukunguobaomuntuyennaakakasiddwa akakiiko kano asobola okukagoba ng’asinzira ku nsonga zino wamanga: Nga tekukwata ku nzirukanya y’eby’obulamuzi oba entambula ennungamu ? eza kkooti Nga tekukwata kenneyisa y’omukungu w’eby’obulamuzi oba omuntu yenna ? akola ku nzirukanya y’obulamuzi Nga tekulimu nsa, ku siiga enziro, kwa ffutwa, nga tekasanidde oba nga ? tekesigamye ku mateeka Okwemulugunya nga kugobeddwa, akakiiko kategeza omuwabi mubuwandiike ensonga lwaki kasazewo katyo. Akakiiko bwe kalaba ng’ensonga ekasukiridde ko, kajongezayo mu b’obuyinza obulala. Ebilagiro akakiiko zekasobola okuyisa Omukungu w’eby’obulamuzi ng’asingiddwa omusango gw’enneyisa etasanidde, akakiiko kasobola okumuwa ebimu ku bibonerezo bino wamanga: 1. Okwongezayo ekiseera ky’okwogeza omusaala 8. Okulagira asasule ebyo byonna ebibabisasanyiddwa oba ebibe byononeddwa olw’enneyisa embi emenya amateeka 27 Esuula 2 Obwenkanya mu Bonna Okujjulira kw’omukungu w’eby’obulamuzi Omukungu w’eby’obulamuzi, nga tamatidde nnamula y’akakiiko kano asobola okujulirwa bwa saba obtassussa nnaku 30 ng’okulamula kukoleddwa, ew’akakiiko kabalamuzi basatu ab’ekkooti enkulu nga yasanguza ensonga ze. 28 Obwenkanya mu Bonna Esuula 3 Essiga Ery’ekiramuzi Endagiriro The Judiciary Courts of Judicature High Court Building P.O. Box 7085, Kampala Tel: 0414-233420/3 Website: www.judicature.go.ug Email: infi@judicature.go.ug NB: Gavumenti eyimirira/etuula ku masiga asatu; Ery’ekiramuzi, Eriy’amateeka/Palamenti, neryo erisa munkola amateeka oba enteekateeka za gavumenti zonna. Essiga ly’abalamuzi kye kitongole kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku kutawuuluza enkayana. Uganda erina kooti ez’amaddala ag’enjawulo. Ensengeka ya kkooti zino mu madaala ag’enjawulo ng’eva waggulu okudda wansi eri bweeti Kkooti esembayo okujulirwamu i) Kkooti esooka okujulirwamu ii) Kooti ya Ssemateeka iii) Kooti Enkulu iv) Kkooti y’omulamuzi omukulu v) Kkooti y’omulamuzi ey’eddaala erisooka vi) Kkooti y’omulamuzi ey’eddaala eyokubiri vii) Kkooti zirina obuyinza obw’enjawulo. Bwe wabaawo omusango gwonna gulina okuwulirwa, kkooti erina obuyinza okuwulira n’okulamula omusango ogwo. Kkooti ezimu zirina obuyinza obusooka bwokka ate endala zirina ? Obuyinza obusooka bwe buyinza bwa kkooti okuwulira n’okulamula emisango egiwawaabiddwa omulundi ogusooka nga teguwulirwangako mu kkooti ndala yonna. 3 3 Esuula 3 29 Obwenkanya mu Bonna Obuyinzaobw’okujulirwamubwebuyinzabwakkootiokuwuliraokujulirwa ? Okujjulira kitegeeza ng’omuntu oba oludda olumu terumatidde ensalawo ya kkooti olwo n’asaba oba n’erusaba kkooti esingako okutunula mu nsalawo ya kkooti eyawansi. Kyokka waliwo kkooti ezirina obuyinza obwemirundi ebiri; obusookamu ? Kino kitegeeza nti kkooti zino zisobola okuwulira emisango egiwawaabiddwa omulundi ogusooka awamu n’okuwulira egy’okujulirwa. Obuyinza bwa kkooti okuwulira emisango busobola okwesigamizibwa ku ? Eky’okulabilako, yadde kkooti enkulu erina okuwulira emisango gyonna gibe ng’ebikayanibwa bya nsimbi ntono oba nnyingi, kkooti z’abalamuzi abato obuyinza bwazo era buyinza okugererwa ku gw’ensimbi ezisuubirwa mu musango oguleteddwa ku muwendo gwe nsimbi zebikayanibwa nga bwetereddwa mu mateeka. Kino kiyitibwa `monetary/pecuniary jurisdiction oba obuyinza mu by’ensimbi. Obuyinza bwa kkooti era bwesigamizibwa ku nsalo z’ebitundu bya kkooti ? enkulu esobola okuwozesa omusango oguvudde mu kitundu kyonna ekya Uganda, naye kooti z’abalamuzi zikoma ku misango egiba giziddwa mu bitundu kkooti ezo mwe zisangibwa Amadaala n’obuyinza bwa kkooti Kkooti nga bwezawula ez’amadaala agenjawulo zirina obuyinza obwawufu mu misango egy’ebibonerezo n’emisango egy’engassi Kkooti Esembayo okujulirwamu Eno ye kkooti esingira ddala obukulu nga y’esembayo okujulirwamu mu Uganda. Kkooti eno ejulirwamu bujulirwa era ewulira emisango egiva mu kkooti ejulirwamu. Kyokka kkooti eno erina obuyinza okuwulirwamu ku misango egw’ebyokulonda omukulembeze w’eggwanga Kkooti eno erina okutulwako abalamuzi musanvu ? Ssabalamuzi y’akulira kkooti eno wamu n’essiga ly’ekiramuzi ? Kkooti eno okuwuliriza omusango gwonna erina okuba n’omuwendo ? gw’abalamuzi ogw’ensobi, abatakka wansi wa bataano Mu kuwulira emisango egiwakanya okulondebwa kw’omukulembeze ? w’eggwanga, abalamuzi bonna omusanvu bateekwa okubaawo. 30 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Kkooti eno ewulira okujjulira okwemisango egy’ebibonerezo ? n’egy’engassi Kkooti eyokuntikko ewulira okujjulira okuva mu kkooti ejulirwamu (kkooti ? ya Ssemateeka) mu ngeri eno, kkooti eyokuntikko etuula nga kkooti ya semateeka ejulirwamu Kkooti eno ewulira okujjulira okuva mu kkooti ya ssemateeka bweba ? ng’etudde mu mateeka na abalamuzi omusanvu Bulijjo entuula za kkooti eno zikubirizibwa Ssabalamuzi oba bwaba taliwo, ? asinga obumanyirivu ku balamuzi abasigaddewo omukaaga. Tewali kujulira kubisaliddwa kkooti eno ? Kkooti Esooka Okujulirwamu Okufaananako ne kkooti essembayo okujulirwamu, kkooti ejulirwamu nayo ejulirwamu bujulirwa era tewuliriza misango giwawaabirwa mulundi gusooka Kkooti ejulirwamu ewulira misango egy’okujjulira egivudde mu kkooti ? enkulu Singa wabaawo oludda olutamatidde na nsalawo ya kkooti eno, luba lwa ? ddembe okujjulira mu kkooti essembayo okujulirwamu Muntuula zaayo kkooti eno ekolebwa omuwendo gw’abalamuzi ogw’ensobi ? Omumyuuka w’a Ssabalamuzi y’akulira kkooti eno ? Kkooti ejulirwamu terina buyinza kuwulira misango gisooka okuggyako ? ng’etudde nga kkooti ya ssemateeka Kkooti ejjulirwamu nga kkooti ya sssemateeka Kkooti ejjulirwamu yokka yerina obuyinza okutaputa ssemateeka bwe waba nga waliwo obutakanya ku kawayiro ka ssemateeka konna oba singa etteeka lya Palamenti, etteeka lyonna oba ekintu kyonna ekityoboola ssemateka w’eggwanga. Olwo nno kkooti ejjulirwamu etuula nga kkooti ya ssemateeka. Bweba etudde nga kkooti ya ssemateeka, kkooti ejulirwamu etuulako ? abalamuzi bataano Kkooti eno ebeera ekubirizibwa omumyuka wa ssabalamuzi oba bwaba ? taliwo abasinga obumanyirivu Esuula 3 31 Obwenkanya mu Bonna Kkooti enkulu Kkooti enkulu erina obuyinza obutakugirwa ku misango egy’engassi n’egy’ebibonerezo Omulamuzi omukulu owa kkooti enkulu ? Kkooti enkulu erina abalamuzi abatuuze (abasula) mu bitundu bino: ? Kampala, Nakawa, Jinja, Mbale, Gulu, Arua, Fort portal, Mbarara, Soroti ne Masaka. Kino kitegeeza nti kkooti enkulu erina abalamuzi mu bifo bino abenkakalira. Abalamuzi bano batambula mu bifo ebirala okuwulira emisango egy’ebibonerezo Kkooti enkulu erina obuyinza okukenenya emilimu gya kkooti ento. Kkooti enkulu erina obuyinza obusooka ate n’okuwulira okujjulira ku ? kusalawo kwa balamuzi abakulu n’ezabalamuzi b’eddaala erisooka Kkooti enkulu nabagituulako g’ekubirizibwa omulamuzi omu. Mu misango egy’ebibonerezo omulamuzi ayambibwako abantu babulijjo ? Mu misango egy’engassi n’egy’okujjulira ensala y’omulamuzi omukulu ? n’okuva mu kkooti ento z’abalamuzi tewaba na basesa. Newankubadde etteeka likiriza omuwendo gw’abasesa okuba ababiri oba ? okusingawo, mu misango gy’ebibonerezo egisinga obungi bakozesa abasesa babiri bokka. Mu misango egy’ebibonerezo, omulamuzi abuuza endowooza y’abawi ? Obutafaananako obuyinza mu nkola endala (Jury) endowooza y’abasesa ? Weewawo, omulamuzi ateekwa okulaga mu buwandiike ensonga lwaki ? takiriziganya na ndowooza y’abasesa b’amagezi. Kkooti enkulu yokka yerina obuyinza okuwulira emisango gya naggomola. Emisango gya naggomola gye misango gyegirimu ekibonerezo ekisinga obunene okuwanikibwa ku kalabba. Kkooti enkulu erina obuyinza okuwa ekibonerezo kyonna oba ebibonerezo ? 32 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Kkooti enkulu erina obuyinza okulagira emisango okukyusibwa give mu ? kkooti ento oba eya wansi gizibwe mu yo oba okuva mu yo okudda wansi. Kkooti enkulu egabanyiziddwamu amatabi gano: Elyengassi, ? ely’eby’ebibonerezo, ely’amaka, ely’ettaka, ely’ebyobusuubuzi, ekirwanyisa obuli bwenguzi n’ obukenuzi n’ely’emisango egiva mu ntalo. Ettabi ly’ebyobusuubuzi mu kkooti enkulu Ettabi lya kkooti enkulu ery’obusuubuzi litera okuyitibwa “Kkooti y’ebyobusuubuzi” lyatondebwawo okusobola okwanguya okuwulira emisango gy’obusubuzi mu ngeri ennungamu. Kkooti y’ebyobusuubuzi eno erina obuyinza okuwulira ensonga zonna eziva ? mu: (i) Kuva oba okuwanyisiganya ebyamaguzi oba emirimu (ii) Busuubuzi bw’ensimbi, ebintu ebisobola okukkaanyizibwako mu nsimbi, bbanja wakati w’amawanga n’ebirala. (iii) Ntegeeragana n’ekitongole oba n’eggwanga okusasula omuwendo gw’ensimbi mu bbanga eggere osobole okusasulwa ng’ofiriziddwa, ebitongole ebisasula abafiriziddwa nabyo byennyini okusasula sente mu binaakyo bisasulwe nga bifiriziddwa (iv) Okuddukanya obutale bw’ebyamaguzi n’ensimbi ez’amawanga amalala (v) Kutambuza ebyamaguzi okuyita ku ttaka, ku mazzi oba mu bbanga (vi) Ndowooza/nnamula ezizingiramu amawanga amalala n’okutawulula enkayana z’ebyobusuubuzi (vii) Nsonga zonna ezikkanyizibwako (viii) Nkaayana n’ensonga ezekuusa ku kinto eby’obwongo ng’ebirowoozo oba enteekateeka y’ekintu Kkooti eno yassaawo akakiiko ak’abakozesa nga kaliko abantu ab’ebitongole ? Mu bino nga mwe muli ekitongole ekya bannamateeka ba Uganda (ULS), ekya bannamakolero ba Uganda (UMA), Bannekolera gyange (PSFU), ekitongole ekisolooza emisolo (URA) wamu n’ebitongole bya Ssabawolereza wa gavumenti ebya minisitule ne ssemateeka Esuula 3 33 Obwenkanya mu Bonna Akakiiko kano kafuna olukiiko n’abakozi ba kkooti omulundi gumu buli ? Mu nkiiko zino abakozi ba kkooti bannyonnyola abakakiiko emirimo kkooti gy’ekola. Bakubaganya ebirowoozo ku nsonga ezeetaaga okukkaanyako, ku kwemulugunya ate n’ebirowoozo ebireeteddwa ku nzirukanya ya kkooti. Ekitongole eky’eby’obusuubuzi kino kisangibwa ku mwaliiro ogwokuna mu kizimbe “Crusade House” ekisangibwa okumpi n’ekizimbe ky’abakozi mu Kampala. Kkooti ento Uganda egabanyiziddwamu ebitundu bya kkooti ento ebyenjawulo ebiwerako ebikulirwa omulamuzi omukulu ng’ayambibwako abalamuzi ab’eddaala erisooka n’eryokubiri. Ebyokulabirako eby’ebitundu bino mulimu: Kampala, Nakawa, Mpigi, Entebbe, Mbale, Gulu, Mbarara, Rukungiri, Arua n’ebitundu ebirala Kkooti ento zigabanyizibwamu ebika bisatu: ? Kkooti y’omulamuzi ow’eddaala erisooka ii. Kkooti y’omulamuzi ow’eddala eryokubiri iii. Emabegako waaliwo kkooti z’omulamuzi ow’eddaala eryokusatu naye ? Obuyinza ku by’ensimbi mu madaala agenjawulo aga kkooti z’abalamuzi ? bwatekebwawo Palamenti (oluliiko lw’eggwanga olukulu) mu tteeka lya kkooti z’omulamuzi. Kkooti z’omulamuzi omukulu Kkooti y’omulamuzi omukulu erina obuyinza obusookerwako ate ? n’okujulirwamu Mumisangoegy’ebibonerezokkootienoerinaobuyinzaokuwozesaomusango ? gwonna okuggyako egyo egyanaggomola ng’ekibonerezo kya kuwanikibwa ku kalabba Omulamuzi omukulu asobola okuwa ekibonerezo ekikkirizibwa mu mateeka ? N’olwekyo nno ekibonerezo ekisinga obunene omulamuzi omukulu kyayinza okuwa kyakusibwa mayisa. Ensonga ezirimu okutwala ebintu by’omuntu omulala (okwekomya) ? okwonoona oba okubisaalimbiramu, ennamula tekugiddwa. 34 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Omulamuzi omukulu alina obuyinza okulondoola emirimo gya kkooti eziri ? wansi we Mu kulondoola emirimo egikolebwa, omulamuzi asobola okutumya oba ? okwekenenya failo ya kkooti eri wansi we Omulamuzi omukulu era alina obuyinza okulondoola ebigenda mu maaso ? mu kkooti z’ebyalo Omulamuzi ow’eddaala erisooka Omulamuzi ow’eddaala erisooka akkirizibwa okuwozesa ? emisango egy’ebibonererezo gyonna okuggyako egyo egiriko okuwannikibwa ku kalabba oba okusibwa amayisa ng’ekibonerezo ekisinga obunene. Mu misango egy’engassi, omulamuzi ow’eddaala erisooka osobola okuwozesa ? omusango gwonna ogulimu engassi bukadde bw’ensimbi za Uganda makumi abiri. Omulamuzi ow’eddaala eryokubiri Omulamuzi ow’eddaala eryokubiri akkirizibwa okuwozesa emisango ? Etteeka lya kkooti z’abalamuzi lirina olukalala lw’emisango omulamuzi ? ow’eddaala eryokubiri gyatasobola kuwozesa/kuwulira. Omulamuzi ow’eddaala lino (asobola okuwa ekibonerezo) eky’okusibwa ? Kkooti y’amaka n’abaana Buli disitulikiti ya Uganda erina kkooti y’amaka n’abaana nga ekubirizibwa omulamuzi ow’eddala eryokubiri Kkooti y’amaka n’abaana erina kutuula mu kyama so si mu lujjudde. Kino kitegeeza nti abantu abe bweru abatakwatibwako nsonga ezo tebateekeddwa kubeerawo nga kkooti eno etuula Kkooti y’amaka n’abaana yanditudde mu kisenge ekyawufu ku kkooti enkulu ? bwe kiba kisoboka Olulimi olungereza lwe lukozesebwa mu kkooti ? Omwana aba n’eddembe okusaba omutaputa ? Abantu bonna abatuula mu kkooti y’amaka n’abaana bateekwa okuba ? ab’ekisa Esuula 3 35 Obwenkanya mu Bonna Abaana ababa bazze mu kkooti balina okuweebwa omukisa okwogera ? Abazadde oba abo abalabirira omwana bateekwa okubaawo, singa kiba nga ? Omukulu akola ku kutasiibwa n’obulungi bw’abantu ateekwa okubaawo mu ? kkooti Kkooti eteekwa okutegeeza omwana ku ddembe lye okufuna ? amuwolerereza Omwana asingiddwa omusango, kkooti erina okumutegeeza kuddembe lye ? okujukira Kkooti y’amaka n’abaana erina okukakasa nti ekisaliddwawo kiri ku ? lwabulungi bwa mwana (kyayagala) Obuvunanyizibwa bwa ssiga enlamuzi mu kutawulula enkayana z’ettaka Okutawulula enkayana z’ettaka kuweebwa enkizo mu mateeka ga Uganda. Ssemateeka wa Uganda alagira okussibwawo kwa kkooti z’eby’ettaka ku buli disitulikiti okukola ku nsonga eno. Amateeka galagira buli disitulikiti okutondawo kkooti ya disitulikiti ? ey’eby’ettaka Kkooti zino ziwuliriza emisango gy’ettaka ng’ettaka eryogerwako terisussa ? bukadde ataano (50,000,000/=) mu kubalirira. Kkooti za disitulikiti ez’ettaka zirabirirwa (ziri wansi wa) Kkooti enkulu ? Kkooti ya disitulikiti ey’ettaka ebaako ssentebe n’abantu abalala babiri ? Ssentebe wa kkooti ya disitulikiti ey’ettaka ateekwa kuba munnamateeka ? alina ebisaanyizo eby’okubeera omulamuzi ow’eddaala erisooka oba ng’asobola okuba omuwolereza. Abantu bali abalala tekyetaagisa kuba bannamateeka, wabula baba balina ? okuba nga bamanyirivu mu songa z’ettaka Kkooti ya Disitulikiti ey’ettaka ebeera n’agikulira ayitibwa omubeezi ? w’omuwandiisi omukulu era ono y’akola (kunsonga) emirimu egy’obukulembeze mu kkooti ya disitulikiti ey’ettaka (mu kkooti eno) 36 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Emitendera egigobererwa mu kuwaaba omusango mu Kkooti y’ettaka eya Distitulikiti Okuwaba omusango mu kkooti ya disitulikiti ey’ettaka, omuwaabi ateekwa ? okuwa omumyuka w’omuwandiisi omukulu owa kkooti eno empaba ye mu buwandiike Empaaba eno eyitibwa empaaba ey’okwemulugunya. kuwandiika awaayo okwemulugunya kwe mu bigambo eri omumyuka w’omuwandiisi oba eri omukungu omulala yenna mu kkooti eyo. Omumyuka w’Omuwandiisi oba omukungu aliwo assa mu buwandiike ? omuwaabi byamugambye olwo ye (omuwaabi) nassaako omukono oba ekinkumu. Omuntu akola okwemulugunya ayitibwa “eyemulugunya” ate oyo eyemu- ? lugunyizibwako ayitibwa “eyeewozaako” Kkooti eno eweereza ebiragiro eri oyo eyemulugunyizibwako ebimulagira ? okugenda mu kkooti Abakungu ba kkooti bayinza okuyamba omuwabi eyemulugunya okutwala ? ebiragiro bino eri omuwawaabirwa (oluuyi oba enjuuyi endala) Engeri y’okudda mu semandizi Omuwawaabirwa bwafuna ebiragiro bino, awayo okwewozaako kwe mu ? bbanga lya nnaku kkumi na ttaano okuva ku lunaku lwafuniddeko ebiragiro bino.Mukubalaennakuabirimuolumu(21)olwomukaga,ssabbiitin’ennaku ez’okuwummula zonna zibalibwa Omuwawaabirwa singa alemererwa okwewozaako mu bbanga eryo kitegeeza ? nti omuwaabi n’ekkooti baba n’eddembe okugenda mu maaso n’omusango ne bwaba nga taliwo Okwewozaako bwe kuba kumaze okuweebwayo, kkooti etegeeza mu ? buwandiike enjuyi zombi olunaku olw’okuwulira omusango Enjuyi zombi zigenda mu kkooti n’abajjulizi era n’ebiwandiiko byonna ? ebyetaagisa Abakungu ba kooti bayinza okugendako awali ettaka erikaayanirwa ? Oluvanyuma lw’okuwuliriza enjuyi zombi, kkooti ewa olunaku lweneewa ? ensala yaayo Oludda olutamatidde luba lwa ddembe okujjulira mu kkooti enkulu mu ? Esuula 3 37 Obwenkanya mu Bonna Obuyinza bw’obukiiko bw’ebyalo mu kutawulula enkaayana z’ettaka Mu tteeka erifuga kkooti z’enkiiko z’ebyalo, kkooti y’olukiiko lw’omuluka ? y’etandikirwamu ensonga ezikwatagana n’enkaayana z’ettaka. Kino kitegeeza nti ensonga zonna ezirimu ettaka eririko obwannannyini obw’obuwangwa (ery’ensikirano) zirina (girina) kusookera mu kkooti y’olukiiko lw’omuluka Singa wabaawo oludda olutamatidde n’ansalawo ya kkooti y’olukiiko ? lw’omuluka lwaddembe okujjulira mu kkooti y’eggombolola. Okuva mu kkooti y’eggombolola oludda olutamatidde lujulira mu kkooti ? y’ebyettaka eya disitulikiti ate n’oluvanyuma mu kkooti enkulu Okujjulira kuno kuteekwa okukoleebwa munnaku kkumi na nnya (14). Kkooti zonna bulijjo zinnyonnyola eddembe lino ery’okujjulira n’ebbanga wekulina okukolerwa Obuyinza bwa kkooti enkulu okuwulira emisango gy’ettaka Kkooti enkulu yatondebwawo ng’erina obuyinza obutakugirwa okuwulira ? emisango gyonna egya buli bika eminene n’emitono, egya ssente ennyingi n’egy’entono ennyo. Kino kitegeeza nti omuntu asobola okuwaaba omusango gw’ettaka gwonna ? kalibe lya buwangwa/nsikirano oba nedda mu kkooti enkulu Kkooti enkulu era ewulira okujjulira okuva mu kkooti z’ebyettaka eza ? disitulikiti Singa omuntu awaaba omusango mu kkooti enkulu mu kifo kya kkooti ? y’omuluka oba eya disitulikiti, kkooti enkulu eyinza okusalawo omusango guno okuguzza mu kkooti entuufu egusaana (gye gusaana). Kkooti enkulu yokka y’erina obuyinza okulagira omuwandiisi/omukuumi ? okusazaamu ekyapa oba okusazaamu okuwandiisa okubadde kukoleddwa ku kyapa. Kyokka ebyo ebiva mu kuwulira omusango mu kkooti eza wansi bigobererwa ? era bikola ng’entandikwa y’ekiragiro / biragiro kya/bya kooti enkulu Engeri endala ez’okugonjoolamu enkaayana z’ettaka Eteeka ly’ettaka liwa omukisa engeri endala eza bulijjo ezeyambisibwa mu kugonjoola enkaayana z’ettaka okugenda mu maaso okukozesebwa mu mis- ango gy’ettaka ery’obwannanyini mu buwangwa. 38 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Obwenka Engeri zino mulimu eky’okweyambisa abakulu mu luggya ne mu kika oba ? omuntu atalina ludda (omutabagamya) Etteeka era likkiriza zi disitulikiti abatabaganya babiri oba okusingawo mu ? buli disitulikiti Abatabaganya bano balondebwa kkooti y’ebyettaka eya disitulikiti nga si ? bankalakkalira wabula nga basinziira ku misango nga bwe giba gizze. Omulimu gw’abatabaganya bano kwe kukolanga bakayungirizi abatalina ? ludda abayamba enjuyi eziri mu nkaayana z’ettaka okutuuka ku kukkaanya okulungi ku nkaayana z’ettaka zino 39 Obwenkanya mu Bonna Esuula 4 Kkooti Ez’enjawulo Ennyanjula Kkootiez’enjawuloze Kkootin’obukiikoobutekeddwawookuwuliran’okutawulula enkayana ezekika ekimu okugeza, kkooti y’amagye, kkooti y’abakozi, akakiiko akawulira enkayana zamasanyalaze, akakiiko akajjulirwamu ku by’emisolo Kkooti y’amagye Amateeka ga Uganda gateekawo kkooti zamagye. Kkooti y’amagye ya njawulo ku kkooti zabulijjo mu ngeri nti ewulira ? misango egyebibonerezo egiba giziddwa abaserikale (bamagye) n’abantu abalala abavunanibwa mu etteeka ly’amagye Kkooti z’amagye zitekebwawo etteeka erifuga eggye ly’eggwanga ? Okusinziira ku mateeka, kkooti z’amagye zigwa mu biti bitaano (5). bino: Akakiiko akakwasisa empisa, kkooti y’amagye agali mu/ ku lutalo, kkooti y’amagye ey’ekitundu, kkooti y’amagye ey’awamu n’ekkooti y’amagye ejulirwamu. KKooti y’abakozi Kkootienoyateekebwawongaey’enjawulong’omulimugwayokwekugonjoolamu bwangu enkaayana z’abakozi (obutakkiriziganya bw’abakozi) eziba zibaruseewo mu bifo bye milimo wakati w’abakozesa n’abakozi oba ebibiina bya bakozi Omusango gusobola okuwaabirwa omukozi oba, abakozi nga beegasse, ? Kkooti y’abakozi ebaako omulamuzi omukulu, omulamuzi omuto, memba ? omu atalina ludda, n’omukiise w’abakozi Omulamuzi omukulu owe kkooti, n’omulamuzi omulala balondebwa ? omukulembeze w’egwanga nga basembeddwa akakiiko akalonda abalamuzi 4 4 40 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Omulamuzi omukulu n’omulamuzi bateekwa okuba n’ebisanyizo ? Ekisanja kyabwe kiba kya myaka etaano (5) Omuntu oli atalina ludda alondebwa minisita w’abakozi okuva ku ? bannayuganda abeekakasibwa obulungi bataano. Omuntu ono naye ekisanja kye kiba kya myaka etaano (5) Omubaka (amukiise) w’abakozesa alondebwa minisita ku bantu bataano ? Minisita alonda omuntu omulala ku buli butakaanya obuba bubaluseewo ne busindikibwa mu kkooti y’abakozi Okusalawo kwa kkooti y’abakozi kiyitibwa kirabo. Kkooti eno bweremererwa akutuuka ku kukaanya okusalawo kukolebwa ? omulamuzi omukulu Kkooti y’abakozi ebeera n’omuwandiisi omukulu wamu n’omuweereza ? Omuwandiisi omukulu abeera mukozi wa gavumenti ? Yaddukanya emirimo gya kkooti egya buli lunaku. Omuwandiisi omukulu abeera ayambibwa omulamuzi omukulu mu mirimu ? gye (akolera wansi w’omulamuzi omukulu) Abakaayana mu kkooti eno bayinza okubaawo mu buntu oba okukiikirirwa ? omubaka okugeza ng’ekibiina ky’abakozi, ekibiina ky’abakozesa oba munnamateeka waabweabawolereza Oludda oluba lutamatidde kunsalawo ya kkooti y’abakozi luyinza okujjulira ? mu kkooti ejulirwamu kyokka nga lugoberera amateeka Akakiiko akajjulirwamu ku by’emisolo Akakiiko kano katekebwawo nga kkooti eyenjawulo ewulira enkaayana (obutakkaanya) ku by’emisolo. Yetongodde (yanjawulo) ku kitongole kya Uganda eky’emisolo, ku minisitule y’ebyensimbi n’enkulakulana n’ebitongole bya gavumenti ebirala. Yateekebwawo tteeka lya Palamenti Omulimo gwako kwekenenya n’okukyusa ebibabisalidwawo ekitongole ky’emisolo mu Uganda ku by’emisolo okusinzira ku mateeka gebyemisolo Akakiiko kano kakola ku nkaayana za misolo zokka ezisibuka ku mateeka ageyambisibwa ekitongole ky’emisolo mu Uganda. Amateeka ago ge gano: Esuula 4 41 Obwenkanya mu Bonna (i) Etteeka ly’omusolo ogusasulibwa okusinziira ku nfuna y’omuntu (Income Tax Act) (ii) Etteeka ly’omusolo ogugyibwa ku bintu okusinziira ku muwendo gwebyo buli mutendera (Value Added Tax) (iii) Etteeka ly’empoza (Stamp Duty) (iv) Etteeka ly’omusolo oguggyibwa ku bintu ebiyingira ne ku bikolebwa mu ggwanga (The Customs & Excise Act) (v) Etteekaly’omusoloeddalalyonnang’ekitongolekya Ugandaeky’emisolo kye kibikwasisa Okutekawo kwa kakiiko kano limu ku makubo ag’okuzimba ensasula ? y’omusolo eyamba omuwi wo’musolo okusasula omusolo omusaamusaamu ate omutuufu ate mu ngeri y’emu nga ne gavumenti ekungaanya omusolo gweteekeddwa okufuna mu budde ate mu ngeri ennungamu Kkooti eno ebaako abantu bataano omu ku bo nga ye ssentebe alina ebisanyizo ? ebimugwanyiza okulondebwa ng’omulamuzi mu kkooti enkulu Omuntu okubeera ku kkooti eno alina okuba: ? (i) Yatendekebwa mu by’okusolooza emisolo, ebyensimbi, okubala ebita- bo oba mu mateeka (ii) Nga wampisa nnungi era mwesimbu (iii) Nga tasingibwa musango gwonna ogw’empisa n’obukenuzi Ssentebe wa akakiiko kano alondebwa minisita w’ensimbi nga wereddwa ? amagezi akakiiko akalonda abalamuzi Abantu bali abalala balondebwa minisita w’ensimbi ? Akakiikokanokaweebwaobuyinzaokwekennenyaokusalawokw’ekitongola ? ky’emisolo ku musolo Akakiikokanokarinaobuyinzang’obwakkootienkulueraomuwiw’omusolo ? gy’alina okusooka okujuuliramu (y’esooka okujulirwamu) Akakiiko kakola emirimo gyako nga ketongodde era nga tekagirwa oba ? 42 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Okusalawo kw’akakiiko kano kulina amaanyi gegamu ddala n’aga kkooti ? endala zonna era kugobererwa ng’okusalawo okukoleddwa kkooti. Okuwulira enkaayana mu kakiiko kano tekugoberera nnyo nkola na bukodyo ? bwa kkooti obwabulijjo (enkola n’amateeka babigoberera kitono nnyo) Ennamula ya’kakiiko kano esobola okujjulirwa mu kkooti enkulu kyokka ? ku nsonga za ntaputa oba nkozesa ya mateeka Kkooti y’emisolo esobola okusasula (za) omuntu ensimbi z’asasanyizza naye ? tesobola kuweesa ngassi olw’ebyo omuntu byafiriddwa. Akakiiko akajjulirwamu ku by’emisolo bwe keyambisibwamu Omuwi w’omusolo awulira ng’anyigiriziddwa asaba mu kkooti eno ? oluvannyuma lw’okuweebwa okusalawo okuwakanya oba okusalawo ku nsolooza y’omusolo Omuwi w’omusolo ateekwa okusooka okumalayo amakubo gonna ? ag’okuwakanya agasoboka nga gali wansi w’etteeka ly’ensolooza y’omusolo ly’asoomooza nga tannawaayo kusaba kwe eri kkooti eno Okujjulira mu ? kakiiko kano kuteekwa okukolebwa mu nnaku 45 okuva okusalawo lwe kwakolebwa. kayinza okwongezaayo ebbanga (obudde) eryokujjuliramu ng’ennaku 45 ziweddeyo singa ebbanga eryo nga terisukka myezi mukaaga okuva okusalawo lwe kwakolebwa. Etteeka liragira eyemulugunya okusasula ebitundu asatu ku buli kikumi ? eky’omusolo gweyemulugunyako oba omusolo ogwamugerekerwa yadde sigwe yamulugunyako, gwonna ogusinga obunene. Emitendera gy’okujjulirwamu Omuwi w’omusolo oba omukiise we ajjuza olupapula olumanyiddwa ? ng’olupapula lwa kkooti y’emisolo olusooka era luno ne luterekebwa kkooti Omuwi w’omusolo ng’amaze okujuza olupapula luno awaako omukulu ? w’ekitongole ky’emisolo mu Uganda kkopi mu bbanga lyannaku ttaano. Okusaba kuno okukkirizibwa, eyemulugunya ateekwa okusasula sente za ? Uganda emitwalo ebiri nga zino si za kumuddizibwa Esuula 4 43 Obwenkanya mu Bonna Okusaba oba okujjulirwamu kuteekwa okubeerako bino ebikwata ku oyo ? asaba: (i) Amannya ge amajjuvu, endagiriro ye, nnamba ya ssimu, eya fakisi, n’endagiriro ye eyebiweerezebwa mu bbanga (ii) Nnamba ye kweyasasulira omusolo (TIN), nnamba ya fayiro ye ey’omusolo, nnamba ye ey’omusolo ogusolozebwa buli mutendera (VAT) (iii) Ekika ky’obusuubuzi bwe (iv) Ebikwata ku nkaayana ne ngereka y’omusolo (v) Omwaka gw’ennyingiza n’omuwendo gw’omusolo ogwe’mu lugunyizibwako (vi) Ensonga ezzisinziirwako okujjulira (vii) Olukalala lw’ebiwandiko oba ebitabo ebinaaletebwa mu kkooti eno (viii)Amannya n’endagiriro y’abajjulizi bwe baba we bali (ix) Olunaku olukoleddwako okusaba kuno n’omukono gwasaba Akakiiko kano kateekwa okubaako abantu basatu omu ku bo ng’akola nga ? kakiiko kano kwa bonna Biki ebiddirira okuwaayo okujjulira? u afuga ekitongole ky’emisolo ennaku amakumi asatu (30) okuva lw’afunye okwemulugunya okuddamu eri omuwandiisi wa kakiiko Oluvannyuma olunaku olw’okuwulira okujjulira kuno lulagibwa (luweebwa) ? ng’enjuuyi zombi zitegeezebwa nge’bula ennaku kumi na nnya ku lunaku olulondeddwa, enjuuyi z’ombi zirabikako mu kkooti. Omuwaabi (asaba) ayinza okubaawo mu bantu oba ayinza okukiikirirwa ? Omugugu guli eri muwaabi okukakasa omusango gwe ? 44 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Okuwulira emisango mu kkooti eno kuba kwa lujudde, naye bwe wabaawo ? oludda olusabye kusobola okuba okw’ekyama. Akakiiko kawa buli ludda ekisera ekigera okutegeka empoza yako ? Ebisaliddwawo akakiiko biba mu buwandiike n’ensonga kwe kasinzidde ? Ennamula ya kkooti eno eyinza okujulirwa mu kkooti enkulu ? Okujjulira kukolebwa mu nnaku amakumi asatu okuva ku nnamula ya ? kakiiko oba mu bbanga erisingawo nga kkooti enkulu bweyinza okusalawo. Akakiiko k’enkaayana z’amasannyalaze Akakiiko k’enkaayana z’amasannyalaze kateekebwawo tteeka ly’amasannyalaze. Ssentebe n’omumyuuka w’akakiiko balondebwa minisita w’amasannyalaze ? oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi akakiiko akalonda abalamuzi Bamemba b’akakiiko kanno balondebwa minisita nga bamaze kusembebwa ? akakiiko akabakozi ba gavumenti Abatuula ku kakiiko kano balina okuba n’obumanyilirivu mu bimu ku bino ? wammanga: Okukola, okubunyisa, n’okugabanya amasannyalaze, amateeka oeby’enfuga, ebyenfuna, eby’amasanyalaze oba obutonde bw’ensi Abatuulaku ? kakiikokanobalondebwaokumalaemyakaetaano(5)kyokkanga basobola okuddamu okulondebwa minisita nga yebuuza ku kakiiko akalonda abalamuzi ku nsonga ezirambikiddwa mu tteeka ly’amasannyalaze Emirimo egya bulijjo mu kkooti gikolebwa kitongole ekiwandiisi ekiku- ? Omuwandiisi omukulu ono ayambibwako omuntu omulala A ? kakiiko kano kalina obuyinza okuwulira n’okusalawo ku nsonga zonna ezikwata ku masannyalaze ezigiweerezeddwa Akakiikokano ? tekawuliransongazimazekukkaanyizibwakonjuyizikaayana. Akakiiko kano tekola ku misango gya nnaggomola Akakiiko kano ? ng’akawulira emisango katuula mu bifo ne mu budde obutakalubiriza bantu ate nga tebibatwalako nsimbi buwanana A ? kakiiko katuula nga waliwo abakiise baako basatu Ng’akawulira okwemulugunya kwonna akakiiko kano tekateekeddwa ? kugoberera bukwakulizo oba obukoddyo mungeri ekolebwa kkooti. Kyokka, bulijjo karina okugoberera omusingi gw’amazima n’obwenkanya ag’obwebange. Esuula 4 45 Obwenkanya mu Bonna Okusalawo kw’akakiiko kwesigamye ku basinga obungi okusobosesa ? akakiiko okutuukiriza emirimu gyako, kaweebwa obuyinza bwa kkooti enkulu omuli okuyita n’okuwuliriza obujulizi A ? kakiiko kano nga kalinda okuwulira omusango, kasobola okuyimiriza ekintukyonnaokugendamumaaso(okukolebwa)okutuusang’eyemulugunya kamaze okumukolako Ebisaliddwawo n’ebiragiro bya ? kakiiko kano bikakata ku njuyi zombi mu ngeri y’emu ng’ebya kkooti y’amateeka yonna. Bwe wabaawo oludda olutamatidde na kusalawo oba nnamula ya ? kakiiko k’enkaayana z’amasannyalaze, luyinza okusaba kkooti eno okuddamu okwetegereza kye yasazeewo Oludda olutamatidde kisaliddwawo ? kakiiko kano lusobola okujjulira mu kkooti enkulu mu bbanga lya nnaku asatu 46 Obwenkanya mu Bonna Esuula 5 Puliisi ya Uganda Endagiriro Uganda Police Force Parliament Avenue (Former British High Commission) P.O. Box 7055 Kampala Tel: 0414-340611 Inspector General of Police Fax No. 0414-255630 Email: genpol1@utlonline.co.ug Puliisiya Ugandaky’ekitongoleky’eggwangaekikuluekivunaanyizibwamumateeka okukuuma n’okukwasiza amateeka n’obutebenkevu mu ggwanga. Emirimu gya puliisi emirala egikiweebwa Ssemateeka gye gino: okukuuma obulamu bw’abantu n’ebintu byabwe, okuziyiza n’okukenga obuzi bw’emisango ate n’okukolaganira awamu obulungi n’abakulembeze b’abantu, bonna okutwalira awamu mu kukuuma obutebenkevu, eddembe n’obukakkamu mu Uganda. Puliisi ya Uganda ekulemberwa Ssabaduumizi wa Puliisi. Ssabaduumizi wa Puliisi ayambibwako omumyuka we. Bw’ova ku musigire wa ssabaduumizi ku ddako ababeezi ba Ssabaduumizi nga ? bano bebakulira ebitongole bya Puliisi eby’enjawulo. Puliisi erina ebitongole kkumi era nga byonna birina ebitebe byabyo ebikulu ? (i) Ekitongole ekinoonyereza ku misango (Ekya bambega) (ii) Ekitongole ky’ekikwekweto (iii) Ekitongole ky’obukulembeze (iv) Ekitongole ky’ebikwekweto ku bumenyi bw’amateeka n’okutabangula eddembe. 5 5 Esuula 5 47 Obwenkanya mu Bonna (v) Ekilwanyisa obutujju. (vi) Eky’emirimo n’enkulakulana z’abasilikare. (vii) Okukanika, okuzimba, n’okuteekateeka (viii)Obulungi bw’abantu ne (ix) Ekitongole ky’ebyobufuzi. Puliisi ya Uganda erina ofiisi mu buli kitundu ky’eggwanga ne mu disitulikiti zonna. Olw’ensonga z’obukulembeze obulungi, Uganda egabanyiziddwamu ? ebitundu bino: Ekibuga Kampala (Buvanjuba, Bukiika ddyo, Amambuka, Amaserengeta), Ekitundu ekyamasekkati, amaserengeta g’obukiika kkono, obukiika kkono, amasekkati g’obukiika kkono, amambuka g’obukiika kkono, amasekkati g’obukiika ddyo (buvanjuba), ebitundu bya karamoja n’ekitundu eky’amaserengeti ag’obukiika ddyo. Buli kitundu kikulemberwa omuduumizi wa Puliisi owekitundu. kitundu era kirina bambega bakyo n’abakungu abenjawulo ab’ettabi. Ku mitendera ogwa disitulikiti, Puliisi ekulirwa omuduumizi wa Puliisi owa ? Buli disitulikiti era mbega w’emisango (District CID officer) n’omukungu ? Waliwo era omukungu atabaganya Puliisi n’abantu ate n’omukungu ? Ki disitulikiti Puliisi erinayo “ekitebe” n’ebya webakolera emirimo gyabwe. Ebifo Puliisi w’ekolera g’ematabi ga Puliisi agasingayo obutono era gaba ? gayungiddwa ku kitebe ekimu ekya Puliisi. Akulira ekitebe kya Puliisi ayitibwa omukungu avunaanyizibwa ku kitebe ? (OC station) ng’oyo akulira ekifo ayitibwa Omukungu avunaanyizibwa ku kifo (OC Post). Buli kitebe n’ekifo ebya Puliisi birina mbega w’emisango (OC CID) ate ? n’omukulu avunaanyizibwa ku ttabi eryenjawulo. 48 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Omulimu gwa bambega bunoonyereza ku misango. Abakulu abatabaganya abava mu kitongole ky’ebikwekweto, ? obuvunaanyizibwa bwabwe kutabaganya Puliisi n’abantu. Kino bakikola nga: (i) Bakungaanya ebirowoozo, okwemulugunya n’amawulire amalala okuva mu bantu nga babituusa ku bakulu ba Puliisi be kikwatako babikoleko. (ii) Batambuza amawulire okuva mu Puliisi okugatuusa mu bantu. (iii) Bategeka enkungaana wakati wa Puliisi n’abantu okubaako bye bannyonnyolegana. Obuyinza bwa Puliisi Okusobozesa Puliisi okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo obuli mu ssemateeka, yaweebwa obuyinza obw’engeri ezitali zimu mu tteeka lya Puliisi n’enfuga okuwozesa emisango gy’ebibonerezo. Abakulu ba Puliisi basobola okukangavvulwa sinakindi n’oluvunaanibwa ? Basobola n’okuwawaabirwa mu bakulu babwe obw’enjawulo singa baba ? bakoze ensobi yonna nga bayisza obuyinza bwabwe we bakoma. Okukwatibwa kw’Abateeberezebwa okuzza emisango Puliisi erina obuyinza okubuuza omuntu yenna ekibuuzo kyokka nga ? (okubuuliriza ku muntu) Puliisi esobola okulagira besuubiriza okuzza emisango okweyanjula nga ? bagiwa amannya gaabwe amajjuvu wamu n’endagiririro zaabwe. Omuntu naye ayinza okusaba omukulu wa Puliisi ennangamuntu (identity ? card) eriko erinnya lye n’akafaananyi nga tanatandika kuddamu bibuuzo. N’abapuliisi abali mu ngoye eza bulijjo nabo bateekwa okubeera ? Singa amusirikale wa Puliisi amala okweyanjula, olwo omuntu ateekwa ? Esuula 5 49 Obwenkanya mu Bonna Omuntu abuuzibwa bw’amala okuwa erinnya lye n’endagiriro ye ayinza ? obutanyega kintu kirala kyonna singa aba awulira nga tayagala era ne Puliisi nayo teteekeddwa kukaka muntu kuddamu bibuuzo birala. Omuntu ayinza okukkiriza okuddamu ebibuuzo ebirala oba okubiddamu ? ng’amuwolereza oba munnamateeka we waali. Wanno we kisiboka, kiba kya magezi okwebuuza ku munnamateeka ? Kyokka olw’okuba ng’abantu abasinga obungi tebalina sente zakupangisa ? bannamateeka bandibadde bayambibwa okufuna okuweerezebwa mu mateeka okw’obwereere okumanyiddwa nga obuyambi bw’obuweereza mu mateeka wonna we kiba kisoboka. Omusirikale wa Puliisi asobola okusaba omuntu okugenda ku kitebe kya ? Puliisi esobola okukwata omuntu singa baba nga balina ensonga ezimatiza ? Puliisi tekkirizibwa kutulugunya muntu yenna lwa nsonga yonna (ng’emulanga buli nsonga). Puliisi esobola okukwata omuntu awali oba awatali kiragiro kya mulamuzi. Ekiragiro ky’omulamuzi kye kiwandiiko ekiwa omusirikale wa Puliisi obuyinza okukwata omuntu n’emusimba mu mbuga z’amateeka. Omusirikale wa Puliisi waddembe okukwata omuntu yenna nga talina ? kiragiro kibakuntumye nga amukutte lubona oba nga yesigamye ku kuteebereza olwesonga/okumala. Okuteebereza olwesonga kweko okuba kwesigamiziddwa ku bintu ebiriwo, ebiraga nti omuntu azzizza omusango. Puliisi esobola okukozesa amaanyi amasaamusaamu ku bantu abagezaako ? Amaanyiganogandibaddemasaamusaamu(gagererwa ku) okusinziira ku maanyi omuntu gakozesezza okugaana okukwatibwa wamu n’omusango omuntu gw’azizza. Amaanyi agakozesebwa okukwata omuntu singa gaba nga gasukkiridde ago ? agetaagisa, omuntu akwatibwa oba omulala yenna alaba okutulugunyizibwa kuno yemulugumya eri abobuyinza (mu bobuyinza) Obuyinza okuyimiriza abagoba b’ebidduka Puliisi esobola okusaba omugoba w’ekidduka okuyimirira essaawa yonna, ? aggyeyo ebiwandiiko ebimukkiriza okuvuga era agiwa amannya ge oba 50 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi endagiriro ye, nga bino omugoba alina okubikola awatali kuwanaanya. Puliisi kino ekituukiriza ng’ekolera omugoba akabonero akamulagira okuyimirira, oba nga bassa akabonero mu kkubo, oba okuziba oluguudo basobole okuyimiriza n’okukebera buli kidduka kyonna. Kino kisobola okukolebwa omuserikale wa Puliisi ow’ebidduka enfunda ? Okukebera ekidduka kuddinganibwa abaserikale ba Puliisi ab’ebidduka ? n’ekigenderera eky’okuzuula oba omugoba agoberera amateeka g’ebidduka, okugeza okuzuula oba omugoba alina ebiwandiiko ebituufu ate ebiddizibwa obuggya ebimukkiriza okuvuga, yinsuwa y’emmotoka ye ekidduuka kye emisolo gy’emmotoka ye oba okulaba nti ekidduka kiri mu mbeera nnungi (etaleeta kabenje) Puliisi esobola okuyimiriza omugoba ateeberezebwa okuba nga yazza, azzizza ? oba azza omusango, okugeza atambuza ebintu eby’emagendo (akukusa) oba ebibbe. Singa omugoba w’ekidduka agaana okuyimirira, okuwa Puliisi amannya ? ge n’endagiriro ye, oba okulaga Puliisi ebiwandiiko ebimukkiriza okuvuga nga Puliisi ebimusabye, omugoba ono asobola okuvunaanibwa okuzza omusango. Singa omugoba aba nga talina kiwandiiko kimukkiriza kuvuga mu kadde ? ako kennyini, asabibwa okukireeta era etteeka limuwa essaawa 48 (ana mu munaana) okukituusa ku Puliisi. Okukwatibwa bannansi Bannansiobaabantuabalalabasobolaokukwataabazzib’emisangoobaabagezaako okuzza emisango eminene (nga) webali oba abo bebateebereza okuba nti bazza emisango eminene Bannansi basobola okukwata abantu abalwana, abonoona ebintu mu ngeri ? ey’ettima (ey’obuggya), abeeyambisa amannyi mu kulumya abalala oba abo abagezaako okudduka/okwewala okukwatibwa. Singa amumenyi w’amateeka agaana okukwatibwa abantu ba bulijjo, ? amaanyi abantu babulijjo ge balina okukozesa gateekwa kuba masaamusaamu (agasaanidde). Esuula 5 51 Obwenkanya mu Bonna Omuntu akwatibwa tateekwa kutuluginyizibwa oyo amukwata oba abantu ? Ekikolwa ky’abantu ababulijjo okutulugunya abateberezebwa okuzza ? emisango (okutwalira amateeka mu ngalo) musango gwa kibonerezo. Omuntu akwatiddwa ateekwa okukwasibwa Puliisi amangu ddala nga bwe ? Okukwatibwa Omulamuzi Omulamuzi ayinza okuwa ekiragiro okukwata omuntu azzizza omusango ? nga waali (mu maaso ge) obuyinza bwe we bukoma era ku muntu gwalinako obuyinza okuwa ekiragiro (ekiwandiiko) ekimukwata. Kiri mu mateeka bannansi okuyamba omulamuzi okukwata omuntu buli ? Okugaana okuyamba omulamuzi okukwata omuntu okuli mu mateeka guba ? Eddembe ly’abantu abakwatiddwa Abantu abakwatiddwa nabo mu mateeka balina eddembe lyabwe. Okuba omusibe tekiggyako muntu ddembe lye eryobwebange eryetaagisa okukuuma ekitiibwa kye n’eddembe eryokuyisibwa ng’omuntu. Ssemateeka wa Uganda akirambika bulungi nti omuntu akwatiddwa ajja: Kukuumirwa mu kifo ekikkirizibwa mu mateeka. Kuba ng’alina eddembe okusaba ekiragiro okuleetebwa mu kkooti, ? Habeas corpus kye kiragiro kya kkooti ekiragira omuntu oba awoobuyinza yenna akuuma omusibe, okuleeta omuntu oyo mu kkooti emuwadde ekiragiro ekyo. Omuntu bwaleetebwa kkooti etunula mu nsonga ezimukuumisa nga musibe era ensonga ezo bwe ziba nga teziri mu mateeka kkooti eragira omuntu oyo okuteebwa. Obutakuumirwa mu kkomera kusussa ssaawa ana mu munaana (48) nga ? tanaleetebwa (tanatwalibwa) mu kkooti (essaawa 48 zino tezitwaliramu nkomerero ya wiiki (olwomukaaga ne ssabbiiti) n’ennaku ez’okuwummula) Kitegeezebwa mu bwangu ddala mu lulimi lwasinga okutegeera ensonga lwaki ? 52 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Kubuulirwa/kutegeezebwa eddembe lye okufuna omuwolereza ? (munnamateeka) gweyeerondedde ye kennyini era nga yajja okumwesasulira. Okukkirizibwa okujjanjabibwa yadde okujjanjabibwa (mu kyama) ? Okukkirizibwa okusaba omuserikale wa Puliisi atwala ekitebe kya Puliisi ? ekyo oba ekkomera eryo okuteebwa ku kakalu ka Puliisi. Akakalu ka Puliisi Akakalu ka Puliisi kye kisuubizo omuntu akuumirwa ku kitebe kya Puliisi oba mu kkomera kyakola (mu buwandiike) nti singa ateebwa, ajja kweyanjulanga eri Puliisi buli lw’anaabanga yeetaagiddwa. Akakalu ka Puliisi kaweerwa ku bwereere (tekasasulirwa). Omuntu ateeberezebwa okuzza omusango ateekwa okussa omukono ku kiwandiiko kyakakalu. Omuntu ono ateekwa okubeera n’amweyimirira wakiri omu. Eyeyimirira omusibe naye assa omukono kukakalu ka Puliisi. n’okubowa ebintu Amateeka gakkiriza Puliisi okuyimiriza, okwaza oba okusigaza/okukuuma, ? okusiba ekidduka, eryato oba ennyonyi bweba elina ensonga okugiteebereza nti erimu /lirimu ebintu ebibbe oba ebikukusibwa obukukusibwa. Mu ngeri y’emu era n’olw’ensonga ze zimu, omuserikale wa Puliisi asobola ? okuyimiriza n’okwaza omuntu era n’okubowa ekintu kyonna ekisangiddwa n’omuntu oyo ayaziddwa. Okutwalira awamu Puliisi erina okufuna ekiwandiiko okuva ew’omulamuzi ? ekigikkiriza okwaza, kyokka amateeka gakkiriza embeera ezimu okwaza okukolebwa awatali kiwandiiko kino. Ekiwandiiko ky’okwaza kye kiragiro kya kkooti ekifunibwa okuva ? ow’omulamuzi aba amaze okumatizibwa (okukkirizibwa) nti waliwo “okwekengera” nti waliwo omusango oguziddwa era nti akkirize okwaza kugende mu maaso. Okwaza kusobola okukolebwa olunaku lwonna emisana ng’obudde ? Esuula 5 53 Obwenkanya mu Bonna Puliisi eteekwa okusaba mu lwatu okuyingira awantu wonna we baba baagala ? Kyokka,singaekigendererwakya Puliisiokwazaekifokibakinaayonoonebwa ? okusaba kuno mu lwatu, bayinza obutategeeza be kikwatako. Abaserikale ba Puliisi abayaza bateekwa okweyanjula. Mu kwaza, Puliisi esobola okweyambisa amaanyi agasaanidde okusobola ? okuvvunuka okulemesebwa kwonna oba okugaanibwa okuyingira ekifo. Naye Puliisi erina okusooka okusaba okukkirizibwa okuyingira mu kifo. Bateekwa era n’okuwa ensonga lwaki baaza. Puliisi bwemala okuggyayo ekiwandiiko ekigikkiriza okwaza, omuntu ? Newankubadde si tteeka Puliisi okutegeeza ku bakiiko k’ekyalo ku kwaza ? kwe bagenda okukola, kyandibadde kya magezi mu nsonga ezimu Puliisi okutegeeza abakakiiko k’ekyalo ku kwaza okujja okubaawo. We kizuuliddwa ng’okuyingizamu abakakiiko kijja kutataaganya ? ekigendererwa ky’okwaza, olwo bayinza okulekebwa ebbali. Singa wabaawo ebintu oba sente eziboyeddwa (ebiwambiddwa), Puliisi ? eteekwa okuteeka mu buwandiike okubawa/okuwamba kuno. Bwe bagaana okussa mu buwandiike okubowa kuno, ensonga zitegerezebwa ? ab’obuyinza abasingako amangu ddala nga bwekisoboka. Kiba kya magezi omuntu ayazibwa okuyitayo ow’akakiiko omu abeewo ? Emmeeza ya Puliisi ey’eddembe ly’Obuntu n’okwemulugunya Emmeeza ya Puliisi ey’eddembe ly’obuntu n’okwemulugunya ewa omwa- ? gaanya okugolola/okutereza omusango nga wabaddewo obutali bumativu ku nkola yaayo. Omuntu yenna atamatidde nkola/mirimu gya Puliisi wa ddembe era asobola ? Kino nno tekiziyiza muntu ono kukozesa makubo malala ag’okugolola ekikyamu g’asobola. Okwemulugunya eri Puliisi kugwa mu biti bino: ? (i) okutyobola eddembe ly’obuntu okugeza okutulugunya abateebereze- bwa okuzza emisango. 54 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi (ii) Obuli bw’enguzi (obukenuzi) (iii) Okweyisa mu ngeri etatuukana na mutindo gwa mulimu gwabwe ng’okugayaalirira obuvunaanyizibwa. Okwemulugunya kusobola okukolebwa ku ttabi lya Puliisi, ku kitebe, ekya ? disitulikiti, eky’ekitundu oba ku kitebe kyayo ekikulu kyennyini. Singa okwemulugunya kuba kukolebwa ku muserikale wa Puliisi asinga ? obukulu mu kitundu ekyo, awo okwemulugunya okwo kulina kukolebwa ate ku kitebe kya Puliisi ekitwala Puliisi eyo. Okugeza singa ekisobyo kiba kikoleddwa omuserikale akulira akatabi ka Puliisi, okwemulugunya kulina kukolerwa ew’omuserikale ow’okukitebe ekitwala akatabi ako. Okwemulugunya ku baserikale ab’amadaala ago wansi kukolebwa ku ? Ekitongole kya Puliisi kino eky’eddembe ky’obuntu n’okwemulugunya ? ekisangibwa ku kitebe kya Puliisi ekikulu kikubiriza abantu bonna okukiroopera abaserikale. Omuntu omu ayinza okukolera omulala okwemulugunya (okukola ? okwemulugunya mu linnya ly’omulala) Kyokka, okwemulugunya kwonna kuteekwa kukolebwa ku nsonga entuufu ? Engeri ekitongole kya (Emmeeza ya) Puliisi eky’eddembe ly’obuntu n’okwemulugunya gye kirina okukwatamu okwemulugunya Emmeeza eri ku kitebe kya Puliisi ekikulu edduka nyizibwa abaserikale ba ? Puliisi nga bannamateeka oba abo abayambako ku by’amateeka. Omuserikale avunaanyizibwa ku offiisi eno ategeeza omukungu wa Puliisi ? avunaanyizibwa ku by’amateeka ate ye n’ategeeza omusigire wa Ssabaduumizi wa Puliisi. Eyeemulugunya wa ddembe okukola okwemulugunya kwe mu ngeri yonna ? (i) Mu bigambo (ii) Mu buwandiike Esuula 5 55 Obwenkanya mu Bonna (iii) Ku ssimu etavaako obutereevu nnamba 041340611 (iv) Okukozesa ssimu ey’olukomo Ssabaduumizi wa Puliisi, nnamba 041255630 (v) [endagiriro y’ebiweerezebwa mu bbanga/empewo] : genpol@utlonline. co.ug Eyeemulugunya wa ddembe okuwaayo ebimukwatako oba nedda. Eyeemulugumya singa aba ayagala okusigala nga tamanyiddwa, ateekwa ? okuwa amawulire agamatiza agakwata ku nsonga eyo. Okw’emulugunya bwe kufunibwa bino bye birina okukolebwa: ? (i) Okwemulugunya kuwandikibwa mu kitabo. (iii) Ebivuddemukunoonyerezabiweebwayongabiwerekeddwaebirowoozo ku kiki ekisaanye okukolebwa. Wetegereze Omuntu teyetaaga bbaluwa ya kakiiko k’ekyalo okuloopa omusango ku ? Kyokka si kibi singa omuntu abeera agirina. Si kituufu nti omuntu asooka okuwaaba omusango ku Puliisi ye yekka ? Puliisi ekola olunaku lwonna emisana n’ekiro essaawa 24, ennaku musanvu ? Buli lw’otwala omusango oba ensonga yonna ku Puliisi, kakasa nti ofuna ? nnamba y’omusango eyitibwa enamba ya Station Diary (SD). Gikuume bulungi era ogiweeyo buli lwoba olondoola ebikwata ku musango ? Bw’oba oweereddwa akakalu ka Puliisi, kakasa (oteekwa) okweyanjula ku ? Abatuuze kibakakatako okuyamba Puliisi mu kukwasisa amateeka. 56 Obwenkanya mu Bonna Esuula 6 Ekitongole kya Gavumenti Ekyekeneenya mu ngeri Ey’ekikugu Endagiriro Plot 2 Lourdel Road Wandegeya (Opposite Ministry of Public Service) P.O. Box 2174, Kampala-Uganda Tel: 0414-250474Ennyanjula Ekitongole kya gavumenti ekyekeneenyi (GAL) (ekyasooka okuyitibwa Munnasayansi wa Gavumenti), ky’ekitongole mu Ministule y’ensonga ezomunda (mu ggwanga) ekikulirwa Komisona (Omukungu). Ekitongole kino kyaweebwa (kiweebwa) obuyinza okukola omulimu ogw’okunoonyerezaokw’ekikugumungerietuukanaobulungieraey’obumanyirivu obwa waggulu ate ennambulukufu (mu mateeka) ku kintu / nsonga ekiba/oba ekiweereddwa. Ekitongole kino kikola mulimu gwa maanyi nnyo mu kutuukiriza /kukwasiza, amateeka mu misango egy’ebiti byombi, egy’engassi n’egy’ekibonerezo nga kiwaayo obujjulizi obufuniddwa mu ngeri ey’ekikugu. Emirimu gyakyo emikulu Okuyambako mu kunoonyereza n’okuwaaba emisango nga kiwaayo ? obujjulizi obw’ekikugu nga kiyita mu kwetegereza, okugezesa, okwekeneenya n’okugerageranya ebizibiti n’ebireeteddwa okulabirako. Okuwa obuweereza obw’okwekeneenya okusobola okussa amaanyi mu ? kukwasisa n’okufuga obulamu n’obulungi by’abantu, okukuuma abutonde bw’ensi, okukuuma ensimbi za gavumenti wamu n’okukuuma omuntu owa wansi (omuli). 6 6 Esuula 6 57 Obwenkanya mu Bonna Okuwaokutendekaokw’ekikungueriaboabalikumulimuogw’okunoonyereza ? ku misango okugeza ku ngeri y’okukwatamu ebifo awaddiziddwa emisango. Ekitongole kino kikola emirimu egyo nga kisabiddwa ebitongole ebikola ku ? kunoonyereza ku buzzi bw’emisango nga ekya Puliisi y’eggwanga. Emirimo gino kisobola era okugikolera abantu bassekinoomu nebasasulayo ? Abakugu ba gavumenti bawandiika okunoonyereza ebizuliddwa kwabwe ? nga bamaze okwekeneenya era ne bakuweereza eri ekitongole oba omuntu aba asabye okwekeneenya okwo. Ebizuuliddwa bino (alipoota) bikozesebwa mu kkooti ng’obujjulizi ? Emirundi egisinga obungi abakugu mu kwekeneenya bayitibwa mu kkooti ? okuwa obujjulizi n’okukakasa (okuwagira) bye baazuula. Emirimu gy’Ebitongole ebyenjawulo Ekitongole kya gavumenti ekyekeneenya kirina ebiwayi bitaano, bye bino: (i) Ekitongole ekikozesa amagezi ga sayaansi okugeza oba okwekenenya ebintu okuyamba Puliisi mumbuliriza yayo. (iii) Ekikola okunoonyereza ku mazzi n’obutonde bw’ensi. (iv) Ekyekkaanya ebisigala by’eddagala ly’ebiwuka. Ekitongole ekyeyambisa amagezi agekikugu Kino kigabanyiziddwamu emirundi ebiri, kwe kugamba; ekiwayi ekinoonyereza ku butwa n’ekikebera ekikula n’ensibuko y’omuntu (DNA) Ekiwayi ekinoonyereza ku butwa kikola gwa kwekeneenya bantu, nsolo ? n’ebintu ebirala eby’obutonde bw’ensi ebireeteddwa. Mu ngeri y’emu kikola okwekeneenyaekikula,embeera,enfaananan’enkolay’ebizibitiebikozesebwa olw’okya asidi (amazzi agababula) n’emisango emirala egirimu okukozesa amagezi ga saayansi. Ekiwayi ekikebera enkula n’ensibuko y’omuntu kikebera musaayi wamu ? n’ekinkumu okusobola okumanya omuntu w’agwa. Ekitongole kino kisinga kuyamba mu kunoonyereza ku misango egy’obuliisa ? maanyi, okusobya ku baana abataneetuuka, obutemu, obulumbaganyi 58 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi obw’obulabe, obwakkondo, okuba kitaawe w’omwana n’emisango gyonna egyetaagisa okumanya/okwawula omuntu, nga mulamu oba ng’afudde. Ekyokulabirako, mu musango ogw’obutemu, Puliisi esobola okusaba ? ekitongole ekyekeneenya ekikula n’ensibuko y’omuntu okwetegereza oba ng’omusaayi ogusangiddwa ku muntu ateeberezebwa okutta gwe gw’omuntu afudde. Mu misango egy’okutabagana ng’okusobya ku baana abataneetuuka n’obuliisa ? maanyi ekitongole ekyekeneenya ekikula n’ensibuko y’abantu kisobola okuyitibwa okwetegereza amazzi g’ekisajja agasangiddwa ku atuusiddwako obuliisa maanyi oba asobezeddwako okulaba oba ddala gavudde mu ateeberezebwa okuzza omusango ogwo. Okukebera okulaba oba ddala omuntu ye kitaawe w’omwana kikolebwa ? kukakasa buzaale bwe, we kiba nga kibuusibwabuusibwa nga waliwo okukaayana. Ekitongole eky’emmere n’ebiragaragara Ekitongole kino kyeyambisa okwekeneenya okw’engeri zombi; okw’amagezi ? ga saayansi n’okulala kwonna ku biriibwa n’eddagala okusobola okuzuula ekituufu ekisaanidde abantu n’ensolo okulya. Okugeza, omutindo gw’eddagala ly’abantu n’ery’ebisolo n’ogw’ebiriibwa ? ng’ebyo eby’omu mikebe, emmere y’enkoko wamu n’ennyaanya ennongoose (ez’omu mikebe). Ekitongole ekinoonyereza ku mazzi n’obutonde bw’ensi Kyetegereza era n’ekyekeneenya ebintu eky’obutonde (bwensi) okuzuula ? okulaba oba birimu obuwuka/ebintu ebyokulaba eri omuntu. Ekitongole kino kikolera wamu n’ebitongole ebirala okugeza ng’ekitongole ? ky’eggwanga ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi (NEMA). Ekitongole ekyekkaanya ebisigala by’eddagala ly’ebiwuka ku mmere Ekitongole kino kyekeneenya bisigala bya ddagala lya biwuka mu mmere ? ne mu bintu eby’obutonde bw’ensi ebikozesebwa wano mu ggwanga ate n’ebitwalibwa ebweru walyo. Okugeza bwe waaliwo alipoota ezoogera ku byennyanja ebiteeberezebwa ? okubaamu obutwa ekitongole kino kyeyambisibwa okwekeneenya ebyennyanja okukakasa oba engambo zino zaali ntuufu. Esuula 6 59 Obwenkanya mu Bonna Ekitongole ekyeyambisa ebyuma bya sayansi Ekitongolekinokirimuebiwayibibiri,ekyetegereazaebintuebikubiddwaamasasi oba ebyokeddwa omuliro n’ekikola ku biwandiike ebibuusibwabuusibwa. Ekiwayi eky’etegereza ebintu ebikubiddwa amasasi oba ebyokeddwa omuliro ? kyetegereza ebizibiti ebiba bizuuliddwa mu misango (nsonga) egirimu okukozesa ebyo kulwanyisa, okukuba amasasi wamu n’okutulisa bbomu. Kino kisobola okuba mu misango egy’obulumbaganyi, egy’obutemu oba egy’obubbi. Mu kunoonyereza okwengeri eno beetegereza ekika ky’eby’okulwanyisa, oba ? nga ebyokulwanyisa bino bisobola okutulisa amasasi, banoonya okubonero obuli ku kissi/ekintu ekikozesebwa, okugeza nga ku byokulwanyisa (bissi) n’ebintu ebirala. Ekiwayi ekikola ku biwandiiko ebibuusibwabuusibwa kirina abantu ? abakugu mu kwetegereza ebiwandiiko, ebiwandiiko ebikubiddwa mu kyapa, ebifaananyi oba ebiwandiiko ebitimbiddwa mu bifo ebyalukale, ensibo (stamp), n’obulambe obw’okwerinda obukolebwa kubiwandiiko. Kino kikolebwa okuzuula/okukakasa obutuufu wamu n’omuwandiisi ? (ensibuko) n’ebiwandiiko anaabuuzibwa mu mbuga z’amateeka. Ebiwandiiko bino biyinza okubeera kyeke, amabaluwa, ebilaamo oba nnamba ? Ebisuubirwa mu Puliisi n’abantu abalala abakozesa ekitongole kino Emirimu okutambula obulungi mu kitongole kya gavumenti ekyekeneenyi kisinziira ku bintu ebiba bireteddwa n’ebizibiti ebikiweerezeddwa ekitongole ekisaba okunoonyereza kukolebwe. Awo nno buvunaanyizibwa bwa muntu oyo ali ku gw’okunoonyereza ? okukugaanya obujjulizi bwonna obwetaagisa ate n’okubukwata n’obwegendereza. Abantu abali ku mulimu ogwo’okunoonyereza bateekwa okwekakasa nti ? olujegere ebizibiti n’ebintu ebirala ebireetebwa terukutulwa yadde omulundi ogumu (birina okukuumibwa obulungi). Singa ekizibiti tebikuumibwa bulungi kiyinza okunafuya oba obululizi ? obw’amagezi ga saayansi okugaanibwa kkooti. 60 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Obwenka Ebisuubirwa mu bantu abalala ababulijjo Ekitongole kisuubira abakulembeze b’ebyalo aba wansi wamu n’abantu abab- ? ulijjo okukuuma ebifo omudiiziddwa emisango ng’ebintu ebisangiddwamu tebitaataganyiziddwa. Singa okukuuma ebintu ebiri mu kifo awaddiziddwa omusango kirema, ? kiyinza okutaataaganya obujjulizi mu kuwoza omusango. Ebizibiti okubula, okuleeta ebikyamu, okubikwata oba okubipakira ? obubi okuva mu kifo awaddiziddwa omusango bulijjo kivaako omuwaabi okulemererwa okulumiriza avunaanibwa (okukakasa) mu misango egy’ebibonerezo mu kkooti. Ekitongole kisuubira era abantu baneekolera gyange naddala abasuubuzi ? okukozesa obuyambi bwonna ekitongole kino bwe kiwa. Kino kiyamba (kijja kuyamba) okwewala obugulumbo/enkaayana ate n’okumalawo ezo eziba (bu) zibaluseewo. Ekizibiti n’ebintu ebiba bikwatiddwa kyokka nga bibuusibwabuusibwa ? biteekwa okuweerezebwa nga biwandiikiddwa omuntu oba ekitongole ekyetongodde okugeza nga Puliisi, munnamateeka, omusawo omutendeke, oba kampuni okwewala obukuubagaano bwonna. Okusaba okwetegereza oba okwekkaanya ebizibiti oba ebintu ebikwatiddwa ? kuteekwa okulaga obulungi ebikwata ku bizibiti n’ebintu ebireeteddwa, okwetegereza okwetaaga okukolebwa wamu n’ebitonotono ebikwata ku musango. 61 Obwenkanya mu Bonna Esuula 7 Ekitongole Kya Gavumenti Ekiwaabi ky’Emisango Endagiriro Directorate of Public Prosecution 12th Floor, Workers House Pilkington Road, Kampala P.O. Box Kampala Tel: 0414-42461 Website: www.dpp.go.ug Email: admn@dpp.go.ug Ennyanjula Ekitongole kya gavumenti ekiwaabi ky’emisango (DPP) kiteekebwawo Ssemateeka wa Uganda. Ekitongole kino kye kivunaanyizibwa ku kuwaaba emisango gyonna egy’ebibonerezo mu ggwanga. Ekitongole kino kirina obuyinza okulagira Puliisi okunoonyereza amawulire ag’obumenyi bwamateeka ate n’okukiddiza alipoota. Ekitongole kya gavumenti ekiwaabi ky’emisango kirina ofiisi mu buli disitulikiti ya Uganda. Ofiisi zino zimannyiddwa nga ofiisi z’omuwolereza wa gavumenti omutuuzemukitundu.Omuntuayinzaokusangaofiisiz’abawolereza bagavumenti bano mu kkooti yonna, mu bizimbe omuli ofiisi z’abakulembeze ba zi disitulikiti oba awali ofiisi za gavumenti endala. Obukulembeze nga bwe bufaanana mu Kitongole kino Akulira ekitongole kino ye Ssabawaabi wa Gavumenti. Ssabawaabi wa gavumenti alondebwa omukulembeze w’eggwanga kyokka ? ng’amaze kusembebwa akakiiko akasunsula abakozi b’agavumenti era ng’akakasiddwa olukiiko lw’eggwanga olukulu. Olusinziira ku ssemateeka w’eggwanga ssabawaabi wa gavumenti yetengeredde ? ddala era talina muntu yenna amufuga oba omutwala ng’akola emirimo gye. 7 7 Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda 62 Obwenkanya mu Bonna Ssabawaabi wa gavumenti bw’amala okulondebwa tamala gaggyibwawo ? Ekisanja kino ky’amala mu bukulu buno kimuwa ? obugumu/amaanyi okukola nga yeemalirira awatali kutya kuggyawo singa okusalawo kwe kuba nga tekusanyusizza baamulonda mu kifo ekyo. Ssabawaabi wa gavumenti ayambibwako abasigire babiri n’ababeezi basatu. Mu bakulu abalala mu kitongole kino mulimu abawolereza ba gavumenti ? abakulu ddala, abawolereza ba gavumenti abakulu, abawolereza ba gavumneenti oba waggulu, abawolereza ba gavumenti abatuuze mu bitundu, abawolereza ba gavumenti n’abawaabi ba gavumenti. Abakulu bano bonna wamu bayitibwa bawaabi. misango egy’ekibonerezo ku lwa ssabawaabi wa gavumenti. Emirimu gy’Ekitongole kya Gavumenti Ekiwaaba Emisango Emirimu gya Ssabawaabi wa Gavumenti girambuluddwa/girambikiddwa ? bulungi mu ssemateeka wa Uganda mu katundu ak’ekikumi mu abiri (120) era gye gino; Okulagira Puliisi okunoonya (nyereza) amawulire gonna agakwata ku buzzi ? bw’emisango (bumenyi bw’amateeka) n’okumuddiza obubaka/alipoota mu bwangu ddala. Okuggula emisango ku muntu yenna oba owoobuyinza mu kkooti yonna erina ? obuyinza okuwozesa omusango ng’ogwo naye nga (etali) si kkooti y’amaggye. Okweddiza n’okutwala mu maaso emisango egiba giwaabiddwa omuntu oba ? owoobuyinza omulala oba ekitongole ekirala kyonna. Okugoba emisango ku mutendera wonna we guba gutuuse okukomya ? okuyimiriza kasita kiba nti tegunasalibwa, ogugwa wansi w’akawaayiro kano, ogutandikiddwa/oguwaabiddwa ye kennyini omuntu omulala oba ekitongole. Ssabawaabi ayimiriza /agoba omusango ogutandikiddwa omuntu oba ? awoobuyinza omulala singa kkooti eba ekkiriziganya naye. Omulimu gw’abawaabi mu kutuukiriza/kukwasiza amateeka Ssabawaabi asobola okulabikako ye yennyini mu kkooti. Kyokka ye yennyini teyennyigira mu kuwaaba buli musango ogw’ekibonerezo. Esuula 7 63 Obwenkanya mu Bonna Ayambibwako abawaabi abavunaanyizibwa ku kuwaaba emisango ? egy’ebibonerezo egya buli ngeri mu ggwanga lyonna okuggyako mu kkooti y’amagye. Omulimu gw’omuwaabi ogusinga obukulu kwe kuyamba kkooti okutuuka ku kusalawo okw’amazima era okw’obwenkanya era, singa omuntu aba ng’asingiddwa omusango, okumuwa ekibonerezo ekisaanidde okusinziira ku bujulizi obuleeteddwa. Balina okufuba okulaba nti obulungi bw’abakoseddwa n’abajjulizi mu ? musango bukuumibwa, kyokka ate nga tebekkiriranya kulema kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe kukola awatali kw’ekubiira ate mu mazima. Mu mirimu emyawufu egy’abaweebwa mulimu gino: Okuyita mu biwandiiko bya Puliisi okukakasa nti obujjulizi obuliwo bumala ? okulumiriza ateeberezebwa okuzza omusango. Okuwa olukusa oba okulagira okuggula omusango/emisango ku muntu ? Okusalawookuwaabiraobaobutawawaabiraateeberezebwakuzzamusango, ? obujjulizi obuliwo bwe buba nga tebumatiza mu musango ogutanatwalibwa mu kkooti. Okuwa Ssabawaabi wa gavumenti amagezi (okutegeeza) emisango egiri mu ? Okuyamba kkooti okusalawo okukkiriza omuntu okweyimirirwa oba ? Okusalawo emisango egy’okuvunaana omuwawaabirwa. Okusalawo kkooti ki ey’okutwalamu omuwawaabirwa. Okusalawo obujjulizi obw’okutwala mu kkooti ng’okuwoza kugenda mu ? Okubeera mu kkooti mu linnya /kifo kya Ssabawaabi wa Gavumenti era ? n’okukulemberamu abajjulizi ab’oludda oluwaabi mu kuwa obujulizi. Okujjulira mu kkooti esingako (eyawaggulu) bwe kiba kyetaagisa (bwe waba ? waliso ensonga ematiza) Okukubirira Gavumenti mu misango egy’okujjulira. 64 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Okusalawo okuwaaba omusango oba obutawaaba Okusalawo okuwaaba omusango oba obutaguwaaba kutandika nga Puliisi ? emaze okutuusa ebiwandiiko (fayiro) by’omusango eri omuwaabi. Kino bulijjo kibaawo oluvannyuma lw’okunoonyereza okusooka ? Omusango olwo gwetegerezebwa era ebirango nebiweebwa okulaba nti gunoonyerezebwako bulungi. Emitendera omuwaabi gy’alina okugoberera oluvannyuma lw’okusoma mu ? biwandiiko bya Puliisi gye gino: (i) Okusaba Puliisi okwongera okunoonyereza ku musango oluvannyuma lw’okuvunaana omuwawaabirwa (ateberezebwa okuzza omusango) (ii) Okutwala omuwawaabirwa mu kkooti (mbuga z’amateeka) yewozeeko. (iii) Okusalawo obutawaaba era omusango (ekiwandiiko) ne guggalwawo. Mu kusalawo okuggula oba okutaggula musango ku muwawabirwa avunaanib- ? wa, abawaabi basooka kwetegereza/kwekeneenya oba waliwo obujjulizi obumala era obumatiza okulumika omuntu obulungi era mu mazima mu kkooti. Singa obujjulizi buno buba nga tebuliiwo (nga bubuze) okuvunaana omuntu ? Singa okuvunaana/okuwozesa omuntu kuba nga kwatandika dda, ssabawaabi ? wa gavumenti asobola okukuyimiriza singa kiba kizuuliddwa nti obujjulizi obuliwo tebumala kuwa mukisa kkooti kusingisa muntu musango. Ssabawaabi wa gavumenti bwaba akozesa obuyinza bwe ateekwa okulowooza ? ku bulungi bw’abantu, obulungi obw’okutuukiriza/kukwasisa amateeka ate n’obwetaavu obw’okulwanyiza/okukugira okukozesa obubi amateeka. Enkolagana wakati w’essiga ly’abalamuzi ne Ssabawaabi wa Gavumenti Offisi ya ssabawaabi wa gavumenti kitundu/kitongole kya Gavumenti ekifuzi. Kirina obuvunaanyizibwa obw’okuwaaba emisango egy’ebibonerezo mu mbuga z’amateeka/kkooti zonna okuggyako kkooti y’amagye. Ofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti y’emalirira ng’ekola emirimu gyayo, ? tewali wa buyinza yenna agifuga/agiwa biragiro. Ssabawaabi wa gavumenti aggula/awaaba emisango mu mbuga z’amateeka ? Esuula 7 65 Obwenkanya mu Bonna kulw’abantu bonna nga bannamateeka bwe bawolereza abantu baabwe ababa bavunaanibwa emisango mu mbuga z’amateeka ze zimu. Kkooti olwo zikola okusalawo okwetongodde (okutaliiko kyekubiira) ? oluvannyuma lw’okuwuliriza obujjulizi okuva mu njuyi zombi. Ssabawaabi wa Gavumenti tabalirwa mu ssiga ly’abalamuzi. Newankubadde ekitongole kino tekibalirwa mu ssiga lino abawaabi ? bamanyiddwa nga “abakozi ba kkooti.” Kino kiri kityo kuba omulimu gw’abawaabi wamu ne bannamateeka abawolereza abalabikako mu mbuga z’amateekakulw’abantubebawolerezakuyambakkootikutuukakukulamula okw’obwenkanya. Enkolagana eri/Oluganda oluli wakati wa Ssabawaabi wa Gavumenti ne Puliisi Okusinziira ku ssemateeka wa Uganda, Ssabawaabi wa Gavumenti asobola ? okulagira Puliisi okunoonya (nyereza) amawulire agakwata ku buzzi bw’emisango/obumenyi bw’amateeka n’okumuddiza alipoota amangu ddala nga bwekisoboka. Ssabawaabi wa gavumenti era alina obuyinza okulagira Puliisi okuggula ? omusango ku muntu yenna oba ekitongole kyonna mu kkooti entuufu (eri mu mateeka) yonna ng’oggyeeko kkooti y’amaggye. Kyokka, kino tekitegeeza nti olw’obuyinza bwa ssabawaabi wa gavumenti ? Ssabawaabi wa gavumenti ne Puliisi bitongole bya njawulo ? Puliisi esabibwa okuwereza fayiro z’emisango kyokka eri ofiisi ya ssabawaabi ? wa gavumenti baweebwa amagezi ku ani asaanye okuvunaanibwa era lwa musango ki. Ofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti bwelimala okusalawo, Puliisi eyongera ? okukola okunoonyereza okwetaagisa, eyita abajjulizi mu kkooti ate yo ofiisi ya Ssabawaabi n’ekola ogw’okuwaaba/okulumiriza. Obuyambi bwa Ssabawaabi wa Gavumenti mu kukwatibwa mu bukyamu Abooluganda, emikwano oba omuntu omulala yenna owa bulijjo ? akwatibwako asobola okwemulugunya mu kuwandiika eri ssabawaabi wa 66 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi gavumenti oba eri omuwolereza wa gavumenti ow’omu kitundu (omutuuze mu kitundu) oba eri omuwaabi (wa gavumenti) ku bikwata ku kukwatibwa okukoleddwa Puliisi. Oyo aba yemulugumya ateekwa okuba ne nnamba y’ebiwandiiko (fayiro) ? bya Puliisi, okumanya omuntu oyo gy’akuumirwa, ebbanga ly’amazeeyo n’amawulire amalala ag’omugaso era agetaagisa. Ofiisi ya Ssabawaabi wa Gavumenti olwo esobola okutumya ebiwandiiko ? Bwe batasangamu/batazuula bujulizi bulumika mukwate, okwo bawa ? Puliisi amagezi okuta omuntu oyo oba abantu abo ababa bakwatiddwa mu bukyamu. Obuvunaanyizibwa by’eyeemulugunya oba akwatibwako ng’okunoonyereza n’okuwoza bigenda mu maaso Ng’okunoonyereza kugenda mu maaso, eyeemulugunya oba omusibe, ? asuubirwa mu bwangu obusoboka ng’afunye omukisa (wafunira omukisa) ensonga okuzitegeeza olukiiko lw’ekyalo ekiri okumpi, Polisi Post oba ekitebe kya Puliisi. Kiyamba nnyo singa mu alipoota eyeemuluganya oba omusibe ateekamu ? ebikwata ku nteeberezebwa okuzza omusango oba okunnyonnyola omuzzi w’omusango. Ng’okuwoza kugenda mu maaso, eyeemulugunya oba omusibe asuubirwa ? okwanukula ebiragiro bya kkooti byonna ebimukowoola okulabikako mu kkooti okuwa obujulizi. Eyeemulugunya era asuubirwa okuyambako Puliisi wonna waba asobola: ? Okugeza, okunoonya abawi b’obujjulizi okusobozesa Puliisi okubayita okujja mu kkooti okuwa obujulizi. Eddembe ly’eyemulugunya okuddingana n’azizza omusango/omunyizizza ? Mu kkooti z’Abalamuzi, eyeemulugunya oba akoseddwa omusibe alina ? eddembe okutegeeregana /okuddingana/okukkaanya n’eyamunyiiza (yamusobeza) mu musango omuntu gw’azizza ng’omuntu okugeza okwonoona ebintu mu ngeri eyettima. Mu misango emirala gyonna mu kkooti z’abalamuzi wamu n’emisango ? egiyinza okuwozesebwa kkooti enkulu, eyeemulugunya talina ddembe Esuula 7 67 Obwenkanya mu Bonna kusalawo oba okulondawo okusaba ssabawaabi wa gavumenti okuyimiriza okuvunaana omumenyi w’amateeka bategeeragane. Nayesinga,waliwoensongayonnaeyeemulugunyaobaomusibegy’asinziirako ? obutayongera /obutagenda mu maaso na musango mu kkooti enkulu oba mu kkooti ento, asobola okuwandiikira ssabawaabi wa gavumenti. Ssabawaabi wa gavumenti yeetegereza omusango n’awa eyeemulugunya ? Ssabawaabi asobola okuwandiikira kkooti ng’asaba okuggyayo omusango. Ekikolebwa nga waliwo obutali bumativu obuvudde mu kuvunaana obumenyi bw’amateeka Omuntu aweebwa amagezi okusaba okuwabulwa/okuweebwa amagezi woofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti. Kino bulijjo kiteekwa okukolebwa nga ssabbiiti (ennaku 14) ebbiri eziweebwa okuwaayo okujjulira nga tezinaggwaako. Enkolagana wakati wa Ssabawaabi wa Gavumenti ne Kaliisoliiso wa Gavumenti mu kuwaaba emisango egy’ebibonerezo. Okufaananako nga ofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti, ofiisi ya kaliisoliiso wa ? gavumenti yateekebwawo ssemateeka wa Uganda. Ofiisi ya sabawaabi wa gavumenti likola ku misango gya bibonerezo so nga eya ? kaliisoliiso wa Gavumenti ewaaba misango eginoonyerezeddwako abakozi baayo bennyini. Emisango gino tegiweerezebwa Puliisi kuginoonyerezaako oba ssabawaabi agiyiseemu oba agiwaabe. Ku ludda olulala, ofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti likola ku misango egyo ? Era kiri mu nkola nti ofiisi ya kaliisoliiso ne Puliisi (Ekitongole ekikkessi/ ? ky’abambega) tebanoonyereza ku misango/musango gwe gumu mu kiseera kimu. Engeri Okwemugulunya gye kukolebwamu mu kitongole kya Ssabawaabi wa Gavumenti kyennyini. Omuntu yena asobola okuwaayo okwemulugunya kwe eri ekitongole kya ssabawaabi wa gavumenti. Okwemulugunya kuyinza okuva ku butamatira kuvunaanwa musango oba ku neeyisa embi etatuukana na mutindo ogw’obakozi mu kitongole kino. 68 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Oluvannyuma kuyinza okukolebwa ku mukungu yenna ow’ekitongole omuli bano wammanga: Abawolereza ba Gavumenti ? Abaserikale ba Puliisi (ku nsonga ezeekusa ku kunoonyereza ku misango ? Omukulu mu kitongole kino omulala yenna. Engeri y’okwemulugunyamu eri Ekitongole kino Waliwo engeri ssatu okwemulugunya ze kusobola okukolebwamu eri ekiton- gole kino. (i) Okukozesa obusanduuko bw’ebirowoozo. (ii) Okukozesa ekibanja ku mutimbagano gwa kompyuta. Obusanduuko bw’okwemulugnya Ofiisi z’ekitongole kino zonna eziri mu byalo zirina obusanduuko ? Okwemulugunya kusobola okuwandiikibwa ne kusuu- libwa mu busanduuku buno. Abakulu/abakozib’ekitongoleabalimubyalotebasobolakuggulabusanduuko ? Ebisumuluzo by’obusanduuko buno bikuumibwa omukungu w’ekitongole ? Kiba kya magezi abeemulugunya okulaga amannya gaabwe oba endagiriro ? okuyamba singa wabaawo amawulire amalala ge beetaaga okubafunako. Naye, n’okwemulugunya okutaliiko mannya oba ndagiriro nakwo ? Omuntu tasobola era okukola ekwemulugunya kwe mu buwandiike eri ? ssabawaabi wa gavumenti ku ndagiriro eri ku nkomerero y’Esuula (suula) guno. Okukozesa ekibinja ku mutimbagano gwa kompyuta Ekitongole kirina ekibanja kyakyo era kye kino www.dpp.go.ug . Esuula 7 69 Obwenkanya mu Bonna Ekibanja kino kirina olupapula omuko okujjuzibwa okwemulugunya. Abantu abamaanyi okukozesa ebyuma bikalimagezi (Kompyuta) basobola ? okukozesa omukutu guno okuweereza okwemulugunya kwabwe. Okwetuukira Omuntu asobola okwemulugunya ku mukulu omukozi w’ekitongole kino ? mu buntu nga yeetuukira ye yennyini ku kakkalabizo/ofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti n’akola okwemulugunya mu bigambo (bye). Muofiisiezirimubitunduebyesuddeekibugaokwemulugunyangakukolebwa ? ku mukozi owa wansi, okwemulugunya kuno kusobola okukolebwa eri omuwolereza wa gavumenwti omutuuze mu kitundu ekyo (asangibwa). Kyokka omuntu eyeemulugunyizibwako bwaba nga ye muwolereza wa ? gavumewnti yennyini, eyeemulugunya aweebwa amagezi okwemulugunyiza ku kitebe ekikulu ku Kampala. Waliwo omuwolereza wa gavumenti omukulu avunaanyizibwa ku kwemu- ? Omuntu akola okwemulugunya mu bigambo asabibwa nakukendeezako mu ? Singa eyeemulugunya aba tasobola kuwandiika, olwo ayambibwako omukulu/ omukozi w’ekitongole era ye nassa okwemulugunya kuno mu buwandiike mu bufunze. 70 Obwenkanya mu Bonna Esuula 8 Engeri y’Okuwozesa Omusango n’Okuwa Ebibonerezo/Ekibonerezo Ennyanjula Okuwozesa omusango kwe kutwala avunaanibwa mu mbuga z’amateeka (mu kkooti), okuwulira omusango ogumuvunaanwa n’okusalawo oba gumusinze oba yejjeeredde. Okusala omusango kitegeeza okusalawo n’okuwa ekibonerezo omuntu avunaanibwa nga akkirizza nti omusango gumusinze oba azuuliddwa embuga z’amateeka nti omusango ddala yaguzza. Okuwozesa omusango kutandikibwa gavumenti mu linnya ly’eggwanga. Omuntu eyazzibwako omusango/eyakosebwa ye yeemulugunya Omuwawaabirwa mu kuwozesebwa mu musango ogw’ekibonerezo alina ? eddembe okufuna/okukiikirirwa mu teeka amuwolereza ye gweyerondedde Kyokka avunaanibwa singa aba awozesebwa musango ogubonereezebwa ? n’okuwanikibwa ku kalabba oba okusibwa amayisa eteeka ligamba nti gavumenti esasula munamateeka omwawufu okuwolereza omuwawaabirwa/ avunaanibwa Omuntu avunaanibwa omusango ogw’ekibonerezo alowoozebwa/ atwalibwa ? okuba nti talina musango okutuusa ng’akkirizza nti omusango yaguzza Buvunanyizibwa bwa gavumenti okuleeta mu kkooti obujjulizi obukakasa/ ? okulumika avunaanibwa awatali kubuusabuusa nti ddala omusango yaguzza. Singa omulamuzi aguli mu mitambo asigalamu akakunkuna konna, okulumika avunaanibwa ateekwa okumwejjereza Singa gavumenti eremwa okuleeta obujjulizi obumala (obumatiza) okusingisa ? omuwawaabirwa omusango, kkooti omusango egugoba era neyimbula avunaanibwa / omuwawaabirwa 8 8 Esuula 8 71 Obwenkanya mu Bonna Emitendera egigobererwa mu kuwozesa omusango Okuwoza omusango kutandika ng’omuntu avunaanibwa aleetebwa ? mu kkooti, n’asomerwa emisango egimutekeddwako olwo nasabibwa okwewozaako Okwewozaako kwe kubuuzibwa omulamuzi oba okkiriza oba weegaana ? Kino nno kitegeeza nti omuntu akkiriza omusango oba agwegaana. Avunaanibwa era asobola okwewozaako nti/ okutegeeza kkooti nti `yali ? yegyeerezebwa dda oba yasingisibwa dda (omusango) oba nga yasonyiyibwa omukulembeze w’eggwanga” omusango gwe gumu ogwo Avunaanibwa bw’aba ng’akkirizza omusango, omulamuzi ateekwa ? okuwandiika ebigambo bye ng’akkiriza omusango Omulamuzi alina okukakasa nti omuntu avunaanibwa ategedde ekika ? by’emisango egimuvunaanibwa Singa omulamuzi amatira nti omuntu avunaanibwa omusango yaguzza, ? (asobola okukizuulira ku bigambo) kiba tekikyetaagisa kugenda mu maaso na kuwoza. Kyokka omulamuzi bw’aba tamatidde, awandiika sitatimenti “eyokwegaana omusango.” Omuntu avunaanibwa bweyegaana omusango, omulamuzi olwo agenda mu ? maaso n’okuguwozesa Avunaanibwa/omuwawaabirwa bweyegaana omusango naye ng’okuwoza ? tekusobola kumalirizibwa ku lunaku olwo lwennyini, oba omulamuzi nga talina buyinza buwulira musango ogwo, omuwawaabirwa asindikibwa ku alimanda / mu kkomera okulindirira okuwozesebwa. Omuntu avunaanibwa bweyegaana omusango alina eddembe okusaba ? okweyimirirwa Mu tteeka lya kkooti z’abalamuzi omulamuzi kimukakatako okutegeeza aba- ? vunnanibwa ku ddembe lyabwe okweyimirirwa omulamuzi bwaba ng’alina obuyinza okubakkiriza okweyimirirwa Okusaba okweyimirirwa mu bwangu mu maaso g’omulamuzi ng’omulamuzi ? tanasalawo kutwala avunaanibwa ku alimanda. Mu misango ng’okweyimirira kuweebwa kkooti enkulu yokka, buvunaany- ? izibwa bw’amulamuzi okutegeeza omuntu avunanibwa nti alina eddembe 72 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi okusaba okweyimirirwa mu kkooti enkulu. (ebisingawo ku kweyimirirwa bisange wansi mu bujjuvu) Omuntu avunaanibwa bwaba nga yeegaanye omusango naye omuwaabi ? nagamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso, kooti essaawo olunaku wegunaddamu okusomwa. Okusoma omusango kwe kukomyawo omuwawaabirwa mu kkooti n’ategeezebwa ebikwata ku musango gwe, okugeza, okunoonyereza oba kuwedde oba nedda/tekunaba Okunoonyereza bwe kuba kuwedde, kkooti essaawo olunaku olw’okutandika ? okuguwulira (ow’okuguwulira) Olunaku olw’okuwulira omusango nga lutuuse, okulumiriza kutandika ? n’okuleeta obujjulizi ba gavumenti okukakasa nti avunaanibwa ddala emisango egimuvunaanibwa yaguzza Omuwaabi asaba buli mujulizi okutegeeza kkooti ky’amanyi ku misango, ? kwe kugamba okuwa obujulizi Oluvanyuma lwabuli mujulizi w’oludda obuwaabiddwa omuwawaabirwa ? oba munnamateeka we amuwolerereza (ekiyitibwa “okubuuza omuntu okukakasa bye yayogedde edda”). Ekigendererwa mu kubuuza kuno bwekufuna obukakafu okuva mu mujulizi omusango gw’avunaanibwa, oba okulaga nti omujulizi tayogera mazima Oluvanyuma lw’omuwawabirwa oba munnamateeka we amuwolereza ? okubuuza buli mujulizi ebibuuuzo ebimusiba, omuwaabi asobola okubuuza abajjulizi ebibuuzo ebirala (ekiyiibwa `okuddamu okwetegereza”). Ekigendererwa mu kuddamu okwetegereza kwe kumalawo/kutangaaza oba kunnyonnyola okuddamu okwalabise/ ebyalabise ng’ebitali bituufu oba ebitesigika/ebitesigamizibwako mu kubuuzibwa ebibuuzo Kkooti nayo esobola okubuuza ebibuuzo okusobola (okufuna) ? okunnyonnyola Ng’omuwaabi amaze okuleeta abajjulizi ba gavumenti bonna era nga buli omu ? amaze okubuuzibwa ebibuuzo ate n’okuddamu okwetegerezebwa, omuwaabi aggalawo omusango (empoza) gwa gavumenti. Kino nno kitegeeza nti omuwaabi (wagavumenti) alowooza nti ye akakasizza empoza ya gavumenti era nga kati kiri eri omuwawabirwa okuwa empoza ye (okwewozaako). Esuula 8 73 Obwenkanya mu Bonna Ebigobererwa/ebiddirira mu kuggalawo okuwoza omusango Oludda oluwaabi bwe luba lumaze okuwa n’okuggalawo empoza yaalwo ? n’ekirabika eri kkooti (kkooti n’eraba) nti ensonga eziweereddwa tezirabika kukakasa oba kulumiriza muwawaabirwa emisango egimuteereddwako, kkooti emisango egigoba ng’omuwawaabirwa teyewozezaako Kwe kugamba, kkooti eba n’endowooza nti omuwawaabirwa tasaana ? kutawanyizibwa kwanukula misango gavumenti gy’eremereddwa okukaka- sa Siinga kkooti ekizuula nti omuntu avunaanibwa alina omusango, kkooti ? emutegeeza ebintu ebisatu by’alina okulondako, kwe kugamba; Eddembe okuwa obujjulizi ng’amaze okulayira mu kaguli era kino i) bwalidda aba ateekwa okubuuzibwa obubuuzo Okukola sitatimenti mu kaguli nga talayidde ii) Okusalawo okusirika iii) Omuntu avunaanibwa wa ddembe okuleeta abajjulizi ? Kkooti ebuuza avunanibwa oba alina abajjulizi ab’okubuuzibwa oba obujjulizi ? obulala bwonna bwayinza okuwa okwewozaako Avunanibwa/omuwawaabirwa oba munnamateeka we amuwolereza olwo ? ayita abajjulizi okuwa obukakafu ku kwewozaako. Omujulizi asooka okuyitibwa emurundi egisinga obungi ye muwawaabirwa yennyini bwaba nga naye wakuwa obujulizi. Omuwaabi ayinza okubuuza buli mujulizi ebibuuzo ate ye omuwawaabirwa ? (oba munnamateeka amuwolereza) naye ayinza okuddamu okubuuza buli mujjulizi. N’ekkooti nayo esobola okubuuzaayo ku bibuuzo. Abajjulizi ab”oludda okuwawaabirwa nga bamaze okuleetebwa, okubuuzibwa kajjogijjogi w’ebibuuzo n’okuddamu okubuuzibwa, omuwawabirwa (oba munnamateekaomuwolereza)nayeayinzaokuddamuokubuuzabulimujulizi. Abajjulizi ab’oludda oluwawabirwa nga bamaze okuleetebwa, okubuuzibwa kajjogijjogi w’ebibuuzo n’okuddamu okubuuzibwa, omuwawaabirwa (oba munnamateeka amuwolereza) aggalawo okuwoza kw’oludda oluwaabirwa. Kino nno kitegeeza nti oludda olwewozaako terusuubira nate kuyitayo/ kuleetayo bajulizi balala. 74 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Omuwaabi awumbawumbako empoza ya gavumenti ng’awa ensonga lwaki ? omuwawaabirwa yandisaliddwa omusango gumusinge/gumukke mu vvi. Omuwawabirwa (aba munnamateeka omuwolereza) awakanya, ng’awa ? ensonga lwaki omuwawabirwa tasaanye kusingisa musango. omuwawabirwa omusango gumusinze, agenda mu maaso n’okugumusalira, bwalaba ng’omuwawabirwa talina musango, olwo ng’amwejjereza. Omuwawabirwa omusango bwe guba nga gumusinze, omusaaba ayogerako ? eri kkooti ku kibonerezo ki ekisaanidde okuweebwa omuwawaabirwa Kkooti erina obuvunaanyizibwa okumubuuza kyeyandibadde etwala ? ng’ekikulu nga tennawa kibonerezo (tenasala musango). Mu kiseera kino kyennyini omuwawaabirwa walina okusabira kkooti okumukwatirwa ekisa n’okumusaasira, ng’emusalira ekibonerezo (ng’esalawo kibonerezo kki eky’okumuwa. Omuwawabirwa ayinza okusaba okusaasirwa ng’awa emu oba ensonga zino ? wammanga zonna, okusinziira ku mbeera ye: Nti yeetonda/yenenya olwokuzza omusango ogwo i) Nti yasoose okuguzza (gwe mulundi gwe ogusoose) ii) Nti alina abaana abato b’alabirira abajja okubonaabona singa iii) asibibwa Nti mulwaddelwadde (obulamu bwe tebweyagaza) iv) Ng’awa ensonga endala yonna ennungi v) Bwawa emu oba ensonga ezo zonna, omuwawaabirwa agambibwa okuba ng’akendeeza ku buzito bw’ekibonerezo. Omulamuzi olwo asalira/awa ekibonerezo omuwawabirwa ng’asinziira/ ? ng’agerera ku nsonga z’awadde okumala okukendeeza ku kibonerezo Singa omuwawaabirwa aba tamatidde ngeri gyasingiziddwamu musango oba ? ekibonerezo ekimuweereddwa asobola okujjulira mu kkooti eyawaggulu/es- ingako mu nnaku kkumi na nnya (14) zokka. Omuntu asingisiddwa omusango bwajulira aba ayagala kkooti esingawo(ko) ? eddemu okutunula mu musango guno Omuwawaabirwa bwaba yejjeerezeddwa, gavumenti nayo esobola okujjulira ? Esuula 8 75 Obwenkanya mu Bonna Enkola esookerwako mu misango egirina okuwozesebwa kkooti enkulu Emisango egibonerezebwa n’okuwanikibwa kukalabba giwozesebwa kkooti enkulu yokka. Emisango egy’engeri eno mulimu okulyamu ensi olukwe, obutemu, okusobya ku baana abatannetuuka n’obuliisa maanyi ebiyitiridde (eby’obukambwe). Kyokka, okuwozesebwa mu kkooti enkulu nga tekunnabaawo, ? omuwaawabirwa alina okusooka okuvunaanibwa mu kkooti y’omulamuzi ow’eddala erisooka oba eryokubiri. Kino kibaawo ng’omuwawabirwa asomerwa sitatimenti y’omusango. Sitatimenti empandiike ey’omusango ogw’okuwozesebwa mu kkooti enkulu ? Kkooti y’omulamuzi ennyonnyola omuwawabirwa nti yo terina buyinza ? buwozesa /buwulira musango ogwo Kkooti ewa omuwawaabirwa amagezi obutayogera kantu konna ng’akkiriza ? oba nga yeegaana nti omusango taguzzanga Kkooti y’omulamuzi era etegeeza omuwawabirwa nti bwaba ayagala asobola ? okusaba okweyimirirwa, okusaba kuteekwa kukolebwa eri kkooti enkulu. Olwoomuwawaabirwaasindikibwamukkomeraokulindiriraokuwozesebwa (ku alimanda) Oluvanyuma lw’okuvunaana omuwawabirwa, Ssabawaabi wa gavumenti ? ateekwaokuteekateekaebitonotnoebikwatakumusangoby’ategekaokutwala mu kkooti enkulu ng’okuwoza omusango kutuuse Ebitonotono bino ebikwata ku musango bisomerwa omuwawaabirwa mu ? Ebikolebwa byonna era biraga nti okunoonyereza kwa Puliisi kwonna kuwedde bulungi era nti gavumenti yetegese okulumiriza omuwawaabirwa. Kino nno kiyitibwa okusindika omuwawaabirwa mu kkooti enkulu. Okweyimirirwa Kuno kwe kuyimbulwa kkooti ng’omusango tegunaggwa ku kakalu akali mu buwandiike nti omuntu ayimbuddwa ajja kukomawo okuvunaanibwa oba nga yetaagiddwa. Etteeka liragira omuwawaabirwa okutegeezebwa ku ddembe lye okusaba okweyimirirwa. 76 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Eddembe okweyimirirw ? a lyesigamizibwa ku tteeka erigamba nti omuntu avunanibwa taba namusango okutuusa nga kizuuliddwa nti yaguzza Omuwawaabirwa kimwetaagisa okuwaayo akakalu. okuba mu sente ez’obuliwo oba ekintu ekirala ekikalu Emirundi egisinga obungi omuwawaabirwa kimwetaagisa okuba n’abantu ? abamweyimira nga tannayimbulwa (ku kakalu ka kkooti). Kyokka, kkooti esobola okuyimbula omuntu nga tewali bamweyimirira Okweyimirirwa kuweebwa ku bukwakulizo obuteekebwawo kkooti, okuge- ? za okusasula kkooti sente ng’akakalu Alisiiti entongole eyitibwa ? alisiiti eyawamu eteekwa okuweebwa oyo asasudde sente z’okweyimirirwa Alisiiti eno erina okukuumwa obutiribiri kubanga yetaagibwa omuntu ng’asaba okuddizibwa ensimbi ze zeyasasula okusobola okweyimirirwa Sente z’okweyimirirwa ziddizibwa omuntu ng’omusango gukomekkerezed- ? dwa, omuwawaabirwa bwaba nga yatuukiriza bulungi n’obukwakulizo kweyayimbulirwa Okweyimirirwa kulina kusabibwa mu kkooti eyo erina obuyinza okuwulira ? omusango ogwo omuwawaabirwa gw’avunaanibwa Kkooti y’omulamuzi ento terina buyinza kukkiriza muntu kweyimirirwa ? mu misango egimu gamba ng’ogw’obutemu, okulya mu nsi olukwe, obuliisa maanyi , okusobya ku baana abatanetuuka olw’amaanyi, okubuzaabuza ensimbi ekivaako ekufiirizibwa mu byensimbi okwo ssaako n’obuli bw’enguzi Omuwawaabirwa bwaba asindikiddwa mu kkomera okulindirira ? okuwozesebwa (ku alimanda) okumalayo ennaku nkaaga (60) mu misango egitali gya nnaggomola oba ennaku kikumi mu kinaana (180) ku misango egya nnaggomola, kkooti esobola okumuyimbula ku kakalu. Engeri y’okusabamu okweyimirirwa mu kkooti y’omulamuzi Buba buvunaanyizibwa bwa mulamuzi omuwawaabirwa gyatwaliddwa okumutegeeza eddembe lye okusaba okweyimirirwa Omuntu avunaanibwa oba munnamateeka we asobola okusaba omulamuzi ? okuyimbulwa ku kakalu Esuula 8 77 Obwenkanya mu Bonna Okusalawo okukkiriza okweyimirirwa oba okugaana waliwo ensonga ? ezisinziirwako: Ekika ky’omusango i) Obunene bw’omusango n’obugumu bw’ekibonerezo ekiyinza ii) okuweebwa olw’omusango ogw’engeri eyo (ogw’ekika ekyo) Ekikula ky’omuntu avunaanibwa, mu naddala, oba omuwawaabirwa iii) anaalabikako mu kkooti buli lwanaaba yeetaagiddwa Oba omuwawaabirwa mutuuze mu kitundu ekitwalibwa kkooti eyo iv) Oba omuwawaabirwa anaatataaganya abajjulizi bwa gavumenti v) Omuntuavunaanibwaokukkirizibwaokweyimirirwakkootibulijjozimusaba ? okuba n’abamweyimirira Kyokka omuntu asobola okuyimbulwa awali aba awatali bamweyimirira ? Abeyimirira be bantu abeeyama eri kkooti (abawa kkooti ebisuubizo) era baba ? n’obuvunaanyizibwa okulaba nti omuwawaabirirwa akomawo awozesebwe singa aba nga yateebwa ku kakalu. Abeeyimirira omuntu beeyama okusasula kkooti omutemwa gw’ensimbi ezi- ? basaliddwa singa omuwawaabirwa alemererwa okulabikako okuwozesebwa Emirundi egisinga obungi kkooti yetaaga abeeyimirira babiri. bateekwa okuba bantu bakulu nga bategeera bulungi ate nga beeyisa bulungi (bantu balamu). Okweyisa obulungi (obuntu bulamu) tekitegeeza kubeera mugagga). Abeeyimirira omuntu kkooti ebayita okunnyonnyola amayitire ? g’omuwawaabirwa singa aba ng’abuzeewo Singa omuwawaabirwa abulawo/yekukuma, abaamweyimirira nebalemwa ? okuwa ensonga ezimatiza kkooti nti tebaali balagajjavu mu kumukuuma, basasula era ate ne bafiirwa ensimbi ze beeyama okusasula mu kkooti Omuntu okulabikako mu kkooti era neyesimbawo okweyimirira omuntu, ? ateekwa okuba na bino: Ebbaluwa okuva eri ssentebe w’olukiiko lw’ekyalo gy’abeera. Kyokka, mu nkola, kkooti ezisinga zisaba ebbaluwa eno. Omuntueyeeyimiriraateekwaokuban’ennanga-muntuetannayitwako ii) eraga obulungi gy’akolera, omulimu gw’akola oba gy’abeera. 78 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Omuntu bw’aba alina pasipoota oba ebiwandiiko ebimukkiriza iii) okuvuga ekidduka biyinza okukozesebwa okumutegeera Abeeyimirira bateekwa okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe. eyinza okubasaba okukakasa oba ddala babumanyi. Kkooti bw’emala okumatira nti omuwawaabirwa asaanidde okweyimirirwa, ? Ekirayiro kiba kiraga obukwakkulizo obulinaokugobererwa/okutuukirizibwang’empapulaezisabaokweyimirirwa tezinateekabwako mikono Bulijjo omuwawaabirwa asabibwa okusasula mu kkooti sente mu buliwo ? ng’omusingo Omuwawaabirwa era ayinza okusabibwa okuwaayo pasipoota ye. Oluvannyuma lw’okutuukiriza ebyetaagisa obukwakulizo) ? by’okweyimirirwa, omuwawaabirwa n’abamweyimiridde bassa emikono ku mpapula z’okweyimirirwa Olwo omulamuzi naye assa omukono era n’akakasa empapula ezo. bwe zigwa okussibwako emikono zitwalibwa eri abakuumi b’ekkomera omuwawaabirwa asobole okuteebwa Singa okweyimirirwa kuba tekukkiriziddwa, oba ng’omuwawaabirwa ? tatuukirizza byetaago (bukwakkulizo) okweyimirirwa kwe kuweereddwa, omuwawaabirwa azzibwayo mu kkomera okulindirira okuwozesebwa (ku alimanda) okutuusa ku lunaku oluweereddwa, oba okutuuka lwakkiriziganya n’obukwakkulizo (lwatuukiriza ebyetaago). Avunaanibwaasobolaokuleetebwamukkootiolw’ensongaez’okweyimirirwa ? yadde ng’olunaku oluweereddwa terunatuuka Ekirina okukolebwa singa omulamuzi agaana omuntu okwayimirirwa Obuyinza bw’omulamuzi okukkiriza omuntu okweyimirirwa businziira ku ? bwetaavu sso ssi kusalawo busazi Singa kkooti egaana omuntu okweyimirirwa okw’ensonga nti ebisinziddwako ? okweyimirirwa tebituukiriziddwako, avunaanibwa asobola okusaba obuto (okuddamu okusaba) mu kkooti y’emu bw’aba ng’amaze okwetegeka okutuukiriza obukwakkulizo bwonna Okugeza, singa okweyimirirwa kugaaniddwa lwabutaba na bakweyimirira ? bw’abafuna, amuwawaabirwa oba munnamateeka we asobola okuddamu okusaba okweyimirirwa mu kkooti y’emu Esuula 8 79 Obwenkanya mu Bonna Kkooti bweddamu okugaana okukkiriza okweyimirirwa, omuwawaabirwa ? asobola okusaba mu kkooti esingawo (eya waggulu) Singa okusalawo okugaana okweyimirirwa kwakolebwa kkooti ey’eddaala ? erisoka oba eryokubiri, omuwawaabirwa oba munnamateeka we asobola okusaba okweyimirirwa ew’omulamuzi omukulu ow’ekitundu ekyo Singa okusalawo kwakolebwa kkooti ekubirizibwa omulamuzi omukulu, ? olwo okusaba okweyimirirwa kukolebwa eri kkooti enkulu Okusaba okweyiirirwa mu kkooti esingako tekuba kujulira naye kuba kusaba ? okuwa bulijjo Okweyimirirwa mu kkooi enkulu Kkooti enkulu yokka yerina obuyinza okukkiriza okweyimirirwa mu ? misango nga egy’obutemu, obuliisa maanyi, okulya mu nsi olukwe, okusobya ku baana abatanneetuuka, obwakkondo, okukozesa obubi ofiisi n’obuli bw’enguzi (obukenuzi/obulyake). Obukwakulizo kkooti enkulu bwegoberera okukkiriza okweyimirirwa ? bwe buno; kkooti ng’ematidde ensonga/embeera ez’enjawulo ezisaanyiza avunaanibwa okuteebwa ku kakalu Embeera/ensonga ez’enjawulo kitegeeza ebimu ku bino; ? Obulwadde obwamaanyi obumaze okukakasibwa omusawo i) omukugu ow’ekkomera oba eddwaliro eddala oba ekifo omuwa- waabirwa gy’akuumirwa nga tasobola kufuna bujjanjabi bumala ng’akuumirwa mu kkkomera Ebbaluwa eva ew’omuwabi wa gavumenti (DPP) emwegyereza ii) Avunaanibwa okuba nga muto oba mukulu nnyo/akaddiye iii) Akakwakk ? ulizo akokubiri kwekuba nti omuwawaabirwa tajja kubulawo (kudduka) oba butatunkiriza kakalu singa oba ateereddwa Okutwalira awamu, enkola/ebigobererwa mu kusaba okweyimirirwa ? mu kkooti enkulu efaanana/bifaanana nebyo ebikozesebwa mu kkooti y’abalamuzi ku madaala asatu agasooka. Kkooti enkulu etera okusaba omuwawaabirwa okuleeta abamweyimirira ? abamala (bangi ekimala) Singa obukwakkulizo obwo waggulu tebutuukirizibwa mu ngeri ematiza ? kkooti, kkooti eyinza okugaana omuwawaabirwa okweyimirirwa 80 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Okwongereza ku beeyimirira, kkooti era eyinza okusaba omuwawaabirwa ? okugikwasa ebiwandiiko ebikulu nga pasipota, ebiwandiiko eby’omuwendo nga ekyapa ky’ettaka oba ekintukyonna ky’eraba nti kyamuwendo oba kikulu ekimala (kya mugaso ekimala) okuwaliriza nnyini kyo okukomawo mu kkooti okuwozesebwa Kyabulijjo era kkooti okulagira omuwawaabirwa okusasula omutemwa gwa ? ssente mu kkooti Ebiva/ebigoberera okweyimirirwa Omuntuokweyimirirwatekitegeezantiagiddwakoomusangoogumuvunaanibwa. Okweyimirirwa kuweebwa ku kukkiriziganya nti omuntu avunaanibwa ajja kweyanjula mu kkooti buli lwannaba yeetagibwa okukikola Omuntu avunaanibwa bwe yeeyimirirwa alina okulabikako mu kkooti ? ku budde obumuwereddwa era bulijjo buba butasussa ssaawa ssatu ezokumakya Kikulu nnyo omuntu okumanya nga bukyali ddala ekisenge kyennyini ? kkooti ekola ku musango gwe mwetuula Omuntu avunaanibwa bwatalabikako mu kkooti ku lunaku n’essawa ? ebyamuweebwa okweyimirirwa kwe kusazibwamu era kkooti n’ewa Puliisi ekiragiro okumukwata Singa omuntu aba n’ensonga entuufu/ey’amaanyi emulobedde okulabikako ? mu kooti, okugeza singa aba mulwadde era ng’ali ku kitanda mu ddwaliro, omubaka atumwa mu kkooti n’obukakafu obulaga obulwadde obwo. Okweyimirirwa kusobola okusazibwamu oba okuggyibwawo singa kkooti ? ekizuula nti kyetaagisa Omuntu avunaanibwa (omuwawaabirwa) alemeddwa okulabikako mu ? kooti nga yeetaagibwa afiirwa ebyo byonna bye yakwasa kkooti gamba nga ssente ez’okweyimirirwa Okuddizibwa ssente z’okweyimirirwa Ssente z’okweyimirirwa ezisasulwa kkooti zirina okuddizibwa ? Okuzaayo ssente kuno kukolebwa ng’omuwawabirwa ateereddwa oba ng’asingisiddwa omusango Kkooti erina okukola/okuwa ekiragiro ekyekuzaayo ssente ? Esuula 8 81 Obwenkanya mu Bonna Omuntu eyeeyimirirwa oba amukirikirira ateekwa okuwaayo empapula ? z’okweyimirirwa ne alisiiti yennyini eyawamu (alisiiti entongole eya gavumenti ya Uganda) Okuwa ekibonerezo Kkooti bw’emala okuzuula nti avunaanibwa ddala omusango yaguzza, egumusalira. Ng’emaze okugumusalira, kkooti y’emu ewa omuzzi w’omusango ono ekibonerezo. Okuwa ekibonerezo kya kkooti okusalawo kibonerezo ki ekigwanidde eyazza omusango/asingisiddwa omusango. Mu kusalawo ekibonerezo, kkooti erowooza/egerera ku nsonga ? omuwawaabirwa z’awadde okumukendereza ku kibonerezo, oba yali azzizza ku musango, ebyafaayo by’enkolagana ye n’abantu, obulamu, obuyigirize n’omulimu gwe, olwo ssaako ebirowoozo/amagezi ku kibonerezo ebikoleddwa/agawereddwa omuwaabi n’omuwawaabirwa oba munnamateeka we Ensonga ezisinziirwako okusala ku buzito bw’e kibonerezo z’ezo eziweebwa ? asingisiddwa omusango oba omuntu omulala ku lulwe eri omulamuzi nga tannaba kusala kibonerezo Kino kikolebwa n’ekigenderera eky’okusikiriza omulamuzi okuwa ekibo- ? Ebigendererwa mu kuwa ekibonerezo Okuwa ekibonerezo mu misango egy’ebibonerezo kikolebwa olw’ensonga eziwerako, gamba Okubonereza omuzzi w’omusango olw’ekikolwa kye ekikyamu i) Okusobozesa omuzzi w’emisango obutaddamu kuzza musango ii) mulala Okukola ng’ekyokulabirako eri abantu abalala nabo baleme kuzza iii) misango Okuzzaamu amaanyi abazzi b’emisango babe bantu iv) abobuvunannyizibwa mu ggwanga. Okugeza omuzzi w’emusango asobola okutendekebwa mu mirimu gy’emikono oba okufuna obujjanjabi obwebirowoozo ng’ali mu kkomera Okuzza obuggya abazzi b’emisango v) 82 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Ebika by’ebibonerezo Etteeka eritondawo omusango era liteekawo n’ekibonerezo ekigenderako singa omuntu gumukka mu vvi. Ekibonerezo kiyinza okuba eky’obuwaze oba nga kisalibwawo okusinziira ku bwetaavu. Bwe kiba nga kyabuwaze (mu tteeka), omulamuzi aba talina kirala kyonna kyakukola okuggyako okuwa ekibonerezo ekyo Bwe kiba nga kisalibwawo okusinziira ku mbeera omulamuzi awa ekibonerezo okusinziira ku bigendererwa by’okubonereza ate n’ebirumbirirwa by’abantu (by’eggwanga) ebirungi. Ebibonerezo ebiweebwa kkooti mulimu bino: Okulabula n’okuta: i. Wano omuzzi w’emisango alabulwa obutaddamu kuzza musango ogwo era n’ateebwa awatali kibonerezo kyonna. Wano ekibonerezo kiweewba naye asingisiddwa omusango tekimwetaagisa kukikola kasita takola/tazza musango mulala gwonna mu bbanga lyamala nga tali mu kkomera. Engassi gw’emuwendo gw’ensimbi omuntu azzizza omusango z’asasula mu kkooti. Emirundi egimu omuntu asingisiddwa omusango ayinza okusasula engassi ng’ayongereza ku, oba mu kifo ky’ekibonerezo ky’okusibwa mu kkomera. Ssente ezikunganyizibwa mu ngassi ze zimu ku nsimbi za gavumenti zeyingiza so teziba za kusasula bemulugunya oba ababa bakosedwa mu misango. Asingisiddwa omusango bw’alemwa okusasula engassi, akola ekibonerezo eky’okusibwa mu kkomera Okuliyirira oba okuzzaayo ebibbe: iv. Omusango bwe guba nga guvuddemu okwonoona oba okufirizibwa ebintu nga ssente, omuntu akoseddwa/ gwekikwatako ayina okusaba kkooti eragire eyazza omusango okumuliyirira olw’ebintu bye oba ssente ze zeyafiirwa, oba okumuddiza/ okukomyawo ebintu bye/ekintu kye. Wano omusibe asindikibwa mu kkomera amaleyo ebbanga eggere. Ebbanga lino liyinza okuba ery’essaawa, ennaku, emyezi oba emyaka oba ery’obulamu bwonna. Esuula 8 83 Obwenkanya mu Bonna Okugeza kkooti esobola okusalira omuntu okusibwa “okutuusa ? nga kkooti eggaddewo.” Kino kitegeeza nti omuntu agenda kusibwa okutuusa ng’omulamuzi avudde mu (kisenge kya) kkooti.: Kino kikozesebwa ng’ekibonerezo ekitono ddala Ekibonerezo ekisingayo obunene mu kkomera kwekusibwa amayisa. Kyokka okusibwa amayisa kitegeeza myaka makumi abiri(20) Omusibe eyeyisa obulungi mu kkomera ayizna okukenderezebwako ? ku kibonerezo kye mu nkola eyitibwa okusala ku kibonerezo Okukola bulungi bwansi: vi. Omuntu bwaba asingisiddwa omusango naye ng’omusango si gwa maanyi kkooti eyinza okulagira omuntu oyo n’aweebwa emirimu/omulimu ogugasa abantu bonna mu kifo ky’okusibibwa okumala ebbanga. Omuntu eyeemulugunya oba akwatibwako/eyakosebwa omusango ? ateekwa okukkiriziganya n’ekiragiro kino Ekikula ky’omuntu eyazza omusango ate n’ekika ky’omusango birina ? okutunulibwamu kkooti nga tennawa kiragiro kya bulungi bwansi Omuzzi w’omusango ateekwa okukkiriziganya n’ekiragiro ? Singa omuzzi w’omusango alemwa okutuukiriza okukkirizaganya ? kwonna okukoleddwa ku kiragiro, kkooti eyinza okusazaamu ekiragiro ate n’esalira omuzzi w’omusango okusibwa mu kkomera okumala ebbanga nga kkooti bwe yali emusalidde okusooka okusinziira ku musango. Bulungi bwansi tateekeddwa kukolebwa kusussa myezi mukaaga era ? omuzzi w’omusango tateekeddwa kusussa ssaawa munaana olunaku ng’akola. Omuzzi w’omusango era ateekwa okubaako omuntu amulambula/ ? amulabirira ng’ono alina kulagibwa mu kiragiro Okusindikibwa mu kitongole: Omuntu amuzzi w’omusango ng’alina vii. obulemu ku bwongo oba ow’omutawaana eri eggwanga ayinza okukuumirwa mu kifo ekiyinza okumuyamba okutereera mu kifo ky’okumusiba oba okwongereza ku kibonerezo ekirala. Okusalirwa ogw’okufa: kkooti enkulu yokka yerina obuyinza okusalira viii. omuntu ekibonerezo eky’okumutta/ eky’okufa 84 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Okuwanikibwa ku kalabba kuteekwa okulagirwa mu misango gyonna ? egyobutemu, okubuzaawo abantu n’ekigendererwa oky’okubatata, okulya mu nsi olukwe, n’obubbi obulimu okweyambisa ebissi. Mu misango egy’obuliisa maanyi n’okusobya ku baana abato ? ekibonerezo eky’okufa si kyateeka naye kisalibwawo busalibwa bwe kiba nga kyetaagisizza. Etteeka liwa abalamuzi eddembe okusalawo okusalira omuntu asingisiddwa omusango ekibonerezo eky’okuttibwa oba okumuwa ekibonerezo ekirala ng’okusibwa mu kkomera Okuwanikibwa ku kalabba kukolebwa bakozi ba kkomera ? Okuwanikibwa ku kakabba kuteekwa okukakasibwa kkooti esinga ix. obukulu mu ggwanga (kkooti eyokuntikko). Eddembe ly’okusonyiwa (okuwa ekisonyiwo) Ssemateeka (w’eggwanga) awa omukulembeze w’eggwanga okusonyiwa omuntu yonna asingisiddwa omusango Ekisonyiwo kiyinza okuweebwa nga waliwo oba nga tewali bukwakkulizo ? Waliwo akakiiko akavunaanyizibwa ku kugaba ebisonyiwo, akakulirwa ? ssabawolereza wa gavumenti, akawa omukulembeze w’eggwanga ku ani asaanidde okusonyiyibwa. Ensonga ez’okwetegereza Abantu abamu batya okugenda mu kkooti okuba abajjulizi. Buvunaanyizibwabwo nga munnansi omulungi okuyamba gavumenti okukwasisa amateeka. Emirundi egimu abantu abakyamu tebabonerera kubanga bannansi banafu/tebavaayo kuba bajulizi. Kkooti kifo ekigoberera ebigendererwa by’amateeka. Ba mumalirivu era oyogere mazima nga bw’ogamanyi Buli lwoba ogenda mu kkooti genda nga bukyali oyige embeera eri mu ? Ffuba okumanya nga bukyali ekisenge mwoteekeddwa okubeera. Okweyimirirwa kwo kusobola okusazibwamu olw’ensonga z’obutabaawo so ng’ate ddala wo’li naye mu kisenge ekikyamu (ekirala). Esuula 8 85 Obwenkanya mu Bonna Bwoba olina ky’otekakasa buuza omuwandiisi wa kkooti oba mukozi wa ? kkooti omulala yenna buvunanyizibwa bwabwe okukuyamba Kiba kya magezi okugendako mu kkooti n’olaba (ebintu) emisango bwe ? gitambula era n’oyiga ebigenda mu maaso mu kkooti. Tewali ayinza kukugoba Tokkiriza kutiisibwatiisibwa ng’oli mu kkooti. Enteekateeka y’eggwanga eya bulungi bwansi Ennyanjula Enteekateeka y’eggwanga eya bulungi bwansi yatandikibwawo mu Uganda mu mwaka 2001. Enteekateeka eno obuyinza bwayo ebuggya mu tteeka lya bulungibwansi erya 2000 ne mu biragiro bya bulungibwansi ebya 2001. Ebitongole ebivunaanyizibwa ku nteekateeka eno bye bino: essiga ly’abalamuzi, Puliisi, abaserikale (abakulu) abalabirira abantu abattasibwa mu kkomera naye nga beeyanjula mu b’obuyiinza, abazzi b’emisango bennyini, abalambuzi/ abalabirira, abavunaanyizibwa ku nkulakulana y’abantu, n’ebitongole bya Nnakyewa. Ebirubirirwa by’enteekateeka eno kwe kulaba nga abazzi b’emisango mu Uganda bayisibwa /bakwatibwa era nebazzibwa bulungi obuggya. Waatondebwawo eggwandikiro ery’eggwanga ku kitebe ekikulu nga likulirwa Kamisona. Lisangibwa ku kitebe ekikulu ekya minisitule y’ensonga ezomunda ku luguudo lw’e Jjinja. Eggwandikiro lino likola ku mirimu egy’obukulembeze mu nteekateeka eno. Okusobola okuweereza obulungi abantu watandikibwawo amawandiikiro ag’ebitundu e Mbarara (ku ndagiriro 0485-420151) e Gulu, Mbale (wonna nga gasangibwa ku kkooti y’omulamuzi omukulu) n’e Kampala (ku ggwandiikiro ery’eggwanga ? Okutondawo ofiisi z’ebitundu kyagendererwamu, kuweereza bulungi bantu, okusalawo n’okwetegereza enkola mu bwangu, okulwanaganya emirimu, okulabirira (okuddukanya) n’okwetegereza obulungi enteekateeka eno. Ku disitulikiti, wasangibwayo akakiiko ka disitulikiti aka bulungibwansi akatuukiriza emirimu gy’akakiiko k’eggwanga aka bulungibwansi ku disitulikiti nga kakulirwa omulamuzi omukulu ate omukulu alabirira/akola ku bazzi b’emisango abatali mu kkomera wamu n’embeera (obulungi) z’abantu ku disitulikiti ye n’akola ogwokukwanaganya emirimu. 86 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Bulungibwansi kye ki? “Bulungibwansi” kitegeeza ekibonerezo ekitali kya kukumirwa mu kkomera kkooti ky’ekozesa /ky’eyeyambisa nga n’omuzzi w’omusango akkirizza (ziganyizza nayo) okuwa ekiragiro omuzzi w’omusango okuweereza abantu okusinga okusibwa mu kkomera. Ebigendererwa bya bulungibwansi Okuzza obuggya omuzzi w’omusango ? mu bantu be n’okubezaawo amakage Okukendeeza ku mirundi egyokuzza emisango (kuddingana kuzza ? musango) Okussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu n’okukuuma ekitibwa ky’abazzi ? b’emisango Okuwa omukisa abazzi b’emisango okukola emirimu egigasa abantu ? Okuddinganya abazzi b’emisango n’abakosebwa emisango ? Okutuukiriza ebiragiro eby’ensi yonna eby’eddembe ly’obuntu, ? ebigobererwa amawanga amagatte mu ngeri y’okuyisaamu abazzi b’emisango nga tebakumiddwa mu kkomera n’okweyambisa enkola eyeesigamiziddwa ku ddembe ly’obuntu mu kugoberera enkola ey’ensi yonna. Ebigobererwa mu Kiragiro kya Bulungibwansi Omusango guteekwa okuba nga simunene ? Emirundi egisinga omuzzi w’omusango gwandibadde nga gwemulundi gwe ? ogusoose okuzza omusango Abazzi b’emisango bandibadde n’endagiriro emanyiddwa obulungi ? Abazzi b’emisango bateekwa okukkiriziganya/okukkiriza bulungibwansi ? Omuzzi w’omusango ateekwa okwenenya/okulaga kweddamu ? okw’omusango Omuntu oyo yali azizza ku misango emabega? Abantu abaliraanye omuzzi w’omusango neyaguzzibwako banakkiriza ? Essaawa ezeetaagisa ziyinza okumalibwayo mumyezi mukaaga (6) ? ng’obaliridde omulimu gw’omuzzi w’omusango n’obudde busaanira? Esuula 8 87 Obwenkanya mu Bonna Ekifo eky’okukolamu kye ki? Ekifo ekyokukolamu ky’ekifo omuzzi w’omusango wakolera ekibonerezo kye. Ekifo kino kiteekwa okuba nga; Kiweereza/kya mugaso eri abantu b’ekitundu okugeza essomero erya i) gavumenti, amalwaliro amanene oba obulwaliro obutonotono amaka agalabirira abaana abatalina mwasirizi n’aga bamulekwa Ekifo kiteekwa okuba nga sikikozi kya magoba ii) Kiteekwa okuba mu bbanga /awantu awatuukika amangu abo ababa iii) bazzizza emisango nebasakirwa kukola bulungi bwa nsi oba nga kisobola okubawa entambula esaanidde Ekifo kiteekwa okuba n’emirimo egy’okukola egiggya mu busobozi iv) bw’ababa bazzizza emisango ne baweebwa okukola bulungibwansi. Ekifo kiteekwa okuba n’abakozi ab’obuvunaanyizibwa abayinza v) okulaga abazzi b’emisango abali ku bulungi bwansi eky’okukola ate n’okubalambula Ekifo/ekitongole kiteekwa okuba ekyetegefu okuwaayo ebyokukozesa vi) ate n’ebyokukuuma obulamu bw’abantu ebyetaagisa okukola emirimu egiba gibaweereddwa obulungi. Weetegereze Wonna wekisoboka emirimo egiweebwa omuzzi w’omusango giteekwa okuba egyo egivaamu ebibala ebirabikako okusinga okubawa okusaawa obusaayi oba okulongoosa (okwera). 88 Obwenkanya mu Bonna Esuula 9 Ekitongole kya Uganda Eky’Amakomera Endagiriro Uganda Prisons Service Century Building Plot 13/15 Parliament Avenue P.O. Box 7182 Kampala Tel: 0414-256751/2 Fax: 0414-343330 Email: compris@utl.co.ug Ennyanjula Ekitongole ky’amakomera ga Uganda (ttabi, ekitundu) kye kimu ku kitole ky’ekitongole by’amateeka ekivunaanyizibwa ku kukuuma abasibe obulungi (nga tebakubiddwaobakutoloka)atemubuntubulamuaboabababasaliddwaekibonerezo eky’okusibwa, wamu n’abantu ba ssekinoomu abasindikiddwa Kkooti za Uganda ku alimanda (okulindirira okuvunaanibwa). Ekitongole kino obuyinza bwakyo bukiweebwa /kibuggya mu Ssemateeka w’eggwanga n’enteeka ly’Amakomera. Amakomera ga gavumenti ez’ebitundu agaddukanyizibwanga aboobuyinza mu gavumenti ez’ebitundu kati gazibwa wansi w’obukulembeze bw’amakomera obwa gavumenti eya wakati oluvannyuma lw’okuyisa Etteeka ly’Amakomera erya 2006. Ng’oggyeeko okukuuma abasibe, amakomera galina obuvunaanyizibwa okuzza obuggya abasibe bano mu mbeera ebasobozesa okuggya mu bantu gye baava bwe baba nga bamalirizza ebibonerezo byabwe okuzza obuggya abasibe kutwaliramu okubawa obumanyirivu/obukugu mu by’amakolero (emirimu gy’emikono) ne mu by’obulimi obunaabayamba nga bavudde mu makomera. 9 9 Esuula 9 89 Obwenkanya mu Bonna Obuvunaanyizibwa bw’ekitongole ky’amakomera Okukuuma obulungi abasibe awatali kweraliikira kwonna. Okuzza obuggya n’okugunjula/okukyusa/okugolola abasibe. Okutendeka abasibe mu mirimo gy’emikono. Okussaawo enkolagana ennungi n’ebitongole ebirala ebikola ku buzzi ? bw’emisango (bumenyi bw’amateeka) Okulaba nti abasibe baweebwa eddembe lyabwe ery’obuntu (Okukuuma ? eddembe ly’abasibe ery’obuntu) Okulaba nti abasibe batwalibwa mu mbuga z’amateeka entuufu nga ? Okusunsula (okwawula) abasibe abasingisibwa emisango abeeyisizza obulungi ? mu kkomera era abasaanira (abagwanira) okusabira/okukendeereza ku bibonerezo byabwe. Abakyalira Abasibe Abantu abalala bonna abakkirizibwa okuyingira mu mukomera nga si baserikale baago be bano: Abalamuzi abagenyi (abakyaze) mu bano mulimu Baminista abajjuvu mu ? Gavumenti, Baminista abayambi, abalamuzi ba kkooti enkulu ne kkooti eyokuntikko, abalamuzi abakulu, abakulu mu kitongole ky’eddembe ly’obuntumu Uganda,abalamuziab’eddaalaerisookan’eryokubirin’abakulira abakozi mu zi disitulikiti (CAOs)nga bano bamuzi abakyala mu makomera agali mu bitundu byabwe. Abagenyi abatongole: Muno muzingiramu abakulu okuva mu bitongole ? ebirala ebigabana ku buvunaanyizibwa obw’okuddukanya ekkomera, abantu abalambula omukulu ali ku gw’okuddukanya ekkomera. Abagenyib’abasibe:Banobebengandaobaabeemikwanoabakkirizibwaetteeka ? okukyalira abasibe ssekinoomu, abagenyi abajja ku lwabwe olw’okwagala kwabwe abakkiriziddwa omukulu w’amakomera, bannamateeka b’abasibe, ekibiina kya Nnakyewa, abakulu abalabirira abasibe wamu n’abakulu mu madiini oba abasomesa eddiini. 90 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Okukyalira abasibe Abasibe balina eddembe okuwuliziganya era n’okusigala nga balabagana ? n’abantu b’amaka gaabwe, abenganda n’abemikwano. Ng’oggyeeko abooluganda n’abeemikwano, abasibe balina eddembe ? okukyalirwa bannamateeka n’abasawo baabwe. Okutwalira awamu, omusibe asobola okukyalirwa olunaku lwonna ? okuva ku lwokusooka okutuuka ku lwokutaano wakati w’essaawa bbiri ezokumakya ne kkumi n’emu ez’olweggulo. Kyokka tewali nkola ya nkomeredde erina kugobererwa buli kkomera mu ? Buli kkomera likkirizibwa okwekolera amateeka agalyo ku bikwatagana n’okukyaza abagenyi. Abagenyi abalala, okugeza abanoonyereza, beetaaga okufuna olukusa ? olw’enjawulo okuva eri abakulu b’amakomera. Okukyalira abasibe abakuumibwa mu bwawufu mu Murchison Amakokera ga Murchison gagwa mu kiti kyago eky’enjawulo mu makomera ? Mu kiti kino mulimu ekkomera ly’eggwanga erikuumibwa obutiribiri; Ekkomera lya Uganda eryokuntikko. N’olw’ensonga eyo, amateeka agafuga okukyala mu makomera gayinza ? obutakola mu makomera ga Murchison Bay kubanga galina ekiti kyago. Ekkomera ery’enjawulo lino ligabanyiziddwamu obubondo buna era bwe ? buno; ekkomera eryokuntikko, Alimanda ya Kampala, Luzira owabakyala, n’ekitundu ekya Marchison. Ennaku entongole ez’okukyala ziri bwe ziti: (i) Ekkomera lya Uganda eryokuntikko ? Olwomukaaga ne Ssabiiti Enkomerero za wiiki wamu n’ennaku ez’okuwummula tezikyakirwako. Kyokka, singa wabaawo ensonga ez’enjawulo, okukyala ku Lwomukaaga ? ne Ssabbiiti ate ne ku nnaku ez’okuwummula /ezitali za kukola kuyinza okukkirizibwa naye ng’olukusa luva wa omukulu akulira amakomera. Esuula 9 91 Obwenkanya mu Bonna Kikulu nnyo abooluganda lw’omusibe abaagala okumukyalira okumanya ? omusango ogumuvunaanwa oba ensonga eyamusibisa era (n’omuntendera) omusango w’egutuuse. Abasibe okwenyigira mu mirimo/kukola Abasibe abalindirira okuwozesebwa (abali ku alimanda) olw’emisango ? egy’ebibonerezo wamu n’emisango egy’engassi bateekwa okukola obulimu obutonotono ng’okulongoosa ebintu byabwe bye bakozesa n’oluggya ate n’akuzannyamu olw’ensonga z’obulamu. Abasibe abalindirira okuwozesebwa bayinza okuweebwa emirimo nga ? Ku ludda olulala, buli musibe yenna eyasalirwa edda omusango mu tteeka ateekwa okubaako omulimu gw’akola (gwe yennyigiramu) ng’erimu ku makubo ag’okumuzza obuggya. Omusibe okuweebwa omulimu alina kusooka kukeberebwa era ? n’akakasibwa omusawo nti asaanidde okukola. Omulimu omusibe gw’akola guteekwa okuba nga gugasa abantu bonna so si ? Okujjanjabwa /Obujjanjabi Abasibe balina eddembe okufuna obujjanjabi. Buli muntu asindikiddwa mu kkomera alina okwekebejjebwa obulungi era ? embeera y’obulamu bwe n’ewandiikibwa nga yakatuuka mu kkomera. Omusibe takkirizibwa kwetabula (kwegatta) mu basibe balala nga ? Abasibe era balina eddembe okufuna okujjanjabibwa okwenjawulo bwe baba ? basobola olukusasulira kyokka, bateekwa okufuna olukusa okuva mu bakulu b’amakomera okubakkiriza okufuna okujjanjabibwa kuno. Abasibe abakyala ab’embuto, kibeetaagisa okufuna obujanjabi nga tebanazaala ? era baweebwa emirimu nga kimaze kukakasibwa basawo nti kisaanidde. Abaana b’abasibe abakazi, abazaaliddwa oba abaleetebwa mu makomera ? olwokuba nga bato bateekwa okujjanjabibwa. Abasibe abasaliddwa omusango (ogw’okufa) Abasibe abasaliddwa okuwanikibwa ku kalabba bateekwa okwawulibwa ku ? 92 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Balina eddembe okukyalirwa abantu baabwe wamu n’abakulu b’eddiini oba ? Omusibe amaze okusalirwa ogw’okufa takkirizibwa kukyaza bagenyi basatu ? mulundi gumu naye akkirizibwa okuwandiika n’okufuna ebbaluwa okuva mu beemikwano n’abooluganda. Abasibe bonna abasaliddwa ogw’okufa balina eddembe (bateekwa) ? okuzaanyamu okumala essaawa bbiri buli lunaku. Abasibe abasaliddwa ogw’okufa era ne battirwa mu kkomera baziikibwa ? Emirembe gy’abasibe abasaliddwa ogw’okufa kyokka ne bafa nga tebanaba ? kuwanikibwa ku kalabba wamu n’emirambo gy’abasibe abalala giyinza okutwalibwa bannannyini bantu abo ne bagiziika nga bwe baagala (ku nsimbi zaabwe). Emirambo egibuzeeko atwala gavumenti egyeggyako. Abasibe abafiira mu makomera nga tebawanikiddwa ku kalabba, emirambo ? gyabwe gyekebejjebwa abasawo okuzuula ekiba kibaviiriddeko okufa. Engeri y’okukwatamu okwemulugunya kw’abasibe Amateeka galagira buli musibe ayingira ekkomera okuweebwa ebintu ? (i) mateeka agakwata ku nzijjanjaba y’abasibe (ii) mpisa ezeetagibwa mu kkomera (iii) Empenda ezikkirizibwa mu kunoonyereza (iv) balina kukola ki singa baba n’okwemulugunya. (v) ensonga endala zonna eziri ng’ezo ezeetaagisa okuyamba omusibe okutegeera eddembe lye ate n’obuvunaanyizibwa bwe ng’ali mu kkomera. Mu tteeka abasibe balina okuweebwa omukisa okwogerako n’abaserikale ? abavunaanyizibwa ku kkomera, abalambula ekkomera oba owoobuyinza yenna alambula (ekyaddeko) mu kkomera. Abakozi b’omu kkomera gamba ng’abakuumi tebateekeddwa kuwuliriza ? Nolwekyo abasibe bakubirizibwa okukozesa eddembe lyabwe ? Esuula 9 93 Obwenkanya mu Bonna Eddembe okwogera ne bannamateeka mu kyama Enkola eri nti abasibe boogera n’abagenyi baabwe nga waliwo omukulu ? Kyokka, abasibe balina eddembe okwogera ne bannamateeka baabwe nga ? tewali muserikale wa kkomera yenna (awuliriza). Amasamba n’amakolerao eby’amakomera Ekitongole kya Uganda eky’amakomera kirina amasamba n’amakolero ? ebiwerako ebisangibwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Amasamba gano n’amakolero biteekeddwa okuzza obuggya abasibe nga ? bibasigamu obulungi mu byobulimi ne mu byamakolero (mirimu gyemikono) mu kubajja, okuweesa, emirimo gy’emikono (okuluka, n’okubumba) wamu n’okuzimba bye bayinza okugunjulwamu ennyo nga bateereddwa basobole okwewala okuzza emisango. Amasamba n’amakolero era biteekeddwa okuvaamu ensimbi ezirabirira ? 94 Obwenkanya mu Bonna Esuula 10 Okuwulira Emisango Emitono egy’Engassi Enyanjula Kuno kwekutawulula enkayana nga tweyambisa eddembe ly’obwebange nga tuyita mu kooti. Kino kisobola okutandikwako Ssekinoomu, ekitongole kya gavumenti oba ekibinja ky’abantu nga banoonya obwenkanya okuva mu kooti. Wano oli agenda mu kooti ng’anoonya obwenkanya asobola okuwulirwa okuyimiriza oba okuwaaba omusango oba n’esonga. Ensonga eyo y’ereetera omuntu oba abantu okunoonya obwenkanya mu kooti. Okugeza singa omuntu ayingirira ekibanja kyo bw’ogenda mu kooti okwekubira enduulu, bw’owaaba kino kyebayita okwerwanako. Engeri y’okuggulawo omusango Mu mbeera eyo waggulu, omuntu asobezeddwa, alina eddembe mu mateeka ? Awaaba bw’aba alina ku sente wa ddembe okufuna pulida n’amuyambako. Eri oyo atasobola ba pulinda ba nsimbi agenda mu maaso n’okukozesa ebibiina ? Ng’omusango tegunagulwawo, eyemulugunya amanyisa eyamusobya ku ? Omusango okuguggulawo, gujjuzibwa oyo, awaaba ?(empaaba). Eyemulugunya bw’aba tanaweza myaka 18, omusango guno guggulwawo nga ? guyitira mu muntu mukulu abeera afuuka ow’omukwano. Bino byebirina okuba mu mpaaba y’omusango ? Elinnya ekifo ki kyali, newa gy’ abeera (omuwaabi) ii. Elinnya nebinnyonyola oyo awawaabirwa negy’abeera singa iv. bisobola okufunika Ebizibiti n’obujjulizi ebiwandiike okubikwataganya n’empaaba v. 10 10 Esuula 10 95 Obwenkanya mu Bonna Ekiwandiiko ekiraga nti kkooti omusango mweguli erina vi. Kiki omuwaabi kyasaba kkooti ng’omusango guwedde. Byonna nga biwedde, abakungu ba kooti bagereka omuwendo gw’e ensimbi ? ogusaana era omuwaabi nagusasula Omukungu wa kkooti afulumya kibakuntumye eri oyo awawaabirwa nga ? kisobola okutwalibwa omuwaabi oba omuntu yenna kkooti gweba eronze. Omuwawaabirwa assa ekinkumu ku bakuntumye okukakasa nti ? y’amannyisibwa empapula ziddayo mu kooti netulinda. Engeri y’okuwaayo okwewozaako Eyewozaako talina kweyisa mu ngeri etajja ng’afunnye kibakuutumye. Bakuntumye sinsalawo ya kkooti naye essibwamu ekitiibwa ? Eyewozaako kiba kirungi okufuna pulinda n’amuyamba okuwaayo ? Omuwawaabirwa alina eddembe okutuukirira amuvunaana namusaba ? Okuwaayo okwewozaako, ku kolebwa obutasussa nnaku 15 ? Nga byonna biwedde okuwulira kati kuba kutandika ? Singa omuwawaabirwa taleeta kwewozaako kwe, kkooti egenda mu maaso ? Entuula nga kkooti tennawulira musango Zino zibeera ntuula za njawulo ku misango egiba giwaabiddwa mu kkooti ? Entuula zino zikubirizibwa omulamuzi nga zigezaako ku mulungula ebiba bisigalidde ng’olutuula lwa kkooti terunnabaawo. Wano wabaawo ebiwandiiko ebikkirizinganyizibwako era ne kiyamba okufuna ekifaananyi ekyawufu ku biki ebinaddirira ku njuyi zombi Kino kiyambye nnyo emisango mingi okukoma awo nga obwenkanya ? butuukirwako mu bwangu ng’ate sente zifulumiziddwa ntono. Ng’okuwulira kugenda mu maaso, omuwaabi annyonnyola ensonga bwekiba ? kyetaagisa n’omujjulizi we akola kye kimu. 96 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Mu bujjulizi, oludda olumu lubuuza ebibuuzo oludda olulala nga mulimu ? Abajjulizi bonna balina kubeera bweru nga kkooti egenda mu maaso okujjako ? Bwewabaawo oludda olukiikiriddwa puliida, ono asobola okubuuza ? abajjulizi benjuyi zombi ebibuuzo naye kikolebwa nga kisinga kiyamba ludda lwakiikirira. N’omulamuzi naye asobola okubuuza ng’anoonya okutangaazibwa. Ebyongabiweddewaddawookukubirangabuliawozaasabakkootiomusango ? Olunaku kkooti kweneeweera ensalawo yayo lulagwa ? Nga okusalawo Kwa kkooti okuli mu buwandiike kusomeddwa atamatidde ? Okussa mu nkola ebiragiro bya kkooti Ensalawo ya kkooti essibwamu ekitiibwa nti naye singa waba nga waliwo ? obutamatira, okujjulira kukolebwa mangu ne’kkooti nesabibwa okugira nga elinda okussa mu nkola ebiragiro byayo. Waliwon’omukisagw’okwogeraganyaerienjuyizombikungeriabasingiddwa ? gye bagenda okutukiriza ebiragiro bya kkooti. Singa tekiba bwe kityo, kkooti ewa ekiragiro ky’okussa mu nkola ? Kinokikolebwangababowaebintuby’asingiddwa.Singaabatalinayeyennyini ? y’aggalirwa nga ayasinze ya’sasula Bino bikolebwa ba wannyondo ba kkooti okusobola okusissa mu nkola ? ebiragiro mu mateeka, misana, munnaku ne ssaawa za kukola Bano babowa buli kintu nga ojjeko ebyeyambambisibwa mu bulamu ? bwo’muntu obwabuljjo, gamba, obuliri, engoye nebirala ebiringa ebyo. Emirundi egisinga bawerekerwako abaserikale okwewala okukola effujjo. Yenna atabulatabula emirimu gyaba kkooti Wannyondo aba azzizza musango ? Ba Wannyondo bano babowa ebyo byokka ebyabalagirwa ? Ne ba Wannyondo bano singa beeyisa mu ngeri etalimu, bavunaanwa ? Esuula 10 97 Obwenkanya mu Bonna Okuwaabira gavumenti n’ebitongole byayo Gavumenti ya Uganda nga omuntu ssekinoomu, esobola okuwaawabirwa era ? Naye okugiwaabira, walina okubaawo okutegezebwako mu nnaku 45 nga okuwulira omusango tekunabeerawo. Okuwaaba kuno kuyita wa Ssebawolereza wa Gavumenti ? Ebitongole byayo by’ebyo naddala mwerina omukono omunene okugeza ? ekitongole ekisolooza emisolo Ebbanga eggere Waliwo ekiseera ekigere emisango mwegirina okuwawaabirwa. Era kisinzira ku ani awawaabirwa, okugeza, Gavumenti yonna, kitongole ? Emisango emirala nga tegiri ku gavenmenti buterevu, okungeza okulebula, ? obutatuukiriza bweyamu, ebyo bisobola okuwaabwa mubbanga lya myaka 6. Emisango gy’ettaka gyo gitwala emyaka 12. Enkola egobererwa mu kkooti ento Enkola eno eyawukanamu katono ne’yo mu kkooti endala. Omuntu ayagala okuwaaba naye nga talina pulinda asobola okuwaayo ? okwemulugunya kwe mubuwandiike oba nedda. Omuwawaabirwa ategeezebwa n’afuna nebakuuntumye ? Enjuyi zombi zisobola okusaba kkooti eyite abajjulizi ? Ngaokuwuliratekunnabaawo,omulamuziasobolaokubuuzaomuwawaabirwa ? Bwebiba nga azikkiriza waddembe okuwa ensalaye awo. Mu kuwulira era omuwaabi y’asooka olwo n’omujjulizi we naddako. Omuwawaabirwa alina eddembe okubuuza ebibuuzo omuwaabi n’omujjulizi ? Kkooti era nga esabiddwa oludda olumu, esobola okuyita abayambi babiri ? 98 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Obwenka Abayambi bano bakola ku misango gya ttaka, bufumbo n’eby’obuwangwa ? Omulamuzi awa ensalawo ye nga asinziira ku bujulizi obuleeteddwa. Oludda oluba terumatidde lusobola okujjulira mu kkooti ey’o mulamuzi ? 99 Obwenkanya mu Bonna Esuula 11 Kkooti za Gavumenti Ez’ebitundu (L.Cs) Enyanjula Kkootizagavumentiez’ebitundu(L.Cs)zekkootiezassibwawoetteekaeryabangawo kkooti zino. Zibeera ku kyalo, omuluka, amagombolola, obubuga, n’ebibibuga ebinene mwiziri mu mitendera esatu(3); nga yesooka ya kyalo L.C I, eyokubiri ya muluka L.C II ne yokusatu ya Ggombolola L.C.III. Teri kkooti ku ssaza L.C IV ne ku District L.C V. Kkooti zino zikubirizibwa abantu ne bwebaba nga si bannamateeka. Yadde nga ekyo kiri bwe kityo, kkooti zino zisuubirwa mu kussa obwenkanya ? gamba nga obwenkanya obw’obutonde era obw’obuntu. Mu ku wulira ensonga eziva mu by’obuwangwa, ekkooti zino zirina okuba ? n’obwegendereza; anti ssemateeka akugira enkola yonna ey’obuwangwa enyigiriza oba eyawulayawula mu bantu nga yesigama ku kikula, ensinza, ekika, oluse, obuvo, olubu, oludda mu by’obufuzi oba obuteeyinza. Mu kkooti zonna eza L.C’s, eya L.C.I y’erina enkizo mu kusalawo okusooka. Kino kitegeza nti yenna aba asazeewo okweyambisa kkooti za L.C’s zino, alina ? II ne L.C .III, kkooti zaazo za kujuliramu kwokka. Abasoowaganye, oludda olumu bwe lutamatira na nsalawo ya L.C. y’emu mu kkooti eno eya L.C II nti atamatidde ajulira mu kkooti ya L.C. Singa era oli aba nga simumativu ne kkooti ya L.C II, wa ddembe okujjulira mu ? Kkooti ya L.C III y’erina enkizo mukusalawo ku nsonga z’ebibanja. 11 11 100 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Abatuula mu kkooti Kkooti zino ez’okubyalo obaku miruka, zituulwako bonna abakakiiko ? Kkooti ezomu bibuga n’amagombolola, zituulwako abantu bataano naye nga ? babiri ku bbo, bakyala ababa balondeddwa akakiiko ako. Kigwanidde nti nga kkooti tenatuula okulaba nga abatuulako abeetaagisa ? Ku kkooti y’ekyalo oba omuluka, wakiri abatuulako bataano babeerewo nga ? Ku kkooti z’ebibuga ebitono aba amagombolola, omuwendo ogwessalira ? gwandibadde basatu nga omu ku bo mukyala. Omuwendo ogwessalira gulina okukuumibwa mu ntuula zonna. tekisobose, olutuula lusazibwamu newategekwayo olulala. Entuula za kkooti zakukubirizibwanga ssentebe. Bw’aba ssentebe taliiwo, omumyuka we akubirize. Obuyinza bw’okusala emisango mu kkooti za LC. Kkooti zino, zirina obuyinza okuwulira n’okusalawo ku misango emitono ? Tezirina buyinza kuwulira misango minene (Criminal cases) okujjako egyokumenya amateeka n’enkola by’ekitundu. Kkooti zino zirina obuyinza okuwulira emisango gyonna egikwatibwako oba okuzingiramu abaana. Kkooti zino zirina obuyinza okwanganga ensonga zino:- ? Emisango emitono egy’engassi egifugibwa ennyo eby’obuwangwa; vii. okugeza; ebibanja, eby’abakyala, obuzadde ku kika, obusika n’okwesigangana okuva mu buwangwa (emikago). Ensonga zonna ezimenyeddwa waggulu, kkooti ya L.C erina okukola ku ? nsonga nga tezisussa 2,000,000/= ko akawaayilo akasembyeyo tekaliiko muwendo gwa ssalira gw’erina okukomako. Esuula 11 101 Obwenkanya mu Bonna Kkootiza L.Cerazirinaobuyinzaokuwuliraensongaz’obumenyibwamateeka ? Kkooti zino zirina obuyinza okuwuliriza ensonga z’ettaka. Kkooti zino zirina obuyinza okuwulira egikwata ku baana abateeberezebwa; ? okulwaana mu lujuude, okubba, okusaalimbira awantu n’okwonona ebintu ko n’okutuusa obuvenne. Kkooti eno bw’eweesa engassi esussa 500,000/=, ensonga zirina okutwalibwa ? ew’omulamuzi omukulu okuzitereeza mu nkola. Entuula za kkooti nga tezinabaawo Ensonga zonna zirina okuteekebwa mu fayilo ya kkooti ya L.C. omuwawaabirwa gy’abeera oba okwemulugunya gyekwazzibwa. Ensonga zitandikira mu kutegeeza ssentebe oba okumuwandiikira nga ? Okwemulugunya kuno ku ssibwako emikono wakati wa Ssetebe ? Okwemulugunya bwekuba nga kwogere bwogezi (Oral) kulina okuteekebwa ? mu buwaandiike nekugendako enkiinkumu ky’eyemulugunya ne ssentebe. Ssentebe atereeza okwemulugunya, ategeeza omuwawaabirwa. Ssentebe ategeka olunaku lw’okuwulirirako omusango ? (Okwemulugunya) era n’ategeeza naba kakiiko bonna. Bannamateeka tebakkirizibwa kukiikirira muntu yenna mu kkooti zino ? okujjako nga waliwo obumenyi bw’amateeka n’enkola z’ebintundu. Okuwulira omusango Kkootiya L.Cngaterunatandikakuwulirabujulizibwonna,wayinzaokuvaayo ? Singa okuwakanyizibwa kuno kubaawo okuva ku ludda lwonna, kkooti erina kusooka kuwuliriza okwo. Okugeza, omuwaabirwa ayinza okwemulugunya nti kkooti ya L.C terina buyinza kuwulira musango gwe oba nti omu ku batuula ku kkooti eno alimu kyekubiira. Kkooti bwekkiriza esalawo okugeza nti omusango guweerezebwa mu ? esingawo eyina obuyinza era nga terina kyekubiira. Bwewaba nga tewali kwemulugunya kwona, kkooti egenda mu maaso no ? Olulimi olunakozesebwanga mu kkooti lwe lwo olusinga okutegerwa abakiise ? 102 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Oludda olumu mu musango singa luba terutegeera lulimi, omutaputa oyinza ? Mu mbeera eno, kkooti ejja kumanyisibwanga ku kyetaago kino. Kkooti za L.C tezigoberera nkola nabukugu ng’obwo obwa kkooti eza bulijjo ? n’olwekyo zitandika mangu era zimaliriza mangu. Kkooti ya L.C erina okukakasa nti obwenkanya bubaawo. okuba n’omukisa okwetegeka ate n’okuba n’abajjulizi. Omu ku batuula mu kkooti eno, singa ab’alina oluganda ku lumu ku njuyi ? Omuntu oyo taatuulenga mu nsonga ezo okwewala obutakanya. Enkwata y’ensonga z’okumenya amateeka g’ekitundu Mu nsonga z’okumenya amayeeka g’ekitundu, omuntu yenna ng’ategeera ? bulungi era ng’asobola okukiraba nti waliwo ekikyamye, asobola okwemulugunya era okwemulugunya kuno ne kuteekebwa mu buwandiike nga kuliko omukono gwe. Ssentebe oba omuwandiisi wa kugulangawo omusango mubutongole. empaaba y’omusango guno erina okulaga, eyemulugunyizibwako, ekiseera, ekifo n’ekimuvunaanibwa. Empaaba esomwa era n’etekebwako emikono; eyemulugunya ne ssentebe. Bakuntumye ewaabwa gwekikwatako mu buntu. Gwekikwataako bwaba tafunise, kkooti ewa olukusa bagiwa omuntu ? omukulu yenna ali awaka oba gwasula naye oba bakuntumye okugissa wonna wasobola okugirabira. Omujulizi naye ayitibwa mu kkooti ng’aweerezebwa bakuntumye oba ? Omujulizi asobola okuleeta ebiwandiiko ebikwata ku nsonga z’omusango ? Kkooti etuula mu kifo ekyetadde nga abatuuze basobola okuwulira ebigenda ? mu maaso, kino kisoboka okuba wansi w’omuti oba mu nnyumba mubudde obwemisana. Mu ngeri ey’enjawulo, kkooti esobola okuyimiriza abatuuze okuyingira. Esuula 11 103 Obwenkanya mu Bonna Okusalawo Etteeka lirambika nti okusalawo kubaawo oluvannyuma lw’okukkaanya oba ? Bwewaba nga waliwo obutakkaanya, olwo akalulu kakubwa nga abasinga ? Bwewabawo okukuba a kalulu, ssentebe akuba ng’ataggulula enjuyi ebbiri ? Ssentebe ajja kubanga nakalulu k’enkizo mukulippulula. Ebiwandiiko bya kkooti Kkooti za L.C zirina okukuuma ebiwandiiko okusobola okukuuma ? Bwewaba nga waliwo okujjulira, ebiwandiiko bino biyamba kkooti eza waggulu okufuna ekifaananyi ku ngeri ebintu gye byagendamu. Okusalawo okuvannyuma ne ddi lwekwaliwo viii. Ensala Kkooti ng’emaze okuwa ensala yaayo n’okuggalawo omusango, ate tesobola ? Kuba kati emikono gyayo giba gimaze okwesiba era ensonga ziba zijulidde. Embeera eno okubeerawo, bino birina kubaawo: Enjuyi zombi nga zezimu ne mu gwasooka i. Abantu abapya nga berimbise mu njuyi ebbiri ezinenengana. Mu mbeera ng’eno, kkooti teddamu kuwulira musango. singaab’omuliraanobafunaobutakkaanyakuby’ekibanja,kkootibw’esalawo, ate abaana tebasobola ku leeta musango mu kkooti y’emu. Embeera bw’eba bw’etyo, kkooti tesobola kuwulira musango nate. 104 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Ebibonerezo kkooti ya L.C by’ewa Ensala bw’ekolebwa, oyo aba asinze omusango, asuubira kkooti okuwa ekibonerezo ekigwanidde. Kkooti ewagira okutabagana n’okusonyiwagana. Kkooti erina okulangirira omuwanguzi ku nsonga. Okugeza, bwewabaawo obutategeeragana ku nsonga z’ekibanja, omutuufu yabalina okulangirirwa. Kuno kuzingiramu n’okuddaabiriza ebyayonooneka, obuvune. Kisoboka okuba mu nsimbi oba ekikalu, okugeza, singa ente erya ebirime, ekikalu oba sente kisobola okukozesebwa mukuliwa. kino kibeerawo nga waliwo eyabba oba eyatwala ekitali kikye. Era kikola ne mu kuzza omuntu mumbeera eyasooka nga tanafuna bisago oba buvune. Kino kikolebwa ku muntu singa aba nga yali abanja. – Kino kisinga kukozesebwa ku muntu nga yamenya amateeka n’enkola y’ekitundu. Kkooti emusasuza engassi oba ekibonerezo ekirala kyonna okusinziira ku mateeka g’ekilundu. Okubowa n’okutunda Okubowa n’okutunda kyekintu ekisembayo kkooti yonna ky’erina okukola ? bwekiba nti abanjibwa alemeddwa okugendera ku nsalawo ya kkooti. Nga bino byonna tebinnabaawo, waliwo emitendera egigobererwa. Eby’okubowa bwebiba nga bya abanjibwa nga kuliko ate n’omuntu omulala; ? Abanjibwa bw’aba ne beyegatta nabo mu byebakola, b’ali nabo i. Ebintu ebiri mu kitongole, biboyebwa singa ekitongole kyennyini ii. Abanjibwa alina okutegeezebwa era ne yewozaako ku lwaki alemereddwa ? Okubowa, kukolebwa nga ennaku z’abanjibwa ziweddeko. Kino bwekituukirizibwa, kkooti efulumya ekiwandiiko ky’okubowa. Esuula 11 105 Obwenkanya mu Bonna Anabowa era n’okutunda alondebwa. Okubowa nga ku wedde, kkooti etegeezebwa, bw’aba yatunda oba nedda n’ekirambika. Obutunzi bw’ebiboyeddwa mu bulambulukufu bya ku wannyondo. N’olwe’ekyo, abantu bonna balina okumanyisibwa era ne basaba okugula. Ab’akakiiko akafuzi ku L.C n’abo bekikutteko mu buguzi buno, tebasaana kwetaba mu buguzi. Ng’obutunzi n’obuguzi biwadde, akoze omulimu ogwo asasulwa. Abanja bw’amala okusasulwa okusinziira ku nteekateeka ya kkooti, enffikira ? Okujjulira Okwemulugunyakusookeramukkootiya L.CI,nayesingaomuabatamatidde ? n’ensalawo ya kkooti eno, waddembe okujjulira mu zigiri waggulu. Okujjulira kusobola okuva ew’omulamuzi ow’eddala erisooka nga kudda ? Mumbeera eno omulamuzi ono akkiriza okujjulira kuno singa ensonga za mateeka. Okujjulira okw’engeri eno, kukolebwa mu bbanga ggere nga ennaku zo ? ziyiseewo okuva omulamuzi lweyawa ensalaye oba lweyagaana enakku 14 Okujjulira mu kkooti eno, waweebwayo ekiwandiiko ekisaba okweyimirira. Ekiwandiiko kino kubaako omukono gw’oyo ajulidde. 106 Obwenkanya mu Bonna Esuula12 Minisitule y’Eby’obulamuzi n’Ensonga za Ssemateeka Endagiriro Ministry of Justice and Constitutional Affairs Queen’s Chambers Plot 1-5 Parliament Avenue (Okuliraana Farmers’ House P.O. Box 7183, Kampala Tel: +256-414-230538 Fax: +256-414-254829 Website: www.justice.go.ug E-mail: mojca@africaonline.co.ug Ennyanjula Kino ky’ekitongole kya gavumenti ekirambika enkola y’amateeka eri eggwanga. Era kiyamba enteekateeka zonna eziri mu mateeka, enzidukanya, n’entaputa ya ssemateeka n’amateeka amalala Minisitule elina ebitongole ebiwerako era nga buli kimu kirimu obukulembeze bwakyo obwetongodde. Ekitongole ky’emisango egy’engassi, ekitongole ekibaga amateeka ne EKITONGOLE KYA Ssabalungamya Ssabalungamya W’ebintu (Maali) Byabafu Endagiriro 4th and 5th Floor Amamu House Plot 5 George Street P.O. Box 7183, Kampala Tel: +256-414-235915 12 12 Esuula 12 107 Obwenkanya mu Bonna Ennyanjula Omulimu omukulu ogwa Ssabalungamya gwe gw’okulabirira emmaali yabafu , abafudde nga tebalaamye oba nga ba laamye naye nga waliwo obutakkanya mu ndabirira oba mu ngabana ebintu by’omufu. Ekitongole kirina woofisi mu Kampala naye enteekateka weeziri okufuna woofisi mu bitundu ebirala. Naye woofisi y’akulira abakozi ku District elina obuvunanyizibwa obutonotono ku nsonga zino ku lwa omulabirizi omukulu. Emirimu emikulu egya Ssabalungamya ono Mukutuukiriza emirimu gye emikulu,bino byebikolebwa-: Okuteekateeka empaba erimu mateeka mu kooti eri abalyake ? n’abalabbayi,bbanakigwanyizi n’eri abalala mu kununula emmaali y’omufu okuva mumikono emikyamu. Okugabanya emmaali y’omufu okuva eri abantu abatuufu era n’okuggalawo ? Okukuuma n’okulabiirira emmaali y’abato nga ekyali mu mikono gy’abakuza ? Okuwabula mu mateeka n’okugonjoola enjawukana. Okufulumya ebbaluwa entongole eri abo abateekateeka okugenda mu kooti ? Okulabirira eby’obugagga nga waliwo ekilaamo Kimanyiddwa nti tewali n’omu akilizibwa okwegajanga mu bintu by’omufu mpozi nga alina obuyinza okuva mu kooti. Okulabirira oba okugabanya ebintu by’omufu ng’okusinziira ku kiraamo ? kwebayita okulaama Ekiraamo kiwandiiko ekiraga ebintu nga omufu bweyabyagala okuba. Kibaako omukono gwakikoze era nga waliwo abajjulizi nga babiri abasussa emyaka 21 iii. 108 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Mu mateeka waliwo enjawulo wakati mungabanya y’ebintu by’abafudde ? Eri alaama, olukusa lujjibwa mu kkooti bw’eba ng’esabiddwa nga waliwo ? Etteeka lisaba nti endowooza y’omufu etuukirizibwe okujjako nga kiraamo ? waliwo obatali benkanya mungabanya; Okugeza singa ekiraamo tekyogera ku mukyala oba omwami w’omufu, omwana, oba abaamuli kulusegere nga y’abalabirira. Awo oyo alekeddwa ebweeru, waddembe okwekubira enduulu eri kkooti afune obwekanya. Abo abogerwako mukiraaamo bafuna obuyinza okulabirira emmaaali eno. Enkola mw’oyita okukkirizibwa okugabanya Ono asaba kkooti okuba n’obuyinza obw’okulabirira n’okugabanya emmaali ? y’omufubw’abangaekiraamokikyogerako,abateyeetaagakufunakiwandiika kirala kuvawa SSababalabirizi. Ono afuna ekiwandiiko ekikakasa enfa y’omugenzi,ky’ateeka kukiraamo, ? Bino byonna birangwa mu lupapula lw’amawulire olusinga mu kitundu. Oluvanyuma lwa essabbiti biri, oyo asaba yeyanjula eri omuwandiisi wa kkooti oba omulaamuzi. Singa wasangiibwawo mu kkooti ekiwandiiko kyenvumbo, bikyuuka. Bwe kitaba kyo, olwo kkooti y’omulamuzi emukakasa. Awatali ddaame Embeera eno nga tewali ddaame, lirambika engeri emmaali gy’etuukamu mumikono gyabannyiniyo. Oyo ayagala okufuna olukusa alabirire oba agabanye emmaali y’omufu, asaba ? Bano wamanga basobola okuwaayo okusaba kwabwe- ? Omuntu oba abantu abalina oluganda mu musaayi oba mu bufumbo eri ku Nanwandu oba Ssemwandu oba oyo asuubirwa okutwala ekinene. Abanja omufu asobola okusaba olukusa singa bali waggulu tebafuddeeyo. Etteeka lino lirambika n’ensengeka y’engabanya.Okugeza, Namwandu oba ? Ssemwandu afuna 15%, abaana 75% babadde alabirira 9% n’omusika 1% Etteeka lino lirambika era baani abasaana okufuna n’abatasaanye;ani ? asaannye okuyitibwa omusika oba ne ani asaanye okuyitibwa Namwandu oba mulekwa. Ow’oluganda afuna ku by’omugenzi okugeza; Namwandu oba ssemwandu, ? omwana ali wansi wa 18; omuzadde, mwanyina, omuzzukulu omufu gw’abadde alabirira. Namwandu oba Ssemwandu ayinza obutagabana ku mmaali y’omufu singa ? baba baali baayawukana dda mu bbanga lya mwaka ng’ebiri so nga n’ensonga tematiza. Etteeka likugira okugabana awaka n’ebyomunju singa okugeza awaka waliwo ? Enkola mw’oyita okufuna obuyinza obw’okulabirira Enk ? ola eno esookera mukusaba buyinza bwa kulabirira. Nga tewali ddaame, Ssabalungamya on abikirwa. waliwo empapula ezijjuzibwa okuva mu woofisi ya Ssabalungamya. Okubika kuno, kugoberera ekiwandiiko ekiraga enfa y’omugenzi ebbaluwa ? okuva ewa LCI gyeyabeeranga oba gyeyaziikwa. Bwebaba nga ababika baagala kuddukanya/kulabirira bintu bya mufu, balina ? okwongerako okusaba ebbaluwa ejjawo emiziziko. Namwandu /Ssemwandu bo tebeetaaga bbaluwa eno. Oluvannyuma lw’okumatizibwa Ssabalungamya, ebbaluwa zigenda mu ? Ebbaluwa esaaba ewandiikibwa mu lungereza nga eranga ddi, neewa okufiirwa ? gye kkwabasanga, eraga obusobozi bwasaba n’emmaali eggenda okulabirirwa obuzito bwayo mu Sente. Ebigenda mu maaso birangirirwa mu lupapula lw’amawulire oluganzi. Oluvanyuma lw’enakku 14 byonna bigwera mu kkooti . 110 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Emirimu gy’akiikirira amateeka Olukusa nga lufuniddwa, omulabirizi akunganya emmaali y’omufu,asasula amabanja n’ebirala era mulimu-; Okwabya olumbe bwekiba nga omufu yaleka ebimala. Okutegeka byonna omufu byeyaleka, amabanja mu myezi 6. Omulungamya ono aba afuuse omukiise ow’ekyama eri ebintu by’omufu era ? Ono aba n’obuyinza obujjuvu mu kusalawo ku bintu by’omufu. Ono asobola okuwaaba oba okuwawaabirwa ku lw’omufu. Singa omulungamya ono ayonoona oba abuza ebintu by’omufu oba ? Mumbeera zonna omulungamya ono alina obuyinza okweyambisa ? ensimbi eziva mu bintu by’omufu ku lw’obulungi bw’emmaali yonna n’agiganyulwamu. Obuyinza bwa Ssabalungamya nga tanabuseeseetulako Alina obuyinza okulabirira ebintu by’abafu mu Uganda ebitasusa ? Ssabalungamya asobola okuwamba era n’okulabirira buttereevu emmaali ? y’omugenzi singa amanyi nti eyinza okunyagibwa oba okwonoone ka n’okubula. Asobola okuvuunaana omuntu yenna nga tayise kkooti ku lw’ebintu ? Omuntu yenna ayali akolagana n’omugenzi mu by’amaguzi oba eby’enfuna ? bwatabiragaewa Ssabalungamya,musango.Okusinziirakubyonnabyetulabye waggulu,buli yenna aweza emyaka 21 yandibadde alaama. Amakulu g’ebigambo namwandu ne ssemwandu Wano wateekwa okubaawo obufumbo obukakasibwa mu mateeka okuba ? Okubeera mwembi okumala ebbanga eggwanvu nga era mulina ? Esuula 12 111 Obwenkanya mu Bonna N’olwekyo omuntu okuyitibwa Nnamwandu oba Ssemwandu, obufumbo ? bwabwe buba bwali mu erimu ku tturuba lino; Engeri z’obufumbo mu Uganda Bwangeri 5 obukakasibwa etteeka mu Uganda. Obw’ekitala ne CAO oba n’omuwandiisi w’obufumbo. Obw’obuwangwa (nga okwanjulwa kwakolebwa). Obw’eki Hindu (kiyindi)/ Amakulu gw’omwana y’ani? Ono ye muntu azaaliddwa ebweru w’obufumbo oba mu bufumbo, era n’oyo akuziddwa ng’omwana eri omufumbo.Bino byonna mu mateeka baba baana batwalibwa kyenkanyi mu ddaame kunsonga z’okufuna. Ekitongole Ky’emisango Egy’engassi Ennyanjula Ekitongole kino mu by’ensonga y’obulamuzi, kino kyekikwatagana n’ensonga z’emisango gy’engassi bwegiba nga giyingizaamu gavumenti. Okusinziira mu mateeka gavumenti ewaaba era ewawaabirwa mu misango gy’engassi. Oba nga nsonga za Ssemateeka.Era gavumenti esobola okwemulugunya eri yenna aba atyobodde oba okulinyirira eddembe lyayo. Okuwaabira kwonna okwa gavumenti kulina kuyita eri ssabawolereza wa gavumenti. Kale nno ensonga zonna Ssabawolereza wa gavumenti tazikwatako mu buntu wabula byonna bikolebwako ekitongole kino. Emirimu gyakyo Kifuna okumanyisibwa nga gavumenti bw’egenda okuwawaabirwa era ? 112 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Okukwataganya n’emisango gya gavumenti n’ebitongole byomu kkooti ? Okulwanirira emisango gya Ssemateekako n’okulonda nga gyemulugunyiza ? Okukiikirira gavumenti mu ntuula za kkooti ne mu kakiiko g’eddembe ? Okufuna ko no kukola ku by’engaassi nga gavumenti ye ? Okwogeranganyiza wabweru wa kkooti ensonga ezidda ku gavumenti. Okuwabula Ssabawolereza wa gavumenti ku nsonga zonna ez’emisango ? egy’engassi ku gavumenti n’ebitongole byayo Ekitongole Ekibaga Amateeka Ennyanjula Obuyinza obw’okubanga amateeka buva wano; i. Omubaka w’olukiiko lw’eggwanga olukulu nga aleese ekiteeso. Akakiiko akamu mu lukiiko olwawamu olw’eggwanga nga kasabye. Mulimu gwa lukiiko lw’eggwanga olukulu okukola amateeka. Emirimu gy’ekitongole kino Okufuna era n’okukolera ku biragiro okuva mu lukiiko lwa ba minisita ? Okutegekera olukiiko lwa ba minisita n’okubajjukiza amateeka amapya agali ? Okubaga etteeka lya Ssekinoomu liwerezebwe mu lukiiko lw’eggwanga (Bba ? Okubaga ebikoleddwako,okumanyisa mu mateeka n’ebyo bba enkiiko ? Okubaga amateeka ga gavumenti z’ebitundu n’enkola. Okulambika n’okunnyonnyola muntaputa etteeka eririwo oba eryo erijja. Esuula 12 113 Obwenkanya mu Bonna Akakiiko k’eby’amateeka Kano ke kakiiko akali mu Minisitule eno nga kaliwo kulabirira ba puliida ba Uganda. Ke kekennenya enneeyisa eyekikugu eya ba puliida mu Uganda. Omulamuzi wa kkooti enkulu era nga yemukulu waako ii. Omukulu w’ekibiina kya bannamateeka iii. Ssenkulu w’ebbanguliro lya bannamateeka iv. Ssenkulu w’ettabi lya bannamateeka e Makerere v. Puliida babiri abalondeddwa ekibiina kya bannamateeka vi. Omukungu omu omukugu mu by’amateeka ng’akolera mu gavumenti era ng’alondeddwa Ssabawolereza waayo. Omukulu w’akakiiko kano n’abakatuulako mu no. i, v, ne vi bakatuulako okumala emyaka 3 n’oluvannyuma balondebwa bugya Emirimo gyaako i. Obulamuzi obwannamaddala n’okulugamya okutendekwa okwekikungu mubya mateeka wonna mu Uganda. Okukakasa amasomo era n’okuwa embera esobozesa ebigezo ebikakasa mu nsonga zino. Okuwabula n’okusemba eri gavumenti ku nsonga ezekuusa ku bukugu bwa ba puliida. Okukwasisa empisa ba puliida n’abayambi baabwe. Okulabirira n’okulungamya akawaayiro k’obuyambi mu by’amateeka n’okkuwabulwa oba ababa tebasobola kusasulira ba puliida abekozesa bokka. Mu kuddukanya emirimu gyako akakiiko kano kalina obuyinza okuvunaana puliida yenna agookera mu neeyisa yab we egwanidde. Eri yenna alina okwemulugunya kwe eri puliida yenna, waddembe okutuukirira akakiiko kano. 114 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Akakwasisa empisa Mu nkola yako kano era ke kakwasisa empisa. unya eri Puliida kulina kuba mu buwandiike nga kwolekezeddwa omuwandiisi w’akakiiko k’ey’amateeeka. Eyemulugunya assaako omukono oba ekinkumu. Akakiiko kasobola okuwuliriza okwemulugunya okutali kuwandiike. Akakiiko katuula mu nsonga nga kalaba oba ddala Puliida yamenya etteeka ? Bwekiba bwekityo ensonga zeyongerayo n’obujjulizi obumala. Akakiiko bwekasalawo okuwuliriza ensonga zino, kawa olunaku ? Singa eyemulugunya aba alina ebiwandiiko ebiyamba mubujulizibwe,kino ? akikola ng’abuweereza mu nnaku 14 emabega. Akakiiko kalina puliida waako ayamba abemulugunya. Puliida naye akiikirirwa Puliida munne gw’aba ayagadde. Singa omu ku bali mu nsonga zino alemererwa okubaawo akakiiko kagenda ? Oluvanyuma lw’okuwulira ensonga, akakiiko katuuka ku kusalawo nga ? Ebiragiro ebiyinza okuvaamu Akakiiko kano kasobola okuwa bino singa kasanga nga Puliida gumusinze. Okuwanduukulula okuva ku lukalala lwaba Puliida. Yenna eyemulugunya nga tamatidde nansalawo n’ebiragiro by’akakiiko, eyemulugunya okujjulira mu kkooti enkulu mu banga lya nnaku 14. Esuula 12 115 Obwenkanya mu Bonna Ekitongole Ekiwabuzi mu by’Amateeka Emirimu gyakyo Omulimu omukulu kwe kuyamba mu by’amateeka eri Ssabawolereza wa gavumenti ne Ssabawaabi w’emisango gya gavumenti mu mirimu gyabwe egy’okuweereza gavumenti. Okuwabula n’okwebuuzibwako eri gavumenti, minisitulizi (ministries). Okukwata ensonga z’amateeka eza ssabawolereza ne ssabawaabi ba ? Okuyamba mu by’amateeka eri gavumenti n’ebitongole byayo. Okuwa entaputa y’amateeka munkola en’egobererwa ministries endala ? Okuteesa n’okubaga entegeeragana ku lwa gavumenti n’e bitongole byayo. Okukubiriza enteseganya n’okutegeka endagaano z’abakozi kulwa gavumenti ? Okwekwata emirimo egirimumateeka n’enteseganya awamu n’okutegeka ? endagaano z’obukozi bwa Ssabawolereza wa gavumenti ne Ssabawaabi w’emisango gya gavumenti Okuwayo ebyetagisa munteseganya mu ggwanga ne mumawanga amalala ? Okuwagira ebitongole n’obukiiko bwa gavumenti mu by’amateeka mu ? kutegeka endagaano z’abakozi n’enteseganya nga bweziba zetagisa Okuwa entaputa mumateeka, endagaano ezibazetagibwa abakozi ? 116 Obwenkanya mu Bonna Esuula 13 Ekitongole ky’Egwandisizo mu Uganda Enyanjula Nakino nakyo kitongole ekiri wansi wa ministule y’obulamuzi n’ebya ssematteka. Kino kimanyiddwa n’ensonga nga ekiwandiisi kya ma kampuni. Naye nno kirina bingi byekikola nga ojjeko byetubadde tumanyi. Era n’eggwandiisizo ly’ebibiina binnakyewa(NGO’S) Eggwandisizo Ly’amakampuni (Kampuni Kyeki?) Buno bwebusuubuzi obwawamu obuliwo mumateeka era nga bwetengeredde okuva ku bakozi n’ababubangawo. N’olwekyo kampuni esobola okuwaaba oba okuwawaabirwamumannyagagyo.Kinokikulunnyokuba,emmaaliya Ssekinoomu nga eyabangawo kampuni tesobola kusasulira mabanja ga kampuni. Ebika byamakampuni Ebika biri bibiri mu Uganda ebiwandiisibwa. 13 13 Esuula 13 117 Obwenkanya mu Bonna Kampuni ey’emigambo Eno ye kampuni etandika ng’amaanyi egajja mu kuba nandikwa mu by’ensimbi. Singa wabaawo kampuni egwa olwa mabanja nga era tesobola emigabo ? Naye bananyini migabo abatabanyiibwa ,bo ate tebasasula. Kampuni ey’abantu Eno ye kampuni etandikira ku bungi bwabantu n’ekiweebwayo kya bannakibiina oba abagabirizi b’obuyambi. Mu kampuni efunnamu nga eno bannanyiniyo bakkanya ku mutemwa ? ogulina okusasulwa singa eba n’amabanja nga tesobola kugasasula ate nga eggalawo. Kampuni ez’engeri nga eno tezitera kubeera ku mulamwa gw’amagoba; ? okugeza ezo ezo’bwamanakyewa(NGO’S) Okuwandiisa kampuni Abatandisi baayo bino byebakola. Okusaba mu buwandiike n’erinnya lyemwagala kampuni yamwe eyitibwe. Kino kiba kikugira abalala bonna okuwandiisa erinnya lyerimu mu banga lya mwezi 6 okuva ku lwo. (i) Okuwaayoebitabobisatuomulibyonnabyemwatuukakongamutandiika kampuni yamwe. (ii) Omuwendo gw’ensimbi kampuni gwe’suubira okufuna okuva mu kutunda emigambo. (iii) Ekilayiro okuva ewa Munnamateeka oba omuntu yenna nga ye mukulu oba omuwandiisi alina okulaga nti byonna bigobereddwa. Ebitabo bino bibagibwa era nebiterezebwa munnamateeka oba ageetegeera ? Mu kuwandiisa kampuni, omuwandiisi omukulu agaba ekiwandiiko ? kati wano kampuni eba abalibwa okuba mu mateeka. 118 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Oluvanyuma lwo’kwewandiisa Kampuni eba erina okutegeka ebiwandiiko bino: (i) Ekiraga ekifo kampuni eno w’egenda okukolera emirimu gyayo. Kino kikolebwa mu ssabiiti (weeks) bbiri. (ii) Ekiwandiiko ekirala ekiraga abagenda okuba bannanyini kampuni nga kikolebwa mu ssabiiti bbiri. (iii) Ekirala ekiraga ngabanya y’emigambo nga kikolebwa mu nnaku 6. Ebyetagisa kampuni okukola emirimu Emirimu gy’ekisuubuzi okusobola okukolebwa. egiwa olukussa okuva mu gavumenti ez’ebitundu, okugeza olukiiko lw’ekibuga. Eri abo abatali bibuga olukusa balufuna okuva ewa akulira abakozi ku ? distulikiti(CAO) Kampuni era elina okuggulawo entereka yayo mu `bank’ kino ne mubitabo ? Era kampuni eba erina okwewandiisa mu kitongole ekiwooza olw’ensonga ? Okufuga n’okulabirira kampuni , bikolebwa lukiiko lw’abakulembeze ne ? Abakulembeze baddukanya kampuni nga bayitamu lukiiko lwabwe, so nga ? bakatandisi(bakagibanga) bayita mu lukiiko lwawamu. Okulabilira okusembayo kuli mu lukiiko lwa bonna. Buli mulundi kampuni yandibadde wakiri erina omukulembeze omu ? Zo kampuni eza lukale, basinzeewo Buli mulundi kampuni lw’ekyusa abakulembeze bano, omuwandiisi omukulu ? owa makampuni alina okutegezebwako mu buwandiike. Ababanga kampuni baddembe okukyusa omukulembeze ono mu lukiiko lwa ? Ebisalibwawo mu lukiiko lwabonna biri mu biti bisatu, naye nga byonna ? Esuula 13 119 Obwenkanya mu Bonna Okuggalawo Mu kuwandiisibwa kampuni mu mateeka eba yemalirira okuva kubantandiisi ? okugeza; singa bonna abatandiisi baayo bafa, kampuni esigalawo mpaka nga evuddewo mu mateeka. Wano singa kampuni eba nga esazeewo bwetyo kye tuyita okuggalawo. Kampuni esobola okuggalawo singa eba esabiddwa bano: ? Ku kiragiro kya kkooti singa wabaawo embeera eno;. (i) Nga kampuni eyisizza okusalakwayo nti kooti egiggalewo. (ii) Okulemererwa okulaga enkola yayo ew’omuwaandiisi omukulu owa makampuni oba okutuuza enkiiko ze ssalira, Naye kino kisinga ku kwata ku kampuni eya lukale. Era n’omu ku batandisi baayo asobola okusaba kooti nga yesigama awo (iii) Singa kampuni tetandika mulimu gyayo mubbanga lya mwaka oba okuyimilizaamu ez’omwaka. (iv) Singa okiisa bakendeera nebakka wansi w’abalagiddwa mu mateeka, kwekugamba 2 ku kampuni eyabatono ne 7 ku ya lukale. (v) Singa kampuni eba mumabanja agagiremye okusasula. Eggwandiisizo ly’amannya amasuubuzi Nga ojjeko kampuni, waliwo ebibiina ng’ebyobweggasi byonna ebiwandiisibwa. Bwekiba nga Ssekinoomu ayagala oba nga begasse, basobola okuwandiisa ekintu kyabwe mu kyetuyise erinnya essuubuzi. Okugeza `kampala tuli bumu’ kiri mu mateeka nti amannya gano gawandiisibwa mu biti bino:. Erya Ssekinoomu- omuntu ayinza okusalawo ye n’atandika ekintu kye era ? nga yebyonna mu kyo- akiwandiisa Nga mwegasse ? Buno bwebusuubuzi wakati wabeggase ababiri oba ? okusingawo nga balina ekigendererwa kimu. 120 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Balina okubanga tebasukka 20. Obutafaanana kampuni, bano abegasse tebalina tteeka libassa wamu. Bano buli omu avunanyizibwa ku mabanja gekintu kyaabwe. Wano bawandiisa buwandiisa linnya Ssuubuzi. Okuwandiisa erinnya esuubuzi Asaba afuna empapula zajjuza okuva ewo’muwandiisi wa mannya ? Kino kibawo nga tonatandika kukola oba nga okozeeko ? (i) Erinnya ly’obusuubuzi (ii) Embeera y’obusuubuzi (iii) Ekifo aw’okusuubulira (iv) Ebirala ebikwata ku bayinza okuba mu kwegatta kuno. Enzirukanya y’obusuubuzi buno bwombi Okusobola okuddukanya eby’obusuubuzi buno , bino byetagisa:. (i) Ekiwandiiko ekitongole eky’olukusa lw’okusuubula. (ii) Okwewandiisa kunsonga z’ebyemisolo (iii) Okuggulawo eby’entereka mu `bank’ Eri abali mu busuubuzi nga beegasse mu bank bawaayo ebbaluwa zebafuna ? nga beewandiisa so nga abatewandiisa tebalina kyebatwalayo era omuntu omu yaba y’emalirira . Obusoobozi obwa ssekinoomu aba ye yemalirira mu byonna. Eggwandiisizo ly’obuzaale n’okufa Mu mateeka, buli kuzalibwa n’okufa biwandiikibwa. Bwewabaawo okuzaalibwa ebbaluwa efunnwa eyitibwa BIRTH ? CERTIFICATE sonemukufaeraendalaeyitibwa`DEATHCERTIFICATE’ nayo efunwa. Esuula 13 121 Obwenkanya mu Bonna Waliwo ebbaluwa zino bbiri ez’ekiseera ekimpi ate n’ekiwanvu. Woofisi ya Ssabawandiisi, ye yokka efulumya ebbaluwa ey’ekiseera ekiwanvu ? enkomeredde so nga woofisi endala zonna zifulumya za kuyita mulugya. Zino ebbaluwa , waliwo ebifo ebimu wezitakola ? Naye zino eza kiyita mulugya ziyamba nnyo mukufuna ez’enkomeredde. Okufuna ebbaluwa y’obuzaale Eno y’ebbaluwa entongole omuntu gyafuna oluzaalibwa era nga kiri mubuvunanyizibwa bw’abazadde okukikolera omwana wabwe. Nomuntu akuze, asobola okukyekolerako nagifuna muluvannyuma. Kirungi okuwandiisa omwana nga ya kazaalibwa. Waliwo empapula ezifunibwa era nezijjuzibwa okuva eri:. CAO, Town clerks, City Division woofisi,ne Gombolola Chiefs. Ebifo nga amalwaliro gatera okuwa ebbaluwa zino ezakiyita mulugya. Zino zezitwalibwa mu woofisi y’omuwandiisi okufuna ey’enkomeredde. Omugaso gw’ebbaluwa eno Eno ekakasa bino wammanga:. (i) Abazadde b’oyo ayogerwako mu bbaluwa. Kino kiyamba mu kkooti singa okugeza omusango gw’okujjula ebitagya (Defilement.) (iii) Obutuuze bw’omuntu. Kiyamba nnyo mu kufuna pasipoota n’ebiwandiiko ebirala mu kutambula. (iv) Omufu n’emyaka gyeyandimaze nti singa aba tatemuddwa. Kino kiyambako mukuliwa eri ab’olulyolwe. (v) Okumanya emyaka emitufu ku muntu nga obuvunaanyizibwa bulimu okumanya amyaka emituufu. (vi) Emyaka omuntu kwasana okuwummulira okuva mu mirimu gyagavumenti ko n’okuwummulira nga kuliko okusasula. 122 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Ebbaluwa y’okufa Eno ye bbaluwa entongole efulumizibwa omuwandiisi omukulu ow’ebyabafu okulaga nti ddala kituufu gundi yafa. Kino ekiwandiiko kyawufu kw’ekyo ekifunwa okuva mu ddwaliro okulaga omuntu enfa gy’a fuddemu. Wabula kino eky’eddwaliro kya mugaso nnyo mu kufuna kiri eky’enkomeredde. Ebbaluwa bbiri ezisobola okufunwa nga esooka eya `kiyita mulugya’ efunibwa okuva eri CAO , Gombolola Chiefs. Ebbaluwa eyokubiri yeyenkomeledde efunnwa okuva eri omuwandiisi mu kitongole kya gavumenti ekyo kwewandisa, Uganda Registration Services Bureau. Omugaso gw’ebbaluwa eno Yamugaso mu biti ebiwerako omuli:. (i) Okufuna ebbaluwa okuva ewa Ssabalungamya w’ebintu by’abafu nga onoonya obuyinza mu kulabirira n’okugabannya emmaali ye. (ii) Okusasulwa ogugeza okuva mu `kittavvu ky’abakozi NSSF. (iii) Okukakasa nti ddala omuntu gundi Nnamwandu, mulekwa wekiba kyetagisa. Si nsonga wa omuntu gya yitira, ebbaluwa efunika. Eddwaliro lifulumya ebbaluwa esobola okuyamba okufuna ? Waliwo endala era eyambako efunwa okuva ewa CAO, ne Gombolola Chief. Bw’aba nga omuntu yafiira mu ddwaliro naye nga temwafuna bbaluwa, omuntu asobola okufuna oku sembebwa kw’ebiwandiiko by’eddwaliro okukakasa okufuna eyenkomeredde. Bw’aba nga yafiira waka bino byebikolebwa. (i) Okujjuza empapula z’okwewandiisa kuno. Esuula 13 123 Obwenkanya mu Bonna (ii) Okussaako ebbaluwa ya L.C. 1 (Ssentebe) (iii) Okutwala empapula ew’e Ggombolola nga ziyungiddwako eza L.C. 1 Ssentebe okwongera okukakasa nti ddala omuntu yafa. (iv) Naye era n’eno ebbaluwa eva ku Ggombolola nayo yakiyita mulugya. (v) Empapulazonnaezijjuzibwaokufunaokuwandiisibwaokuvamu Uganda Registration Services Bureau zifunwa ng’osasudde mu bifo bino. Ministule y’ebyobulamuzi n’ensonga za Ssemateeka ? Omulimu gw’ekitongole kino mu kuwandiisa bannakyewa Ebibiina bino ebyobwannakyewa by’ebyo ebitakola magoba. Ekugeza FIDA- ekiyamba omuntu atasobola kupangisa puliida. Kino kiyinza okuwandiisibwa nga kampuni oba ekibiina kimuzzanganda. Buli kibiina kyandibadde kyekuumira elinya lyakyo mu kitongole kino. Ekibiina kyobwa nnakyewa kikola okusaba kwakyo nga kukiyisa mu ? National Board for NGO’s okusobola okwewandiisa. Bwekimala okwewandiisa n’okufuna ebbaluwa enkakasa `CERTIFICATE’ ? olwo ate ekibiina kirina okusaba okuwandiisibwa nga kampuni. Ssabawandiisi tasobola kuwandiika kibiina kino nga kampuni nga ? Okuwandisibwa kwonna kwetagisaayo ku nsimbi ezigerekebwa abakozi ? bekitongole, so nga waliwo okwewandiisa okutwaliramu Omusolo ogumanyiddwa nga ogw’ekinkumu `Stamp duty’. 124 Obwenkanya mu Bonna Esuula 14 Akakiiko Akazza Obuggya Amateeka mu Uganda Endagiriro Uganda Law Reform Commission 8th Flour, Workers House. Ennyanjula Akakiiko kano kassibwawo eteeka mu 1990, n’oluvannyuma Ssemateeka nalukakasa. Ebikola olukiiko luno Kakulirwa ssentebe n’abalutuulako 6 abalondebwa omukulembeze w’eggwanga ? nga olungamizibwa ssabawolereza wa gavumenti. Lukiremerako nti ssentebe alina okuba nebisanyizo ebimu ku bino: ? (i) Nga mulamuzi wa kooti enkulu oba ejulirwaamu; nga akyali oba eyawummula (ii) Nga asobola okuba nti ayina abisaanyizo ebimu beeza mu kkooti (iii) Nga munnamateeka omukugu, oba musomesa wa mateeka mu univasite eyengeri eyo Etteeka lyagala nga abakiise ababiri bo si bannamateeka naye nga balina ? obusobozi mu mirimu gy’olukiiko Ssentebe ye aba wankalakkalira so ng’abalala sibwebali. Emirimu gy’akakiiko Omulimu omukulu kwekwetegereza amateeka n’okugazza obugya ebbanga ? Kalina obuyinza okuwaayo eteeka okulizza obugya. 14 14 Esuula 14 125 Obwenkanya mu Bonna Kalina okufulumya ebiwandiike bulibbanga ebikwata ku mirimu gyalwo rea ? bino biweerezebwa mu lukiiko olukulu olw’eggwanga Mu kukola bino byonna, kagala kufuna bino: ? (i) Okusangulawo ddala ago agatakyagwanira. (ii) Okusangulawo obuwayilo obutakyatuukana n’amateeka. (v) Okufuula amateeka ga Uganda agali mu buwangwa ne nnono zaba na Uganda so ng’ate gatuukana n’omutindo gw’ensi yonna mu bye ddembe lyo omuntu. (vi) Okufuna enkola esingawo mu kulungamya amateeka n’obwenkanya. (vii) Okumenyamenya n’okuyunga amateeka g’eggwanga. Ebitongole ebigwa mu kakiiko kano Olukiiko lukola emirimu nga luyita mu bitongole 2 nga ye ekitongole ekizza obugya n’ekitongole ekyekennenya. Ekitongole ekyo’kuzza obugya amateeka Kino kikulembelwa ssenkulu wakyo kko n’omumumyuka we abakwata ganyizibwako obutereevu. Embeere z’abantu Omukungu mu mbeera z’abantu y’akulilira ekiti ekyo songa byo ebiti ebirala bikulirwa banamateeka abagundiivu. Kwetegereza mateeka okusigaza ago agasaanye. Kugonza mu kukyusa mu amateeka eri abagakozesa. Okwetegereza n’okuwabula ku ngeri y’okuzza obugya amateeka mu Uganda 126 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi iv. Okwekennenya embeera z’abantu n’amateeka agagya mu bantu. Okussa munkola amateeka g’ensiyona n’agekitundu Uganda geyamala edda okukakasa. Ekitongole ekyekennenya amateeka Kikulemberwa ssenkulu/kamisona waakyo n’omumyuka we. Kino kirina kwekennenya mateeka ga Uganda. Emirimu g’yekitongole kino Okulabirira n’okwekennenya amateeeka agaliwo nga galina okutuukana ? Okubeera n’ekifo eky’enkalakkalira nga kyankizo mu kufuula amateeka ga ? Okukasa nti amateeka gekennenyezebwa buli kadde ate buli mwaka abantu ? Ogumu ku byatuukibwako eby’enkukunala mu kitongole kino kwekuteekateeka n’okufulumya amateeka amalongoseemu 2000. Entereezaegwaniddeyakolebwakubintungaamannya,ebifookutuukana n’embeera ya Uganda. Amateeka gayongera okuba nga gakwatagana n’ekikula ky’abantu. Obusobi mu mpandiika ne munkozesa y’olulimi bya terezebwa. Akakiiko kati kafilimizza ennongosereza ya ssemateeka 2006 ? n’okulongoosa mu mateeka ga Uganda nga kafaayo ku nkyusakyusa mu mateeka naddala nga balongoosa ssemateeka wa 2005. Ekifo ky’abantu mu kuzza obuggya amateeka Akakiiko kawagira nnyo abantu bonna okwenyigira mu nnongosereza ? Esuula 14 127 Obwenkanya mu Bonna Nga bawagira amaloboozi agasemba wansi ,n’abantu okwenyigira mu nkola ? y’amateeka, olukiiko lujja kusobozesa Uganda okuba n’amateeka agalaga obuwangwa ne nnono banansi byebettanila. Katuuza enkiiko z’okwebuuza, kateekateeka emisomo okusobola okufuna ? ebirowoozo okuva mu bantu ku nsonga y’okuzza obugya amateeka. okuleeta ebiteeso ku bintundu ki ebigwanidde okuzza obugya. Mu bujjuvu okwetaba mu nkola y’amateeka okuva lwe kili nti bebakwatibwako mu kugakozesa. Okuwa ebirowoozo ku bifo ebigya awetaaga okkolerwa amateeka. Okugoberera oba okulondoola amateeka agaliwo n’okugassa mu nkola. 128 Obwenkanya mu Bonna Esuula 15 Ekitongole ky’Abavubuka n’Embeera z’Abaana Endagiriro Dept of Youth & Childrens Affarirs Simbamanyo House (Okumpi ne Central Police Station-CPS, Kampala) Plot 1 Lumumba Avenue. Tel/Fax 0414-347854 Ennyanjula Ekitongole ky’abavubuka n’embeera z’abaana, kimu ku ebyo ebiri mu minisutule y’abakozi, okusitula embeera n’ekikula ky’abantu. Edda kyali kimanyiddwa nga kalaabalaba wa ba kiwagi n’embeera zaabwe. Okulabirira kuno kuzingiramu okutunuulira eneeyisa y’abato bano naddala ababa basooka okufuuka bakiwagi. Kirabirira n’okukuuma abato mu Uganda abo abali mu mbeera eteri ayamba naddala nga amateeka gamenyebwa. Kinoekitongolekitambuzibwakalabalabawabakiwagionoasangibwakudisitulikiti. Era mu nkola y’emirimu, balambikibwa Ssemateeka n’etteeka ly’abaana. Emirimu gya Kalabalaba ono: Alina okufaayo ku bato bonna siku misango minene gyokka naye ne ku mbeera ? zaabwe ezabulijjo; nga zino wamanga: (i) Okulabikako mu kooti nga abaana batwaliddwaayo. (ii) Okunoonyereza ku bifa ku baana okusinzira ku kkooti. (iii) Okuwa ebizuuliddwa mu kunoonyereza kuno n’okibikugira. 15 15 Esuula 15 129 Obwenkanya mu Bonna (iv) Okulabirira bakalabaalaba abalala n’abaana baabwe. (v) Okulabirira abato bano ababa bayimbuddwa. (vi) Okunoonyereza wa bamulekwa gyebatwalibwa nga bavudde mu nju. (vii) Okulingiriza ebizuuliddwa ku baana era n’okufaayo okulaba nga bakuumibwa. Okunnyonyola abantu biki ebikwata ku baana n’enkuuma yabwe. Okussawo enkola y’okulabirira n’okukuuma abato. Okutabaganya ebibiina by’abannakyewa ebikwatagana n’embeera z’abaana ? Ebikulu mu mpozesa y’abato Ebikulu 5 bwebikwatagana n’ensonga eno (i) Okusaamu ekitiibwa eddembe ly’abato. (ii) Okumanyisa abantu ku buvunanyizibwa bwabwe eri abato. Obutayanguyiriza kutwala bato mu kkooti za lukale. Okulaga nti amaka ky’ekifo ekisukkulumu kukula kw’omuntu. Eddembe N’obuvunaayizibwa Ebyo’muto Ekitongole kyabaana kino, kirina okukuuma eddembe ly’abato. Ku lw’ekyo kirina okusomesa abantu ku ddembe lino, n’obuvunanyizibwa. Okulabirirwa okwannama ddala okuva mu bazadde n’abakuumi ii. 130 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi viii. Okutangirwa mu bibiina byabwe aby’okubabangula. Okugenda ku ssomero ate n’okuba omuwulize ii. Okuba n’empisa naddala eri abazadde n’abantu abakulu. Okwenyigira mu mirimu, awaka ku ssomero n’aweetagisa. Okuluganya omuto mu mateeka Omulimu omukulu ogwa kalabaalaba kuyamba bato nga bateeberezebwa oba ? Emisango giyinza okuba nga mitono nga okulwanalwana oba eminene gamba ? Mu ngeri esinga abato batera kwenyigira mu misango mitono n’olwekyo ? Bwebaba ab’okuggalirwa basaana okwawulwa ku bakulu, era nga abawala ? Enkola esaanye okugobererwa nga basalawo ku misango mu baana Waliwo enkola ezenjawulo nnyingi abato mwebasobolera okulamulwa. OKUTABAGANYA – Nampawengwa asobola okukola ogwo ? OKUTABAGANA – era omuntu y’omu aleetara enjuyi ? ebbiri ezisoowaganye okukkanya n’okusonyiwagana. OKUZZAWO – Bw’aba omuto nga yabbye oba nga ya yonoonye ebintu; ? azzawo ekyo kyennyini oba ekikifaanana oba ekikyenkana. OKULIWA – nakyo kikola nnyo singa muba nga Mulimuengassi. AKALIMU – omuto asobola okuweebwayo akalimu Akagya mu myaka ? Enkola eno yonna teyeetaaga kkooti oba police wabula batuuze. Esuula 15 131 Obwenkanya mu Bonna KKooti – yadde nga okutwala abato mu makooti y’emu ku ngeri ? y’okigonjolamu obuttakkanya kunjuyi ebbiri. Kino kisanye okukolebwa ku misango eminene atenga yengeri esembayo mu kuwa obwenkanya. Mu mbeera eno omubeeramu, okukwata, okuwozesa. Emisango gino giyingizibwamu abomumaka g’omuto. Okujjako nga omusango gwa kibonerezo kya kufa ogwo kooti nkulu yokka ? Ate era omuto bw’aba nga y’atabagana n’abakulu mu kimenya amateeka , ? kooti z’abakulu olwo zezisalawo, Enkwata y’omuto Omuto bw’azuulwa ng’amennye etteeka bino bikolebwa; Abazadde oba abamukuuma bateegeezebwa ? I amanyisibwa; anti yakola ku by’abato ku L.C.I ? Omuto ategeeza Puliisi ensonga nga bwe zaali mu maaso ga L.C.I ne bazadde ? Singa L.C.I ne bazadde be tebaliiwo awo kalabaalaba wabwe alina ? Police esobola okumulungula ensonga nga teyeyambisizza kooti. Singa police tegonjoola nsonga ezo, esobola okweyimirira omuto oyo. Bwateyimirirwa, bamuggalira era na’labika mu kooti enkera ? Okuwozesa omuto Kuno kwe kuwulira ennewozaako y’omuto. Singa yegaana omusango, olwo okuguwulira kugenda mu maaso. Singa agukkiriza, awo kkooti eweerawo ensala yaayo. Etteeka telikkiriza kuvunaama muto ali wansi wa myaka 12 nti aba ? Eddembe ly’omuto avunaanwa Okutegeezebwa omusango ogumuvunaanwa. Alina okuba nga waali mu kooti mubuntu n’abantu be ? Era alina okuba ne puliida omupangise oba ? nakyewa nga FIDA 132 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Obwenka Awasoboka okweyimilirwa kooti yennyini, enkola. Eddembe ly’okweyimirirwa Omuto ng’abantu bonna, alina eddembe okweyimirirwa. Era biba biti: Yeyimirirwa ku bwereere mubuntu ? Kooti eyinza okusaba abazadde okumweyimirira nga balina n’obusembi bwa ? L.C Amaka awabudamizibwa abato Kino kifo gavumenti w’ebudamya oba okukuumira abato ababa tebanasalirwa era nga tebeeyimiriddwa. Bino ye Naggulu mu Kampala, Namakwekwe mu Mbale ne Fort Portal. Abato abalala abalina obwetaavu nabo basobola okusuzibwa mu mbeera y’okubakuuma. Abawala nabalenzi babeera bawuddwamu ii. Omubudami ali ku gwa naggomola abeerayo emyezi mukaaga (6). Omubudami ali ku gw’engassi , abeerayo emyezi essatu (3). Singa kkooti mu bbanga elyo eba nga temalirizza byayo, ateeberezebwa aba alina kuyimbulwa. Amaka ga bakiwagi Omuto yenna bw’amala okusalirwa, Kalabaalaba wabwe olwo aba alina okuwandiika byonna ebikwata ku muntu oyo, era Lino lilinga bbanguliro era nga lirina obuvunnanyizibwa okulambika omuto ? nti waaviirayo aba abakuguse mu bingi era nga wamugaso eri bonna. Ebbanguliro lino kati tulina limu e Kampiringisa ku lw’e Masaka. Bakiwagi bano, nabo balambulwa oba n’okukyalira ? abazadde Omuto ali wansi w’emyaka 16, tasussa mwaka mu nju eno. Naye bw’aba nga yasingwa gwa kalabba, akumumilwayo ebbanga eritasussa ? 133 Obwenkanya mu Bonna Esuula 16 Endagiriro y’Obutuuze n’Ennambika y’Okutambula mu Mawanga Endagiriro Directorate of Citizenship and Immigration Control Ministury of Internal Affairs Plot 75 Jinja Rd. Enyanjula Ekitongole kino kye kirambika entambula y’ayigira oba abafuluma mu ggwanga nga bana Uganda oba bagwira Byonna babikolera wansi wa Ministry y’ensonga z’omunda. Okukola ku ntambula yaba na Uganda mukufuluma ne mukuyingira ii. Okukola ku ntambula y’abagwira n’ebiwandiiko ebibakkiriza okuyingira oba okufuluma mu ggwanga. Okuwa abagwira obutuuze eri abo abagala nga basabye iv. Okugaba olukusa lw’okukolera wano oba okusiga ensimbi wano okuva mu bagwira. Okugaba (okufulumya) n’okulambika Pasipoota. Akakiiko k’eby’obutuuze n’entambula mu mawanga Kano ke kakiiko akalambika ekitongole ky’ebyentambula mu mawanga. Omulimu gw’olukiiko luno gulambikiddwa bulungi mu kitabo kya Ssemateeka nga gye gino: 16 16 134 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi i. okuwandiisa n’okufulumya ekikakasa buli mutuuze nti muna Uganda ii. Okuwa ko n’okusazaamu olukusa lw’okutambula mu mawanga iv. Okulugamya ensonga zonna ezikwatagana ku ebyo waggulu eri abakulu bekikwaatako. Okujjulira ewa minista mu butakkanya n’olukiiko Okujjulira kuno kukolebwa yenna atamatidde nansalawo ya lukiiko luno; ? Minisita alina obuyinza okukkiriza aba okugaana mu byonna. Oyo aba tamatidde era wa kujuliranga mu kkooti enkulu mu nnaku 30 ? Era ensalawo ya kkooti eno enebanga yankomeredde. Obutuuze Omuntu oyogerwako nga alina obutunze bw’ensi bw’aba n’eddembe okubeera mu nansi. Ssemateeka we’ggwanga n’etteeka erifuga obutuuze birambika bulungi ani asaanidde okuba n’okuyitibwa n’atasaanidde Obutuuze obw’awulwamu ebiti bisatu. Obutuuze obw’okukkirizibwa(OBUWE) Obutuuze bw’obuzaale tebukujjibwako so nga obulala busoboka. Alina obutuuze bw’obuzaale tasosobola kugobwa mu nsi ye. Obutuuze obw’obuzaale Abantu abagwa mu biti bino basobola okusaba obutuuze. Omuntu yenna eyazaalibwa mu Uganda nga bazadde be tebaali babaka bansi ? ndala oba banoonyi babubudamu Esuula 16 135 Obwenkanya mu Bonna Omwana yenna nga tannawezza myaka ettano singa asangibwa mu Uganda ? kyokka nga bazadde be tebamanyiddwa asobola okuba. Obutuuze obw’okwewandiisa Abantu abagwa mu biti bino basobola okusaba obutuuze. omuntu aludde mu no okuva nga 9th Oct 1962. Omuntualimu bufumbonemuna Uganda,ngaobufumbobukkirizibwa wano, era nga obumazeemu obutakka wansi wamyaka 5. Omuntu ne bw’aba nga abadde yasengukiramu mateeka kyokka nga aludde wano amyaka nga 20. Omuntu nga Ssemateeka lwe yatongozebwa yali amaze emyaka nga 20 wano. Obutuuze obuwe Omuntu akkirizibwa okufuna obutuuze singa asaba aba nga amaze amyaka egitakka wansi wa 20 yoono: i. Nga alina ekisulo mu Uganda mu bbanga lya myaka 20. Nga alina ekisulo mu Uganda mu bbanga ely’omuddirigganwa eriweza emyaka ebiri. Nga alina obumanyirivu mu zimu ku nnimi zawano oba olungereza. Alina ekirowoozo ky’okwongera okubeera wano obutaseguka. Obutuuze obwanabansasaana Wano nga omuntu alina obutuuze bwa mirundi ebiri. Ssemateeka akkiriza omutuuze yenna aweza emyaka 18 nga alina obutuuze obw’eggwanga eddala olukiiko olukulu lulina okulambika engeri omuntu gy’anabanga n’obutuuze buno. 136 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Okuzzibwayo Minister w’ensonga ezomunda asobola okuyimiriza omusenguse eyawerebwa ? obutava mu Uganda, ebbanga lyonna oba ebanga eggere. Abasenguse bano abawerebwa tebakkirizibwa kuyingira omu Uganda; ? omwavu lunkupe, omuzoole, omuwunvu oba, malaaya. Omuntu yenna atamatira nansalawo ya minisita, asobola okujjulira mu ? Asobola era okweyongerayo ne mu kkooti ejulirwamu ? Yenna anbanga azzibwayo, wa ddembe okudda gyeyava; oba ekifo (ensi) ? yonna gyebaba bakkanyizaako ne minisita Engeri y’okusabamu pasipoota Pasipoota ,kyekiwandiiko ekitongole ekiwebwa omutuuze ayambibwe mu byentambulaze ng’ayingira oba okufuluma eggwanga Bannansi balina eddembe ly’obwebange okusaba n’okufuna pasipoota. Engeri omuntu gyayitamu okumufunamu esinziira ku ngeri ssatu. i Nga lwosoose okusaba ssettambulizo Asaba ajjuza empapula za mirundi ebiri. okusaba ebiwandiiko bya Uganda okutambulirwa (Form A) ii. era omusabi alina okussa omukono oba ekinkumu ku byonna. Asaba asembebebwa omuntu omwesimbu mu bantu ku (form A) ? (Form B) ejjuzibwamu era n’ekoonebwamu `stamp’ ya L.C.1; L.C.II ne ? ssentebe wa disitulikiti oba omubakawa pulezidenti mu district eyo. Obufananyi busatu nga buliko amukono gw’omusembi ? Ebbaliwa ennyonyola lwaki asaba ayagala pasipoota eno. Ebbaluwa ziretebwa okuva e Mbale, Arua ne Mbarara e Kampala. Mu kuwaayo empapula, akakonge kakuweebwa okusobola okwebuuza. Pasipoota bw’ekakasibwa olwo oba osasula mu banka ? Oluvannyuma lwe’nnaku nga ziizo asaba afuna ekikye. Esuula 16 137 Obwenkanya mu Bonna ii Okuzza obuggya pasipoota Pasipoota kaba katobo akaba n’emiko egiyinza okuwandiikibwamu ? negigwayo oba ebbanga eggeze nga liweddeko. Okufuna endala oluvannyuma ly’eyasooka okubula Akatabo kano kakuumwa butiriri. konooneka, omuntu asobola okufuna akalala. Asaba okuba ekilayiro okukakasa okubula oba okwononeka. Okukakasa kuva eri police nti ddala akatabo tokalina ? Ebbaluwa eraga engeri akatabo gyekabulamu ? Okusasula engassi ya 100,000/= mubudde buno ? Okusasula mu bank okufuna akatabo akapya ? Era okusasula 50,000/= era nga zongerezebwa ku z’engassi ? Byonna nga biwedde, olwo eyasaba aba asuubira okufuna ekikye. 138 Obwenkanya mu Bonna Esuula 17 Ebanguliro lya Bannamateeka (LDC) Endagiriro Law Development Centre Off Makerere Hill Road P.O. Box 7117, Kampala Tel: 414-532884, 414-530246 Fax: 414-532866 Email: ldc@starcom.co.ug Ennyanjula Ebanguliro lya bannamateeka (LDC) ky’ekifo awakulakulanyiza eby’amateeka nga kiwa amabaluwa agongorwako ku diguli essoka mu ntetenkanya y’ebyamateeka, dipuloma mu by’amateeka ne buzibwamateeka obulala. Ebanguliro lino telikola bwa busomesa bwoka wabula linonyereza, lilangirira, lyekebeja, lifulumya ebiwandiiko era liyamba abantu ku bikata ku mateeka. Ebanguliro lino lirina ekitongole ekibazzi ky’enzirukanya lyayo. Kilondebwa omuwolereza wa gavumenti omukulu era nga kye kibaga ebinagobererwa n’enzirukanya yabyo mu banguliro lino. Ekitongole kino kikulemberwa omulamuzi w’ekkooti eyokuntikko. Enzirukanya zino zisibwa mu nkola nga ziyita mumukulembeze w’enzirukanya y’ebanguliro lino. Eteeka eriddukanya ebangiro lino lirisobozesa okutuukiliza enkola yaayo wamanga: (i) Okugunjula bannamateeka abatendeke n’abatali mu by’amateeka (ii) Okunoonyereza n’okuwa ebirowoozo mw’eyo ebiyinza okukulakulanya eby’amateeka 17 17 Esuula 17 139 Obwenkanya mu Bonna (iii) Okufulumya lipoota n’ebiwandiiko ebirala ebikwata ku by’amateeka (iv) Okuwereza abantu mu by’amateeka Enfaanana lyaalyo Ebanguliro lino likulemberwa omukungu ali kuddala lya Direkita. Ebanguliro lino lilimu ebitongole ebirala ebitwala obuvunanyizibwa obwenjawulo. Ebitongole bino by’enzirukanya, eky’emisomo egiddirira diguli esooka, ekyamateeka, ekyongera muku bangula eby’amateeka n’okugeyambisa ekiyisa ebyamawulire ku by’amateeka, ey’okunoonyereza, enkulakulana n’eyebiwandiiko by’amateeka n’ekyeterekero ly’ebitabo. Ebanguliro lino era liddukanya enfo omuntu wa bulijjo w’asobolera okuweebwa amagezi mu by’amateeka. Ekitongole ky’ebyenzirukanya Kikulemberwa omuwandiisi avunanyizibwa ku by’enzirukanya ly’ebangiro ? lino Ky’ekikola ku by’enjigiriza, okulondebwa, ebt’okukuza, okukangavula ? n’embeera ezawamu ez’abakozi n’abayizi Omuwandiisi era y’akola nga ssabawandiisi. Ekitongole ky’ebyemisomo egiddirira diguli esooka Kino kitongole ky’ebyenjigiriza ? Kitekateeka abayizi mu neyisa n’enkola ya bannamateeka mu nzirukanya ? Kisoboseza omunnamateeka okukkakalabya emirimo gye mu Uganda ? Okuweebwa ekifo mu koosi eno, oteekwa okubeera ne diguli essooka mu ? by’amateeka okuva mu emu ku nsi ezigoberera eteeka ly’obutonde ng’ensi ezaali ezamatwale ga bungereza gamba nga Uganda, Kenya, Tanzania ne India Univasite erina okuba ng’kakasiddwa akakiiko k’ebyamateeka. 140 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Ekitongole ky’amateeka Kitendeka abo abatali bannamateeka mu kumanya obumu ku bukwakulizo ? Kiddukanya emisomo ebiri egisobozesa omuntu okufuna dipuloma mu ? by’amateeka Kitegeka emisomo egy’emisana ne gy’akawungezi ? Abayizi baakyo bagyibwa mu bitongole ebyenjawulo okugamba nga Puliisi, ? ab’amakomera, gavumenti ez’ebitundu n’amagye Oyo yenna alina ebbaluwa y’obuyigirize eya A’level, akkirizibwayo. Ekitongole eky’ongera mu kubangula mu by’amateeka n’okugeyambisa Kitabaganya eneyambisa y’amateeka eri abantu abateesobola mu by’enfuna ? nga kiyita munkola yaakyo ey’okuyamba Abakungubagavumentin’abalalabaweebwaemisomoemimpimunzirukanya ? mu by’obulamuzi n’ebyamateeka munsi yattu. Emisomo gino era gimanyisa entambula y’amateeka nentetenkanya yaago ? munfo zaabwe gye bakolera Emisomo emimpi gyatekebwawo okuyamba bano wammanga: ? (i) Abakungu mu by’enzirukanya g’ebitongole (ii) Bannamateeka ba gavumenti (iii) Bawannyondo ba kkooti, Puliisi ya kkooti, n’abakola kubutale mu kkooti (iv) Abataputa be by’amateeka n’abakkooti (v) Abakulira ebitongole by’obusuubuzi n’abawandiisa waago. Ekitongole era kiddukanya emisomo gy’okwejjukiza eri abakozi be banguliro ? lino Ekitongole ekiyisa eby’amawulire ku by’amateeka Ekitongole kino kivunanyizibwa okukola bino wammanga: ? (i) Okuwandiika, okussunssula, n’okufulumya lipoota z’eby’amateeka mu Uganda Esuula 17 141 Obwenkanya mu Bonna (ii) Okufulumya ebiwandiiko mu mitendera gy’eby’amawulire n’eby’okuyiga Ekitongole kye kiwandiika n’okusengeja ekiwandiika kya kkooti enkulu, ? kkooti ejuliribwamu, n’ekkooti eyokuntikko Ebiwandiiko mu bumpimpi ku nnamula entongole ezikozesebwa ? bannamateeka n’abakungu b’eby’obulamuzi nga bakubaganya ebilowoozo kunsoga ezifananako ngezo Ekitongole ky’okunonyereza, enkulakulana n’ebiwandiiko by’amateeka Ekitongole kino kivunanawa bino wamanga: ? (i) Okuyamba omukungu yenna abalondedwa muntegeka n’okufulumya ebiwandiiko ebigya eby’amateeka ga Uganda (ii) Okuyamba akakiiko akakola kunkyukakyuka z’amateeka mumulimo gwago (iii) Okuyamba mukutegeka n’okufulumya endagiro za palamenti (iv) Okwenyigira mu kunonyereza mu matabi gonna ag’amateeka (v) Okukunganya, okuwandiika, okussunsula n’okuvunula ebifananyi mu lulimu lw’ebyamateeka (vi) Okufulumya ebiwandiiko ebitongole, amawulire n’ebiwandiiko ebirala kunsonga z’amateeko ekugeza ng’ekitabo ekyomungalo eky’abalamuzi ab’kkooti ento Ekitongole ky’etterekero ly’ebitabo Ebanguliro ly’abannamateeka lirimu etterekero ly’ebitabo by’amateeka ? erisingira ddala obunenene mu Uganda Lirimu ebitabo by’amateeka, lipoota z’ebyamateeka, ebitabo by’abayizi ? bamateeka, empapula enfunda ez’amateeka, empapula z’okunonyereza n’ezemitendera z’eby’amateeka mu nnamula ya Uganda n’ezikozesebwa munsi endala Etterekero lino likirizibwamu abayizi bebanguliro (LDC), abakozi baamu, ? abakungu b’eby’obulamuzi, bannamateeka n’abantu babulijjo Abantuabalalabonnaabatalibayiziob’abakozimubangulirolinobateekeddwa ? okusasula akasente okulyeyambisa 142 Obwenkanya mu Bonna Esuula 18 Ebitongole Ebikwasisa Amateeka n’Okussa Obwenkanya mu Nkola Ennyanjula Waliyo ebitongole ebirala ebyenyigidde mu nkola y’amateeka n’enkwasiza yaago. Mu bino mwe muli eky’okujulirwa, eky’okugonjoola enkayana, ekikola ku ddembe ly’obuntu mu Uganda, ne Kaliisoliiso wa gavumenti. Waliyo n’ebitongole ebirala ebiyamba abantu kunsonga z’amateeka ku bwerere ggamba ng’ekya bannamateeka abakyala (FIDA) ekikola kunsonga z’abakyala n’abaana. Ebitongole bino biyamba kinene mu kutuusa eby’obulamuzi eri abo abateesobola. Enfo y’Okujulirwamu n’Okugonjoola Enkayana (CADER) Endagiriro Centre for Arbitration & Dispute Resolution (CADER) 3rd Floor, Commercial Court Building Plot 14 Lumumba Avenue Nakasero P.O. Box 25585, Kampala Tel: 414-349515, 254460 E-mail: cader@spacenetuganda.com Ekitongole kino kyatongozebwa nga kiyita mu Ndagiro y’okujulirwa n’okusonyiwagana. Kitongole ky’emalira era nga kisobola okuwaaba oba okuwawabirwa. Kyatekebwaawo ng’ekigendererwa kwe kuwa abantu omutendera omulala gwe bayinza okuyitamu okugonjoola enkayana zaabwe nga bakozesa okujulirwa, okuteesagana n’okusonyiwagana. 18 18 Esuula 18 143 Obwenkanya mu Bonna Endagiro y’okujulirwa n’okusonyiwagana esoboseza CADER okutruukiriza bino wamanga: (i) Okukola emirimo gyayo ng’egoberera amateeka ga UNCITRAL Ag’okujulilirwa aga 1976 (ii) Okuteeka munkola amateeka, engoberera y’okuddukanya emirimo gyagwo, ebiwandiiko ebijuzibwamu okusobozesa enkulakulana munsonga y’empozesa, okusonyiwagana n’emitendera emirala egy’okulungamya embeera, nga zigobererwa bulungi (iii) Okusaawo enkola ey’okulungamya eneyisa ya bannamateeka, abatabaganya, abawakati n e bakakensa (iv) Okutongoza n’okugabanya abamateeka, abatabaganya ne bakakensa (v) Ukuwa obuyambi mu nzirukanya na byonna okusobozesa ensala, okusonyiwagana n’emitendero emirala egy’okuyitibwamu okutambula obulungi (vi) Okusaawo ekipimo kubuyigirize mu bitongole, ebibiina n’abantu ab’okulondebwa (vii) Okusaawo olukalala olujuvu olw’abakugu mu by’amateeka mu kulungamya ne mu bakakensa (viii)Okusobozesa okufuna ebbaluwa y’obumalirivu mu buwandiike, ne y’obuntbulamu munsala y’empozesa n’entabaganya. (ix) Okutongooza n’okusaawo ebbaasa y’abawolereza, okubasobozesa okuyamba, okutendeka n’okutumbulaa emitendera emirala omutu gy’ayinza okuyitamu bekikwatako Ennyamba ya CADER mukugonjoola ensonga Obuyambi bwa CADER bwa bulikinoomu. N’olwensonga eyo, bakinoomu, bamakampuni n’ebitongole ebirala basobola okweyambisa CADER mukugonjoola enjawukana zaabwe. 144 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Ensonga y’enjawukana ng’emaze okusibbwa mu fayilo ey’aba CADER, olwo ? CADER nelyoka esalawo okukozesa enkola ya ADR mu kugonjoola ensonga eno. Enkola eno eyinza okubeera ey’okutabaganya oba yakuwoza Ekibiina ekiwawabiddwa olwo nekitegezebwa mu butongole ? Ensala elondeddwa bwebanga ya kuwoza munamateeka alondebwa ate bwe ? banga ya kutabaganya, omutabaganyi alondebwa Okugiyamba okutuuka kuntegeragana, CADER esobla okusaba enjuyi zombi ? ku lunaku lw’owuliriza ensonga, okuja n’ebiwandiiko, obujjulizi na byonna okwanguya omusango okugonjoolwa. Entabaganya eyokwempaliriza mu njawukana mu by’obusuubuzi Olw’okusobola okugojoola mubwangu enjawukana mu by’obusuubuzi eteeka lyayisibwa nga kati ekitongole ekikola kunsonga z’abasuubuzi eky’ekkooti enkulu kiguwereza eri CADER okugugonjoola. Omusango gusooka kutwalibwa mu kitongole ekikola ku by’obusuubuzi ekya kkooti enkulu nekiryoka kiguwereza eri CADER. Enjuyi zonna ez’omusango ogutwaliddwa mu kitongole ekikola ? ku by’obusuubuzi zitekeddwa okukakasa oba zikkiriza omusango okugonjoolwa Enjuyi zonna bwezikiriza eky’okugonjoola ensonga zaabwe olwo ? negutwalibwa mu CADER okugugonjoola Kino kikolebwa omuwandiisi wa kkooti y’ebyobuzuubuzi nga kimaze ? okumatizibwa ku musango guno okutwalibwa okugonjoolwa Okugonjoola kuna kulina okumalizibwa munnaku 30 zokkaokuva ekirango ? bwe kifulumizibwa Wabula ow’oluyi lwonna, bwabangawadde enzonga ezimatiza, ennaku zino ? ziyinza okwongelwayo Enjuyi zonna nga zimaze okukkanya kukugonjoola ensonga zaabwe, ? CADER eziwa olukalala lw’abakugu mu by’okugonjoola ensonga Enjuyi zonna bwe zilemererwa okulonda okuva ku lukalala lwammanya ? g’abakugu olwo, CADER ebalondera okuva ku balamuzi abawumudde, bannamateeka abakulu n’abato, abasuubuzi abatutumufu ne mu bakakensa mu by’obufuzi Esuula 18 145 Obwenkanya mu Bonna Mukukkiriza okutekebwa ku lukalala luno, abakugu bano bafugibwa ? empisa y’enkola ya CADER Ekyo nga kiwedde olwo agenda okugonjoola ensonga, yetegeka, ? n’emitendera mwanayita nagibategeeza gamba ng’enfo webanatuula, n’enaku zebanatuula Era bayinza okussa mu nkola, okuwanyisiganya ensonga enkulu mu ? musango oguli mu ddiro Buli ludda lutekeddwa okwatula errinya ly’oyo/ob’abo banakulembera ? enteseganya zaabwe Enzikirizigana eno era elina okubaako amanya g’abantu bonna abalala ? gamba ng’abawibamagezi, abakugu oba bannamateeka abaneetaba munsonga eno. Entegeragana eba etuukiddwako essibwa mu buwandiike n’ewerezebwa ? kkooti y’obusuubuzi gye kusibwa mu kitabo ekitongole mu lukalala lw’ebyennamula egonjodde ensonga Ennamula egonjodde ensonga ebera kuddaala lyerimu ng’ekoleddwa ? omukungu w’eby’obulamuzi yenna era ng’esobola okugattibwa ku lupapula lw’omusango ogugonjoddwa Ensonga w’elemererwa okugonjoolwa, olwo eddizibwayo ew’omulamuzi ? mu kkooti aguwulirize Munsonga ng’engonjoola ebadde egudde butaka, ekiwandiiko ky’entambula ? yaagwo tekkirizibwa mu kkooti Kino kikolebwa okujamu okutya kwonna mu njuyi zonna nti obujjulizi ? bwabwa buyinza ate okukozesebwa okubasingisa omusango wegubanga gugenze mu kkooti ew’omulamuzi Akakiiko Akalwanirira Eddembe ly’Obuntu (UHRC) Endagiriro Uganda Human Rights Commission Plot 20/22/24 Buganda Road, Kampala P.O Box 4929, Kampala Tel: 414-348006/8 146 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Ennyanjula Akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu (UHRC) katongozebwa ssemateeka okwetegereza ensonga zonna ezi kontana n’eddembe ly’obuntu. Kalina n’amatabi amalala mu bitundu by’eggwanga nga e Soroti, Moroto, Jinja, Gulu, Mbarara ne Fort Portal. Enkola y’akakiiko kano Akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu kakubirizibwa okubuliriza ku ? nsonga ezikwata ku kutyobola eddembe ly’obuntu. Kino kiyinza okukolebwa nga kabadde kafunye okwemulugunya oba mukunonyereza kwaako. Akakiiko kalina ebitongole byaako ebilamuzi ebituula ku kutebe kyaako ? ekkulu oba ku matabi gaakyo agawuliriza ensonga z’okwemulugunya nekasalawo oba ddala eddembe ly’obuntu lityobeddwa. Ensala t’ebitongole bino kyenkana eri ku ddaala limu ne y’ekkooti z’amateeka. Akakiiko era ka kubirizibwa okukyalira amakomera n’ebifo ebirala ? omukuumibwa abasibe okwekebejja embeera zaabwe. Akakiiko kano era kalina obuyinza okuva mu ssemateeka okutegeka emisomo ? gya mwoyo w’eggwanga mu by’eddembe ly’obuntu okumanyisa obukulu obuli mu kukuuma ssemateeka ng’engabo enkulu ey’amateeka g’eggwanga n’okumanyisa abantu ku bikulu ebiri mu ssemateeka. Emikutu egiyitirwamu okutuusa okwemulugunya mu UHRC Ku kitebe kyako ekikulu ekitongole ekikola ku kwemulugunya n’okubuuliriza kyakakasibwa okuwuliriza, okuwandiika mu kitabo n’okubuuliriza ku nsonga z’okwemulugunya ate go amatabi amalala ge kakola kungobaganya y’emisango. Okwemulugunya kuyinza okutusibwayo omuntu yenyini akoseddwa mu buntu oba mu buwandiike eri akakiiko kano. Gano wammanga gemakubo agagobererwa: Okwemulugunya kuyinza okutuusibwa mu kakiiko mu lwaatu oba mu ? Okwemulugunya kuwandiikibwa mu kitabo ky’emisango nga kimaze ? okukakasibwa nti ddala kituukiriza ebyo ebiraga nti eddembe ly’obuntu lityobeddwa. Esuula 18 147 Obwenkanya mu Bonna Bwekizuulibwa nti okwemulugunya tekugwa mu ttu lino, akakiiko kawa ? amagezi eri oyo aba yemulugunya okutuukirira ebitongole ebirala ebiyinza okumuyamba Akakiiko kakozesa foomu y’okwemulugunya ng’ekoleddwa okussibwamu ? ebyetagisa mu kwemulugunya kuno Nga foomu emaze okujuzibwamu esomebwa mu lwaatu olwo oyo ? eyemulugunya naba ng’atekeddwa okukisaako omukono. Eyemulugunya aweebwa ennamba y’okwemulugunya ne kaadi yaakwo ? Okwemulugunyaolwonekuggulibwawomubutongoleeranekuwandiikibwa ? mu kitabo ekiwandikibwamu okwemulugunya olwo nekwanguwa okukolebwako. Akakiiko tekagaba sente zonna okuwuliriza yadde okumala gawandiika ? Fayilo ziweebwa abakungu b’akakiiko kano ab’obusobozi okuzitambuza. Ngabwekitekeddwaokubamukubulirizakwona,omuwawabirwaategezebwa ? kunsoga eno Olwo omuwawabirwa n’awebwa ennaku 14 okwanukula akakiiko kano. Okubuuliriza kuno era kuberamu okuwandiika obujjulizi obw’abo abajulira ? eyemulugunya okuzitoya omusango bwekiba kyetagisa. Ng’okubuliriza kuwedde, ekiwandiiko ekikukakasa kikolebwa olwo ne ? kisalibwawo oba kweyongerayo mu kakiiko oba kugobebwa Ekitongole ekilamula kirina obuyinza nga ogwa kkooti.; Kiyinza okuyita ? omuwawabirwa, kiyinza okulagira ebiwandiiko ebikwata ku musango biletebwe, kiyinza okubuuza omuntu yenna akana nakatano, okulagira ebiwandiiko ebikwata ku musango biletebwe n’okukangavvula oyo yenna ab’akijemedde. Ekitongoleekiramuzikigobereraamateekaagafugaenkwasizayeby’obulamuzi ? ng’okuwulira enjuuyi zonna, obutabaako ludda, n’okukubiriza okweyambisa bannamateeka. Engonjoola eweebwa akakiiko kano Akakiiko bwe kakizuula nti ddala wabaddewo okutyoboola eddembe ly’obuntu kayinza okulagira omusibe yenna ayimbulwe gyabadde akuumirwa n’okuliyibwa, ye oba ab’enganda ze. 148 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Ensonga ezigobezesa okwemulugunya Okwemulugunya kuyinza okugobebwa akakiiko kano olw’ensonga emu oba zonna wammanga: (i) Nga kulimu enkolagana wakati wa gavumenti y’eggwanga lino n’eyebweru (ii) Nga kukwata kunsonga ekisonyiwo kya pulesidenti kyokka gwekiyinza okutawulula (iii) Nga kwaliwo nga ssemateekawa 1995 tannayisibwa (iv) Nga tekulaga kutyobola kweddembe ly’obuntu nakamu (v) Nga tekuliimu nsonga nakamu ensa yadde okubeera mu mateeka (vi) Nga kuwulizibwa kkooti endala oba ekitongole ekilamula ekirala oba nga kkooti z’amateeka zamala dda oyisa ensala yaagwo Kaliisoliiso wa Gavumeni Endagiriro Inspectorate of Government JIC Building, Kampala (former IPS Building) Paliament Avenue, Kampala Ennyanjula Kaliisoliiso wa gavumenti yatekebwawo ssemateeka wa Uganda owe 1995. Emirimo gyaako emikulu kwekuli okumalawo okuvoola errinya oba ekitiibwa kya ofiisi n’enguzi. Abuuliriza ku nsonga zino n’okwemulugunya kw’abakozi ba gavumenti. Kaliisoliiso wa gavumenti alina amatabi amalala e Arua, Mbale, Jinja, Gulu, Soroti Masaka ne Mbarara. Enkola ya Kaliisoliiso wa gavumenti Okukola ? buli ekisoboka mu mateeka okumalawo enguzi n’obulyake mu gavumenti Esuula 18 149 Obwenkanya mu Bonna Ofiisi y’emu era y’egoberera ensonga z’abakozi ba gavumenti abalowolezebwa ? okulya enguzi n’okuvoola erinnya n’ekitiibwa kya ofiisi zaabwe. Ofiisi y’emu era yelaba ng’abakozi ba gavumenti bagoberera endagiro ? y’eneeyisa entongole (Leadership Code Act) Endagiro y’enneyisa entongole egendererwa okulaba ng’obukulembeze mu ofiisi za gavumenti z’ewala nga bwekisoboka obutenyigira mukulya enguzi. Ekimu ku kikolebwa mu ludda luno kwe kulaba ng’abakulembeze baanika mulujudde eby’obuggaga bye balina. Okuweereza n’Okuyamba mu by’Amateeka (Legal Aid Projects) Ennyanjula Binobitongoleebiwaobuyambimuby’amateekakubweerereabantuabateesobola. Ebitongole bino era bisasula n’ebisale by’amakkooti. Mu Uganda ebitongole eby’engeri eno biwerako. Ekiwa obuyambi mu by’Amateeka mu kibiina kya bannamateeka (LAP-ULS) Endagiriro Legal Aid Project of the Uganda Law Society P.O. Box 426 Plot 5A Acacia Avenue Kampala-Uganda Tel: 414-342412 Fax: 414-342431 Email: uls@uls.org.ug Akabiina akawa obuyambi mu by’amateeka (Legal Aid Project – LAP) katandikibwa a’ekibiina kya bannamateeka (ULS) mu 1992 n’obuyambi okuva eri bannabwe aba Norwegian Bar Association okuwa obuyambi ba lunkupe n’abateesobola abalala. Olwa leero luno, akabiina kano kongerera ddala mu maaso okuwa obuyambi obwo eri abakyala. LAP kirina amatabi gaakyo e Kabarole, Kabale, Masindi, Jinja, Gulu, ne Luzira ng’ekitebe ekikulu kiri mu Kampala. 150 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi LAP yatandikibwawo okuziba amabanga agali mu mpeereza y’ebyamateeka eyaliwo naddala nga kimaze okuzuulibwa nti bangi tebeesobola. Ebigendererwa bya LAP bye bino wammanga: Okuwereza abavu lunkupe obuyambi mu by’amateeka obuli ku mutindo. Okukulakulanya eby’amateeka n’ebyobulamuzi mu Uganda ? Okulwanirira ba lunkupe mu by’obulamuzi ku madaala gonna mu ggwanga, ? disitulikiti okutuukira ddala wansi Okuzimba n’okunweza emikutu gy’enzirukanya gya LAP ? Okuwereza enzirukanya ya LAP okukasobozesa okutetenkanya emirimo ? gyaako nga nga kayita mu bakaddukanya abakulu (Board of Trustees – LAP) Okuzimba obusobozi mu by’enfuna okusobola okweyimirizaawo ? Empereza ya LAP eri bweti wammanga: Okuwa amagezi n’ebifa mu by’amateeka ? Okussawo emisomo gy’okumanyisa eby’amateeka ? Okuwa amakubo amalala ag’okujulirwamu (ADP) ? Okunyigiriza n’okusobozesa amateeka agayamba abaavu lunkupe ? okuyisibwa Okutendeka abakungu abayinza okukikirira bannamateeka mubifo ? mwebatali Ekiwa obuyambi mu by’Amateeka mu Banguliro lya Bannamateeka (LAC) Endagiriro Legal Aid Clinic (LAC) Law Development Centre Off Makerere Hill Road P.O. Box 7117 Kampala-Uganda Tel: 414-540127/8/9 LAC kilwanirira abantu mu by’amateeka mu banguliro ly’abannamateeka katandikiwawo mu 1998 nga kikozesaobuyambi obuva mu Ford Foundation ne USAID. Katekebwawo oktumbula eby’engigiriza by’abayizi b’amateeka okuva Esuula 18 151 Obwenkanya mu Bonna mu zi univasite LDC zekiririzamu nga bagatta enjigiriza eyekikugu ne yabulijjo. Mungeri yemu kayamba mu by’amateeka abamenyi b’amateekla, abaana abazzi b’emisango n’abo abeetaga okutalizibwa oba okuyambibwa. Akabiina ka KAC kaddukanya bino wammanga: Eby’enjigiriza; Abayizi begezesa mu misomo egyenjawulo gamba ? ng’okussawo kkooti ez’okwegezesa ne bayiga okkuvunula emisango nga bayita mu kuwoza, okuteseganya, n’okuwanjagiranga bwebabanga basuubira okubisanga mukuwatanya emirimo gyaabwe. Obuyambibwabannamateeka;LACewaamageziokubuuliriran’ogwokuwoza ? mu kkooti Okukubiriza mu by’amateeka; LAC era eyamba okussa mu nkola eteeka ? er’endagiro ly’abaana (Children Act) Okukolagana; Enkolagana n’ekkooti, abakungu b’amakomera abalabirira ? abasibe abababaweereddwa ekibonerezoky’okukolera mu bulungi bwa nsin’ebitongole ebirala ebifananako. Okunonyereza n’okufulumya amawulire g’ebyenjigiriza ebikozesebwa mu ? by’empuliziganya LAC esaawo emisomo, enkungana n’enkiiko kulwa abo abaganyulwaamu ? oba abakozi Ekiwa obuyambi mu by’Amateeka ku lwa FIDA Endagiriro FIDA-U Bukoto Street, Kamwokya P.O. Box 2157 Kampala Tel/Fax: 256-414-530848 Email: fidaug@africaonline.co.ug Ekibiina ky’abakyala bannamateeka, FIDA-U, kya bannakyewa, tekissosola, era si kkyakukola magoba nga kyabakyala. Kyatondebwawo okuyamba abakyala n’abaana naddala bannamwandu ne bamulekwa o P107-108kusobola okweyambisa amateeka okugonjoola ensonga zaabw. Kyatandikibwawo 152 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi mu 1974 okuyamba bannamateeka abakyala mu Uganda mu by’emirimo n’ebyamagezi n’ebyenkulakulana. Kiwa obuyambi mu byamateeka naddala eri abakazi n’abaana. FIDA-U erina amatabi e Mbarara, Mbale ne Arua ng’ekitebe kyakyo ekikulu kiri mu Kampala. Ebigendererwa (i) Okwongera okuwereza mu by’obulamuzi ne mu by’amateeka lunkupe, n’abakyala n’abasajja abalala abateesobola (ii) Okusaasanya eby’amateeka n’engoberera yaago ng’ekigendererwa kwe ku yigiriza n’okumanyisa abantu (iii) Okuyamba bannamateeka abakyala ba Uganda okukulakulana mu mirrimo gyabwe nemumbeera zaabwe endala (iv) Okutumbula entambula y’amateeka naddala mu ngeri y’okuyambamu abakazi nga babawwolereza mu by’amateeka ne mu nzirukanya y’emirimo egyabulijjo.. FIDA-U eyambira bwerere ba lunkupe naddala abakyala n’abaana nga bayita ? mu kitongole kyabwe ekigonjoola enjawukana n’obutabanguko. Abakungu beby’amateeka bawa obuyambi bw’okubulirira, okulamula, ? n’okusobozesa enteseganya okubaawo era newekyetagisa, okukiikirira mu kkooti Bakwata ku nsonga enjawufu gamba nga eby’obwannanyini, eby’obusika, ? eby’aboluganda n’ebyobufumbo mu bikwatagana n’ebyettaka n’eby’obuusubuzi/obugaga Enkola yabwe eringa mpozi ey’enzirukanya y’ebitongole byo bwa ? bannamateeka naye nga si bya nsimbi Mpozi omuntu yenna eyetaaga obuyambi bwabwe asalirwa ettu lya kitundu ? kya ddoola ng’ensako y’okuddukanya emirimo gyabwe Emisango egisinga obungi gigonjoolwa nga bayita mu amakubo amalala ? Ensonga ezilemererwa ADR zitwalibwa ku ddala ly’obulamuzi. Esuula 18 153 Obwenkanya mu Bonna Ery’eteeka ly’Abanoonyi b’o Bubudamu mu Ttendekero ly’eby’Amateeka (RLP) Endagiriro Refugee Law Project PLot 10 Perry Gardens Old Kampala P.O. Box 33903, Kampala Tel: 414-343556 E-mail: RLP@infocom.co.ug Wesite: www.REFUEELAWPROJECT.ORG Ery’eteeka ly’abanoonyi b’obubudamu (RLP) lyatondebwawo mu mwezi ? gwa musenene 1999 ng’ekigendererwa ky’okukuuma n’okuzimba eddembe ly’abanoonyi b’obubudamu mu Uganda Kyemalirira mu ttendekero ly’amateeka mu univasite y’e Makerere ? Kiddukanya obuyambi bw’eby’amateeka n’okubulirira bkiwa amawulire ? ku bwerere n’okuwa amagezi eri abanoonyi bobubudamu ababa bakituukiridde. Ekitongole ekikuuma eby’Abantu (PDO) Endagiriro Public Defender Organisation Plot 89, Bukoto Street, Kamwokya P.O. Box 27352 Kampala Etitongole kino mu Uganda kya ba nakyewa era nga kyatongozebwa mu 1997. Kiwa obuyambi mu by’amateeka eri abo abaavu lunkupe ababa bavunanibwa emisang mu kkooti z’amateeka. Kirina ekitebe kyaakyo ekikulu mu Kampala n’etabi e Jinja. 154 Obwenkanya mu Bonna Amateeka n’Enkwasisa Yaago mu Uganda: Ekitabo ky’omunnansi Envuunula y’ebigambo Court: Kkooti District: Distulikiti Government: Gavumenti Office: Ofiisi: Yeefesi, Ekakalabizo Parliament: Palamenti Pleader: Puliida Police: Puliisi President: Pulezidenti, omukulembezi we ggwanga Summons: Semandizi, ebiragiro bya kkooti